TOP

Owa Toli Mwavu awonye obuwuulu

By Dickson Kulumba

Added 24th December 2017

INNOCENT Tegusulwa owa ‘Toli Mwavu’ mutwe gwo gwe mwavu akubye embaga ey’ekiroodi Bannaddiini ne bamukubiriza okukuuma obufumbo buno nga bunywevu.

Mwaka 703x422

Abagole n’emperekeze zaabwe

INNOCENT Tegusulwa owa ‘Toli Mwavu’ mutwe gwo gwe mwavu akubye embaga ey’ekiroodi Bannaddiini ne bamukubiriza okukuuma obufumbo buno nga bunywevu.

Tegusulwa nga mukozi wa Bukedde Ttivvi etwalibwa Vision Group yagattiddwa ne mwana munne Rosette Atukunda omukozi mu kitongole kya Posta Uganda, mu Lutikko e Lubaga ng’obubagatta kwakulembeddwa Fr. Joseph Luzindana ku Lwokubiri ng’essakalamento eno yabaweereddwa nga December 19, 2017.

“ Ennyingo zino ettaano ze njagala mwekwate okutambuza obufumbo bwammwe;- mukulembeze essaala, mwekwate Baibuli, n’obutalabankana.

Mulina okusembera omubiri gwa Kristo ssaako n’okwekwata Maama Maria era ηηenda kubawa Ssappule gye naggya ewa Paapa,” Fr. Luzindana bwe yabagambye. Abagole baasembeza abagenyi baabwe ku wooteeri ya Serena.

Baatuuse mu kifo kino wakati mu kubiibya ku mazina nga bakulembeddwaamu omuyimbi, Stabua Natooro eyakubye ennyimba okuli; Yogayoga ezaaleese n’abagenyi okuyimuka ne bazina.

Mu ngeri y’okulaga ‘amasappe’ abagole batudde ku kidaala waggulu nga buli mugenyi waabwe bamulengera bulungi era mu kwogerako gye bali, akulira Vision Group, Robert Kabushenga yeebazizza Tegusulwa okutwalirawo Atukunda mu ggulu era n’abasuubiza nti bwe banaavaayo (waggulu eyo) agenda kubawa embuzi.

“ Rosette, omusajja Tegusulwa gw’otutte mukozi era twagala omuyambe okutuukiriza emirimu gye. Njagala muzaale abaana mwenda tewali muzannyo, ofune ettaka olime olusuku, emmwaanyi ate olunde ,” Kabushenga bwe yagambye.

Akulira Bukedde ttivvi Moses Kasasa nga yayogedde ku lwa Bukedde Famire, yatenderezza obumalirivu bw’abagole mu byonna bye bakwatako era n’abasabira obufumbo obujjudde emirembe.

Omukolo guno gwetabiddwaako Minisita wa Ssaayansi ne Tekinologiya mu ggwanga, Dr. Elioad Tumwesigye eyeeyamye okuwa abagole ente nga yeegasse ku nte endala ttaano ezaabaweereddwa okutandika obufumbo.

Abayimbi abalala okuli; Chris Evans ne Dr. Hilderman be bamu ku baasanyusizza abagenyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...

Kasangati 220x290

Bawambye omuwala omulala e Kasangati...

ABAWAMBA abantu beesomye luno, bawambye omukazi omulala e Kasangati ne basaba obukadde 10, kyokka olubaweerezzaako...