TOP

Emisono gya Kylie Kardashian ginkolera

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2017

ABAWALA ennaku zino bettanidde okwambala emisono gya Kylie Kardashian ng’ono y’asembayo obuto mu famire ya Bakardashian emanyidwa ennyo .

United 703x422

ABAWALA ennaku zino bettanidde okwambala emisono gya Kylie Kardashian ng’ono y’asembayo obuto mu famire ya Bakardashian emanyidwa ennyo .

Kylie Jenner Kardashian y’omu ku bayiiya emisono gy’engoye ne meekaapu ali ku mulembe era ne mu Uganda byatuuka dda. Mu bettanidde emisono gya Kylie mwe muli Mariam Kayondo omutuuze w’e Munyonyo.

Ono yannyonnyodde VICKY NABUKEERA lwaki yettanidde emisono gino n’engeri gy’akuumamu ffi ga n’olususu nga binyirira.

“NTERA okugoberera abayiiya b’emisono mu nsi yonna ku mikutu gya ‘social media’ nga Facebook, Twiter, Instagram ne Pintrest. Kino kinnyambako okumanya emisono emipya.

Mu bayiiya b’emisono be ngoberera mulimu Kylie Kardashian era nnyambala emisono gye gy’afulumya mu kkampuni ye eya Kylie Collections.

Bwe mba waakugula ngoye nsooka kunoonyereza ku misono emipya Kylie gy’atunda nga gino ntera kugiggya mu maduuka agatuusa engoye kuno nga ziva mu America.

Ekirungi engoye z’aba yaakafulumya asooka kuzambalamu ebifaananyi ne biteekebwa mu mikutu gya ‘social media’ era kiba kyangu okuzimanya.

Ekirungi ayiiya emisono gyonna omuli ebiteeteeyi by’embaga, eza ofi isi, n’eza wiikendi.

Emisono gy’ayiiya mulimu ebiteeteeyi bya ‘open waist’ nga kino kiba kiraga omubiri mu mabbali g’ekiwato. Waliwo sikaati ezikwata ne ‘crop top’ nga zino ziggyayo enkula y’omubiri era kuno oluusi nnyambalirako ekkooti empanvu.

Waliwo n’ebiteeteeyi ebigazi nga bino binyuma ku wiikendi, engoye eziraga omubiri ssaako ‘jumpsuit’ nga zino zinyumira ku bbiici.

Bwe mba ηηendako mu ndongo ntera kwambala ‘damage sweaters’ nga zino ziba nga ssweeta naye nga zirimu ebituli.

OZISANGA WA

Wano mu Kampala mulimu abasuubuzi abazisuubula okuva mu Los Angel ne bazitutuusako ku bbeeyi ensaamusaamu.

Waliwo amaduuka ku Mukwano Arcade agatuusa engoye zino nga zitundibwa okuva ku 150,000 okudda waggulu.

Ng’oggyeeko okukoppa ennyambala ya Kylie ne mekaapu Kayondo akozesa wa Kylie Kadarshian.

Ono y’asinga okukozesebwa ensangi zino abawala abatambula n’omulembe.

Ekirungi kya meekaapu ono tabutula ate mugula mu maduuka agatunda ebyokwekolako ku Pioneer Mall mu Kampala. Ebirala ebikuumira Kayondo ku mulembe mulimu;

ENVIIRI

Nsinga kusiba wiivu ezitali za ‘human’ kubanga sizirwisaayo nnyo. Oluusi ne ‘braids’ era enviiri zimmalako okuva ku 50,000/- okudda waggulu. Ennaku zino nsiba omusono gwa ‘Invisible’.

ENGATTO

Ntera kwambala engatto z’akakondo era bwe mba ngula, nonda mu langi ez’enjawulo nga emmyuufu, enzirugavu ne zaabu. Engatto nzigula wakati wa 50,000/- ne 200,000/- nga nsinga kugula mu Skylite Arcade. Ku wiikendi nnyambala engatto za fulaati.

ENJALA

Zino nfuba okuzikuuma nga zinyirira kubanga bw’osanga omuntu yenna bw’aba akubuuza amaaso ge gasookera ku njala y’ensonga lwaki nzikuuma nga zirabika bulungi. Zino nzirongoosa buli wiikendi era zimmalako 30,000/-.

FFIGA

Okwekuuma nga ndi mu sayizi ennungi nnywa amazzi buli ku makya ate bwe mba sinneebaka nteeka omubisi gw’enjuki mu mazzi ne ngattamu enniimu. Bino biyamba okusala amasavu mu lubuto.

OLUSUSU

Seebaka nga sinaabye mu ffeesi okuggyamu meekaapu. Kino kinnyamba okuggyamu obucaafu bwonna.

Bwe mmala okunaabamu, nsiigamu cukamba okumala eddakiika 30, bwe mmala ne nnaabamu n’amazzi agabuguma, olwo ne nsiigamu ekizigo kya ‘Coco pulp’. Bwemba ηηenda kukola meekaapu simugwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...