TOP

Ennyambala y’abavubuka eriwo ensangi zino

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2017

ABAVUBUKA abasinga bafaayo okwambala ebiri ku mulembe ne banyuma. Omulembe gwafi itingi guluddeko naddala mu bavubuka era gwe gukyalya esswaga.

Papa 703x422

Ian Kawuma, omutuuze w’e Munyonyo nga mukugu mu by’okwambala annyonnyodde engeri omuvubuka ow’omulembe gy’alina okwambala okusinziira ku kifo gy’alaga.

Yagambye nti omuvubuka ateekeddwa okubeera n’essuuti, emijoozi, jjiini, kaki, engatto za musonso, kanvaasi, essaati za fiitingi n’empale ne kalonda omulala amuyamba okwekuumira ku mulembe.

Bw’aba agenda mu ofi isi, ku mikolo oba ku mbaga asobola okwambala essuuti ya fi itingi ng’eri mu langi egendera ku mubiri gwe.

Wabula yagambye nti langi ng’enzirugavu, bbulu omukwafu ne kitaka tezitera kuboola. Kuno asobola okwambalirako engatto ebikka ebigere naddala ekika kya musonso.

Ennyambala eno eweesa ekitiibwa kubanga kizibu obutanyuma.

Essuuti zigulwa wakati wa 150,000/- ne 400,000/-, sso nga bw’oba otungisizza eyinza okukumalako 100,000/-. Engatto ya musonso ogifuna wakati wa 80,000/- ne 150,000/-.

Empale ya jjiini oba kaki n’omujoozi nabyo binyumira abavubuka. Bino osobola n’okubikoleramu kasita oyambalirako ka jaketi akagenderako n’engatto nga ‘mocasin’, ‘timberland’ oba ekika kyonna ekigenderako.

Ekikulu kwe kubitobeka obulungi n’otolabika ng’ayambadde kisaazisaazi nnyo.

Ennyambala eyo era esobola okunyuma ku wiikendi naddala ng’oyambaliddeko enkoofi ira ne kanvaasi, era abanaakulaba bajja kukakasa nti ebyokwambala obitegeera.

Omuvubuka owomulembe ateekeddwa okubeera n’ebinu by’ayambala naddala akawungeezi oba ku wiikendi.

Ebinu bino binyuma nnyo naddala ku bbiici. Bino obyambalirako omujoozi n’engatto za kanvaasi oba eziraga ebigere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiru7 220x290

Kirumira akubye ku bbebi Kaweesi...

Kirumira akubye ku bbebi Kaweesi eriiso n'amwenya

Kiru8 220x290

Omala annyonnyodde lwaki yeeyimiridde...

Afande Omala eyeesowoddeyo okweyimirira Kirumira ategeezezza kkooti nga bw'agenda okufuba okulaba nga Kirumira...

Yi2 220x290

Kirumira bamukkirizza okweyimirirwa:...

Kirumira bamukkirizza okweyimirirwa: Ayimbuddwa kati alya butaala

Kola 220x290

Temusuulirira mizannyo - Ssekandi...

OMUMYUKA wa Pulezidenti w'eggwanga, Edward Ssekandi akubirizza Bannayuganda okwettanira emizannyo kuba gisobola...

Aaaaaaabig703422 220x290

Musagala anattunka ne Cheptegei...

RONALD Musagala 25, oluvannyuma lw’okwolesa ffoomu mu mpaka z’eggwanga eza Cross Country ezaabadde e Jinja, agattiddwa...