TOP

Bbulawuzi okuli ennyukuta zinyumira ab’amabeere amanene

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2017

OMUSONO gw’engoye eziriko ennyukuta guluddewo, wabula Evelyn Nalwanga ow’e Lungijja yagambye nti gukyamukolera. Yagambye LAWRENCE MUKASA nti bbulawuzi eziriko ennyukuta zimunyumira era gwe gumu ku misono egimukutte omubabiro.

Pata1 703x422

Evelyn Nalwanga ow’e Lungujja

“Bbulawuzi zino ziyitibwa ‘Letter shirts’. Zisinga kujjira mu ngoye mpya. Zikolebwa mu matiiriyo ya ppamba mu langi ez’enjawulo nga enzirugavu, kiragala, kipaapali, emmyuufu n’endala.

Waliwo ezitungibwa nga za mikono mimpi ssaako ne musalankwawa.” Nalwanga ng’akola gwa kusiba nviiri mu Kampala yagambye nti bbulawuzi zino azambala okusinziira ku mannya g’abantu b’ayagala ennyo okuli maama we, omwagalwawe ne baganda be.

Norther Mulushid atunda engoye z’abawala n’abakyala ku Mukwano Akeedi yagambye nti bbulawuzi zino ze zimu ku ngoye ennaku zino z’atasobola kumalako lunaku nga tafunyeeyo muwala azimubuuza.

Yagambye nti abawala abamu bagula ennyukuta ezitandika ku mannya gaabwe, ate abalala bagula ennyukuta ezitandika ku mannya ga baganzi baabwe okwongera okubalaga nti babafiirako.

Mulushid era yagambye nti ekirungi kya bbulawuzi eno, egenda mu bifo byonna kasita oyambalirako sikaati oba empale egenderako.

Yagasseeko nti okulabika obulungi, bbulawuzi eno eteekwa okuba ng’ekutuuka bulungi okusobola okuggyayo oba okulaga obulungi ennyukuta gy’oba oyambadde.

Mulushid yagambye nti bbulawuzi z’ennyukuta zinyumira nnyo abawala ab’amabeere amanene kuba gawanika bulungi ennyukuta ne bw’aba akubye ekikalu ennyukuta esigala erabika bulungi nga teyeefunyizza ng’oluusi bwe kiba ku bawala abato.

Zigula wakati wa 15,000/- ne 20,000/- okusinziira ku kifo w’oguze. Ebirala ebikuumira Nalwanga ku mutindo

ENVIIRI

Zino nzitwala nga kikulu nnyo era emisono gyonna ngisiba kasita gubeera ku mulembe. Ekiseera kino emisono gy’enviiri empanvu gye giriko era y’ensonga lwaki nasiba emiguwa emiwanvu.

Wabula wiivu zo zannema kuba zimpa akaseera akazibu okusanirira n’okuzikuuma nga zirabika bulungi okumala akaseera.

ENJALA

Sitera kwagala kusiiga langi ku njala zange era kyenva ntera okusiigako cutekisi wa ‘colorless’.

Bwe nkola ku njala zange zimmalako 10,000/- nga nsinga kuzikolerako ku Energy Center mu Kampala we wali omuvubuka azinyiriza.

OLUSUSU

Langi yange Mukama gye yampa njaagala nnyo era ndi mumativu. Ky’ova olaba nga nneewala nnyo okwesiiga ebizigo ebiyinza okunjerusa.

Nneesiiga akazigo ka ‘tip top’ nga kano nkagula 5,000/- zokka. Kalifuuwa ntera kukozesa ekika kya ‘Imperial Leather nga kano nkagula 40,000/-.

ENGATTO N’ENGOYE

Njagala nnyo ebintu ebimpa eddembe, y’ensonga lwaki engatto nsinga kwambala za fulaati naye nga zibikka ebigere.

Emisono gy’engoye gyonna ngyambala kasita nsanga olunsanyusizza ate nga lunnyumira.

Langi enzirugavu zinnyumira mpozzi ne kiragala. Sirina kifo kya nkalakkalira wengula, lwakuba ntera kugula ku basajja kuba bamanyi ebinyumira abawala.

FFIGA

Ntera okunywa okusinga okulya, era nkakasa nti eno y’emu ku nsonga lwaki nsobodde okukuuma ffi ga yange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kt1 220x290

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi...

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....