TOP

Engeri omuwala gye yeerabirira n'atafuma

By Musasi wa Bukedde

Added 21st April 2018

HEATHER Namutebi 22, ow’e Buziga nga mwolesi wa misono era alina edduuka ly’engoye erya Heather’s Collections mu Kampala yayogedde ne LAWRENCE MUKASA ku ngeri gye yeekuumidde ku mulembe n’atafuma.

Yoga1 703x422

Olususu kye kimu ku bintu abawala ensangi zino kye basinga okussaako essira, era buli omu afuba akulaba nti alukuuma obutayonooneka era bw’obasanga mu kkubo balinga abali mu kuvuganya mu ndabika nga buli muwala gw’osanga akuwa amaanyi okuyimirira n’omuwa obudde omutunuulire.

Okutuuka ku ssa lino, bateekamu amaanyi mangi wamu ne ssente.

Nze ekimu ku bintu bye nsinga okufaako lwe lususu lwange era nfuba okulaba nti terufuukuuka. Olususu ndusiiga ebizigo by’abaana ebya Baby Junior nga mbigula 10,000/-. Kuno ngattako woyiro aluyamba obutafuukuuka.

Ekirala, neewala okulya buli kyensanze era ebisiike n’ebirimu amasavu mbyewalira ddala.

ENGOYE

Omuwala yenna nga weemanyi obulungi oteekwa okuba ng’omanyi ebikunyumira, ate ng’omanyi n’ebipya ebiri ku mulembe.

Nze bwemba ngula engoye nsooka ne nkakasa nga ddala lugendera ku langi y’olususu lwange.

Nnyambala ebiteeteeyi ebiwanvu ne mmini. Kuno kwe ngatta ebitengi n’empale naddala jjiini ne jeegingi. Neewala langi ezongera okundaga nga ndi mweru nnyo.

ENGATTO

Njagala nnyo okuba ow’enjawulo ku balala. Engatto nnyambala ezo abalala ze balaba nga nzibu okutambuza ne kinfuula ow’enjawulo.

Ntera kwambala ez’obukondo obuwanvu ddala kubanga zimpa entambula ate nga zinyumira kyenkana ku buli kye nnyambala.

Engatto nzigula wakati wa 100,000/- ne 150,000/- okusinziira ku kika kyemba nsiimye.

EBYOKWEWUNDA

 amutebi mu ngoye ezimunyumira Namutebi mu ngoye ezimunyumira.

 

Ng’omuwala alabika obulungi ate nga ntambula n’omulembe sifuluma nnyumba nga seewulira nti nnyambadde ne nnyuma era nfuba okulaba nti ku bulungi bwange ne bye nnyambadde nteekako ebyokwewunda ebigendera ku lugoye lwe nnyambadde.

Mu bulago nteekamu omukuufu nga gino ntera kugigula wakati wa 25,000/- ne 35,000/-.

Ku mukono nsibako essaawa oba akakomo, olwo ku matu ne nteekako eby’oku matu ebigendera ku bye nnyambadde.

KALIFUUWA

Omuwala buli lw’olabika obulungi buli muntu abeera yeegomba okubeerako okumpi naye ne bw’aba talina ky’akugamba.

Eno y’ensonga lwaki oteekeddwa okwekuba akawoowo akasikiriza. Nze nkozesa kalifuuwa ayitibwa Heart to Heart nga mugula 45,000/-.

ENJALA

Ebimu ku bintu ebiraga omuwala eyeefaako z’enjala ze, naddala ez’engalo. Nze ezange nzisiiga cutekisi agendera ku bye nnyambadde.

Enjala okuzikolaka nsaasaanya 20,000/- era nnina we nsiigira ku kizimbe kya Gazaland mu Kampala.

EMIMWA

Emimwa gyange olwokuba nti mitonotono nfuba okulaba nti nsiigako ka liipusitiiki mu langi eyaka ne nteekako ne ka ‘lip shiner’ gisobole okumyansa.

Bino bimmalako 15,000/-. Mbyesiiga buli lwemba nfuluma ennyumba okulaba nga ndabika bulungi.

ENVIIRI

Nfuba okulaba nti nkola buli kimu okukuuma enviiri zange nga zirabika bulungi.

Nettanira okusiba wiivu naddala ekika kya ‘human’, ‘fl at iron’ n’endala era nga zino nkozesa 100,000/- okuzisiba.

Enviiri nzikyusa buli luvannyuma lwa wiiki bbiri.

FFIGA

Ffiga yeetaaga okulabirira obulungi ereme kukupaaluukako. Buli lw’okuuma ffi ga yo nga nnungi ne by’oyambala bikunyumira.

Ekimu ku binnyambye okukuuma ffi ga yange kwe kugendako mu jjiimu buli kawungeezi ne ku wiikendi.

ηηendako mu kisaawe ne nsamba ku mupiira ne bannange eno nga bwe nzirukamu ekintu ekinnyamba okusala omugejjo ate nga n’okulya ekyeggulo nabivaako, nsobole okukuuma omubiri gwange era bwe nnywa caayi oba yogati nga neebaka.

ENSAWO

Nkwata ensawo eziriko era nga nettanira obusawo bu ‘crossbags’ ‘,Totes’ ‘ shoulder bags’ era nga buno mbugula mu maduuka agatunda ensawo.

Ensawo nzigula okuva ku 35,000/- okudda waggulu okusinziira we nguze n’ekika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta