TOP

By’olina okwegendereza ng’oyambala engoye za Ssekukkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 24th December 2017

NGA tuli mu nnaku enkulu abantu bangi baategeka dda bye bagenda okwambala naddala ku lunaku lwa Ssekukkulu ng’abagenda okusaba oba abagenda okulya kkaasi nga bwe kitera okubeera.

Tanda 703x422

Newankubadde ng’abantu abamu bamala kumpi omwaka gwonna nga basonda ssente ezinaabayisa mu nnaku enkulu nga muno nwemuli n’okwambala, abamu batera okwambala ebintu ebitali bituufu oba ebibamalako emirembe ne batanyumirwa lunaku bulungi.

Bino bye bimu ku bintu by’olina okwegendereza ng’oyambala engoye za Ssekukkulu.

ABAKYALA

Okusinziira ku Resty Namatovu omukugu mu kwambaza abakyala ku Zibulaatudde Shopping Mall mu Kampala, omukyala asazeewo okwambala gomesi alina kubeera omwegendereza naddala ku langi gy’alonda.

Bw’olonda gomesi nga langi nsirifu, osobola okulonda ekitambaala nga langi eyaka esobole okuggyayo gomesi so nga ate gomesi bw’ebeera ng’eyaka ekitambala kibeere kisirifu era osobole okuvaayo.

Wabula emyaka nagyo ogyegendereza kuba omukyala omukulu yandibadde ayambala langi etayaka nnyo so ng’ate omuto osobola okwambala langi ezaaka oba ezimasaamasa.

Eky’omu bulago kisobola okukwatagana n’ekitambaala n’akasawo akatono ekika kya “Clutch” kuba ke kasinga okunyumira ennyo ku gomesi. Gomesi bw’eba ya bimuli oba ng’erina langi ennyingi, funa langi esingamu obutono gyoba ofaanaganya akasawo.

Gomesi zino zitawaanya abantu okwesiba kyokka ggwe osobola okutungisa gomesi y’ekiteeteeyi (half gomesi) eyanguwa okwambala n’osibirako ekitambaala so nga naawe atawaanyizibwa okusiba ekikooyi munda mu gomesi, osobola okukitunga mu ngeri ya sikaati n’oyambala bwambazi mu kifo ky’okwesiba n’oba n’emirembe ng’oyambadde.

Abantu abasinga olunaku balutandika na kugenda mu Kkanisa era bw’oba ng’oyagadde okusiba ku kaviiri, kyandibadde kirungi osibe ku nviiri z’omanyi ezinyumira omutwe gwo ate ezitakumalaako mirembe.

Okugeza bwoba tewamanyiira kusiba buviiri buwanvu kyandibadde kirungi n’otogezaako ku lunaku olwo kuba kaba kajja kukuleetera ebbugumu n’okumalako emirembe oleme kunyumira lunaku bulungi kuba n’abantu abamu obuviiri obuwanvu bubafukuula ensusu.

Ezitasaana mu masinzizo Ggwe omuwala oba omukyala agenda mu Kkanisa, engoye eza siriiti empanvu, ezirina obutimba mu bifo ng’amabeere, mu kiwato ne ku bisambi, n’engoye ennyimpi, tezisaana kugenderamu mu kkanisa.

Kyandibadde kirungi n’oyambala olugoye olusukka amaviivi nga lubikka omubiri, olwo ziri endala n’oziterekera obudde obwakawungeezi ng’ogenda okulya ssente.

Engoye ezirya ppate zitera nnyo okwettanirwa abakyala ku lunaku lwa Ssekukkulu kyokka bw’oba osazeewo okwambala olugoye bwe lutyo fuba okufuna engatto ezirugenderako nga zino ebiseera ebisinga ziba mpanvu kyokka tofuna lukukwata nnyo oba olulaga ennyo omubiri naddala ng’ogenda mu Kkanisa oleme kwesittaza bantu balala kyokka era osobole okusigala ng’onyumye.

Ggwe atali mulungi mu kutambuza ngatto mpanvu, kyandibadde kirungi n’osigala kw’ezo ze wamanyiira oba n’ofuna ez’ekikondo ekinene ate nga nnyimpi ko weewonye okutambula obubi so nga ate osobola okutambula obulungi mu ngatto ennyimpi.

Okwekolako ennyo nakwo osobola okukuleka n’olinda olweggulo ng’ogenda okulya ssente.

Mu Kkanisa osobola okukozesa liipusitiiki omusirifu olwo ayaka n’omukozesa olweggulo.

ABASAJJA

Newankubadde ebiseera ebisinga abasajja tebatera kolawo nkyukakyuka nnene era ng’abamu batera kweyambalira ssuuti ku lunaku olwo, waliwo ebintu byosobola okwegendereza; Bw’oyambala ‘‘Gentle’’ okugeza essuuti ate toyambalirako ngatto za ‘canvas’ wadde eza fulaati kuba tezigenderako.

Funa engatto ez’eddiba z’oba oyambala ate teweerabira okukuba ekikalu kuba essaati gy’otokubye kikalu ng’eri mu ssuuti nayo tenyuma.

Bw’oba osazeewo kwambala fulaati ng’engatto ng’okusaba kuwedde osobola okwambalirako jjiini n’omujoozi n’ogenda so nga ate jjiini esobola okugenderako engatto za kanvasi oba engatto z’ekika ekirala kyonna k’ebe eri gy’oyambalidde ku ssuuti naddala engatto ekika kya “mocasines” kuba zino zikola ku ssuuti ne ku jjiini.

Omusajja ayambadde essuuti n’okuba ekikalu teweerabira kussaamu musipi naddala bw’oba osazeewo kukuba kikalu. Omusipi gwongera ku ngeri gy’onyumamu era olabikira ddala ng’oli wa buvunaanyizibwa era bw’oba n’essaawa y’oku mukono nayo gisibe.

ABAANA

Ennyambala y’ebitengi ekyase nnyo ensangi zino era bw’oba osazeewo kwambaza baana bitengi fuba okutungisa dizayini ennungi kyokka naawe omuzadde osobola okufaanaganya n’abaana engoye.

Abaana abawala batera kwambala biteeteeyi nga bbo tebalina nnyo kika kya ngatto kye baboola kyokka ssinga omwambalizaamu sitokisi ayambalireko engatto ezitalaga bigere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Santi22 220x290

Bamukakasizza ku butendesi bwa...

Solari, eyazannyirako Real wakati wa 2000 ne 2005, okuva lwe yakwata enkasi ya kiraabu eno ng'omutendesi, yaakawangula...

Swingsmadeoutoftireswebuse 220x290

Weenogere ssente ng’oyongera omutindo...

Buli kintu ekiva ku mmotoka tokisuula kuba kirimu ssente ssinga olowooza n'obyongerako omutindo.

Nkonerako 220x290

Nnoonya alina "waaka"

Njagala omukyala alina ku ssente, amanyi omukwano, ng’ali wakati w’emyaka 20-30, talina siriimu kuba nange ndi...

Umar1 220x290

Umar Mwanje atandise okulya ku...

OMUYIMBI Umar Mwanje (ku ddyo) eyayimba ennyimba nga ‘‘Omwana wa musajja, Ttivvi y’omu ddiiro, Nnina ekyejo n’endala...

Buyaga 220x290

Dr. Kisembo anoonya ki e Buyaga?...

DR. Emmanuel Kisembo y’omu ku baalwanirira abatuuze b’e Bukasa, Namataba n’e Kito mu Kira obutagobwa ku ttaka...