TOP

Ffiga yange nnungi teboola ngoye

By Musasi wa Bukedde

Added 7th January 2018

LINDA Birungi omutuuze w’e Kawempe annyonnyodde engeri gye yekuumira ku mulembe.

Wat 703x422

Bya VICKY NABUKEERA

Ono agamba nti ennyambala kye kimu ku bimukuumira ku mulembe n’akuba abayise naye nga ne Katonda yamuyamba n’amuwa ffi ga ennungi eteboola ngoye.

Yategeezezza bwati; Engoye Agamba nti afaayo ku nnyambala era yettanira nnyo emisono egiri ku mulembe.

“Njagala nnyo engoye ez’ebitengi kubanga mpangaazi ate nga ziba n’amabala ag’enjawulo nga bwe mbyambala binyanguyira okutobeka n’engoye endala. Emirundi egisinga nnyambala ebitengi ebya langi ez’enjawulo ne nteerako olugoye olwa langi emu okugeza ng’olugoye olweru ne ndabika bulungi.

Ndi muwala eyasoma eby’emisono ku YMCA nga kinyanguyira okwetungira emisono gy’engoye gye njagala era nga mu bye nnyambala mwe muli sikaati za tayiti, ebiteeteeyi ebinene bye bayita( bagi) bbulawuzi za croptop n’ebirala.

Linda agamba nti engoye zino zimumalako akasente akawerako ng’oluusi agula ebitengi mu bipimo bya mita. Bw’aba wakutunga kiteeteeyi agula mmita nga ssatu ku 30,000/- n’agula n’ebigenderako ng’amapeesa, zipu, layiningi okukkakana ng’ali mu 50,000/-.

‘‘Bwe maliriza okutunga olugoye okugeza nga sikaati ey’ekitengi nfunirako bbulawuzi egenderako emirundi egisinga nnonda bbulawuzi okusinziira ku langi eziri mu sikaati y’ekitengi bisobole okukwatagana’’, bw’agamba.

Ayongerako nti bw’aba tayambadde bitengi yettanira engoye ezaabulijo okugeza ng’empale za high waist, bbulawuzi bwe bayita kamizo mpozzi n’ebiteeteeyi ebipya.

Engatto

Agamba nti ayagala nnyo engatto za kakondo kubanga ayagala okwongera ku buwanvu bwe naddala ng’agenda ku mikolo era yettanira nnyo kakondo ez’ekika kya sharp shooter (eza akakondo akawanvu) kubanga zimuwa emirembe yadde nga ziba mpanvu nga zino azigula wakati wa 50,000/- ne 60,000/-.

‘Bwemba sambadde ‘sharp shooters’ nnyambala engatto za wegi kubanga nazo zimpa emirembe ate oluusi ku wiikendi nnyambala za wansi nga ngendako ku bbiici.

Enviiri

Mwana muwala ono atambula n’omulembe nga enviiri ze nazo azifaako byansusso. Linda yettanira nnyo enviiri ekika kya wiivu ng’etera kusiba wiivu za human nga zino zibanga nviiri z’abantu osobola okugisiba n’ogiddamu wamu n’okugiseetinga.

“Wiivu za human ntera kuzigula wakati wa 100,000/-ne 150,000/- nga okusiba kumalako 50,000/-.

Birungi agamba nti bw’aba asibye wiivu eno agimazaayo emyezi 3 oluvannyuma n’asiba endala.

Ffiga

‘Ffiga yange ngikuuma obutayonooneka kubanga ensangi zino omuwala atalina ffi ga tatunda.

Nfuba okulaba nga ndya emmere etaliimu masavu mangi okugeza enva endiirwa nga kuno kwengatta n’okukola dduyiro. Buli Lwakutaano mpitirako mu jjiimu awo e Maganjo ne nkola dduyiro.

Kino kiyamba omubiiri gwange okusala amasavu n’okukuuma ffi ga yange nga nnungi.

Enjala

“Enjala zange nzifaako nnyo. Nfuba okuziteekako enjala Enzungu zisobole okulabika nga mpavu.

Nzisiigako langi okusinziira ku kika ky’olugoye lwe ηηenda okwambala era nga nzikolera 20,000/- buli luvannyuma lwa wiiki bbiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda