TOP

Ayagala okuva mu bupangisa osaana wekkaanye bino

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2017

ABANTU nga bakomekkereza omwaka batera okukola pulaani y’ebintu bye baagala okukola mu mwaka oguddako.

Dsc0111 703x422

Ekimu ku byo kwe kutegeka okuzimba naddala ku muntu apangisa. Wabula okuzimba kwetaaga okusooka okukuηηanya ssente ezigenda okukozesebwa.

Emu ku ngeri gy’osobola okukuηηanya ssente z’okuzimba kwe kufi ssa ssente z’osaasaanya mu bulamu obwa bulijjo. Waliwo engeri eziwerako z’oyinza okukekkereza mu nsaasaanya n’ofissa ekiwera.

Entambula:

Bw’obeera olina omulimu nga gukwetaagisa okulinnya takisi wandibadde ofuna ekifo ekiteetaaga ssente nnyingi mu bisale.

Kino osobola okukikola ng’onoonya ennyumba okumpi ne w’okolera, okwewala okulinnya takisi emirundi egisukka mu gumu okutuuka w’okolera.

Ate bw’obeera n’abaana abasoma wandifunye amasomero agali okumpi ne w’osula.

Ennyumba:

Waliwo ebitundu ebimu nga baseera ennyumba ezipangisibwa nga ssente ze wandifi ssizza okubaako kye weekolera n’ozisaasaanyiza ku bupangisa. Kyetaaga okunoonya ennyumba eri mu ssente ensaamusaamu mu kaweefube w’okufuna entandikwa y’okuzimba.

Okusaasaanya:

Bw’oba n’ekirowoozo ky’okuzimba ennyumba, osaana okwewala okusaasaanya ekiyitiridde naddala ku bintu ebisobola okwewalika.

Omuntu ng’azimba, ebintu ng’okutambulira mu sipensulo, okucakalira mu bifo eby’ebbeeyi naddala ng’ogenda n’abakazi ab’enjawulo, okusembeza ab’eηηanda abayitiridde awaka w’osula, wandibadde obyewala.

William Kasozi omukugu mu byenfuna agamba nti ekimu ku biremesa abantu okwekulaakulanya kwe kwetuumako ab’enganda nga mu bano oluusi mubeeramu ab’okusasulira fi izi, okuliisa oba okusuza.

Agamba nti bw’ogattagatta ssente z’obasaasaanyizaako mu kubalabirira kwokka omwezi oba mu mwaka, weesanga nga ssente mpitirivu.

Agamba nti ssinga omuntu omubaliridde ekyemisana kya 2,500/- nga kye kitandikirwako, ekyeggulo kya 2,500/-, caayi gw’anywa n’ebiriirwako nga bya 1,800/- nga bino bya mirundi 2 ku makya n’akawungeezi n’ebintu ebirala ng’ebibala, akatunda ak’okunywa n’ebirala weesanga ng’olunaku omuntu omu amazeewo 10,000/-.

Bwe guba mwezi ze 300,000/- ate omwaka 3,650,000/-. Kasozi agamba nti ssente zino zisobola okugula ensawo za sseminti 120.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabamazimabugagga14webuse 220x290

Kasasiro tumukolamu ebigimusa n'okutunda...

Ekibiina kya bakawenja kituyambye okwegobako obwavu nga tutunda kasasiro n'okukola amanda.

Hivnalubowa14webusennn 220x290

Nagaana okunziza awaka okufiira...

Nagaana okufiira ku kiggya ne nva ku b'eng'anda abaali bampaddeyo okufa ne nnoonya abanamponya era kati nze nsomesa...

Archbishopwilberforcekityoluwalirathenamirembedioceseheadrehabilitationmarathonrun2017willbeheldatthenamirembecathderalgroundsonapril2920171 220x290

Bp. Luwalira yennyamidde ku ttemu...

OMULABIRIZI ‘e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira awadde obubaka bw’amazuukira n’alaga okwennyamira...

Kig7 220x290

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20...

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20 ku katabo ke n'obulamu bwe.

Abamukubakulembezebekasawoababaddebeetabyemulukungaanaluno 220x290

Ab'e Kasawo bakukkuluma olw'ababasaba...

“Twetaaga okumanya ekituufu ku nsonga z’okwewandiisa oba nga ssente ziteekeddwa okusasulwa tusabe obuyambi okuva...