TOP

Omuddugavu weekwate bino ovuganye omweru mu kunyirira

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2018

DIDI Nabatanzi 23, owe Luzira ng’atunda nsawo z’abakyala ku mu Kampala ate nga mwolesi wa misono yanyonyodde LAWRENCE MUKASA ku ngeri gy’asobodde okwekuumira ku mulembe wadde nga muwala muddugavu.

Maga 703x422

Nabatanzi nga yeekolako.

Omuwala yenna okutambula n’omulembe tekikwetaagisa kufaanana bitaala ng’oyakira buli akulaba.

Ebisinga okutta ensusu z’abawala ensangi zino, baagala nnyo okufaanana Abazungu, kyokka ne beerabira nti omuntu olabika bulungi ng’olina akasusu ko maama wo ke yakuwa.

Nze sikozesangako ku bizigo byerusa oba ebikyusa omubiri gwange kuba saagala bimmalako mirembe.

Neesiiga akazigo ke bayita Delight nga kano nkagula 40,000/- mu maduuka agatunda ebizigo mu Kikuubo. Nettanira n’okunywa amazzi agabuguma kubanga omuntu buli lw’obeera n’amazzi amangi olususu terukala.

Kuno ngattako okunaaba amazzi agabuguma kubanga gano gayamba n’okulwanyisa ebirwadde byensusu ebyandikulumbye Ng’oggyeeko ebyo, Nabatanzi by’akola okulongoosa olususu lwe, waliwo ebintu buli muwala n’omukyala ayagala okuba n’olususu olunyirira wadde teyeeyerusizza by’ateekwa okumanya;

  • Buli ku makya ddira akawero okannyike mu mazzi agabuguma, oyise mu ffeesi yo okutuusa lw’owulira ng’ewewedde.
  • Teweebaka ng’olina mekaapu ku lususu.
  • Oteekwa okunaaba olususu emirundi ebiri olunaku.
  • Lusiige ebizigo ebirugenderako luleme kukala.
  • Kirungi olw’olumu okukozesa ‘mask’ ku lususu lwo. Eno osobola okugikola mu menvu oba amazzi g’eggi. Bw’okozesa ‘mask’ eno ekuuma olususu lwo ng luweweevu.
  • Amazzi g’enniimu nago togasuulirira. Gayamba olususu okutangaala naye nga teweeyerusizza.

Ebirala ebikuumira Nabatanzi ku mulembe mulimu;

ENGOYE

Bw’oba nga Katonda yakuwa ffi ga, wabula nga yakumma langi enjeru oteekwa okuba ng’omanyi engoye ezinaakulabisa obulungi.

Nze nnyambala engoye eziggyayo ffi ga yange naddala nga zinkwata. Langi ntera okulonda ezitayongera kunzikiza.

Engoye nzigula mu Kampala nga ntera okusaasaany wakati wa 80,000/- ne 150,000/-.

ENVIIRI

Olw’okuba ndi muwala muddugavu, nettanira wiivu za ‘human’ naddala mu langi eya zaabu kuba bundabisa bulungi. Oluusi nkyusaamu ne nsiba ppenso kubanga naye andabisa bulungi.

Enviiri zimmalako okuva ku 50,000/- okudda waggulu, okusinziira ku musono gwemba nsibye. Ntera kusibira ku kizimbe kya Gazaland mu Kampala.

FFIGA

Wadde ndi muwala muddugavu, Katonda yampa ffi ga ennungi. Waliwo ebintu abawala bye babuusa amaaso ng’ate bya mugaso mu kukuuma endabika yaabwe.

Nze njagala nnyo enva endiirwa ne ovekkedo era oluusi byendya byokka naddala ekiro ne neebaka.

ENGATTO

Ndi muwala mumpi kyenva nnyambala engatto z’obukondo obuwanvu. Zino zinnyamba okunnyogerako obuwanvu n’okumpa entambula era bwe nzambala abasajja we basinga okulabira obulungi obundiko.

Engatto nzigula wakati wa 50,000/- ne 100,000/- okusinziira ku kifo nguze.

EBYOKWEWUNDA

Nfuba okwesiiga mekaapu aggyayo langi yange. Ku maaso nteekako kawanja akasaamusaamu, akasige ne ηηenda mu saluuni ne bakakomola awo ku mimwa nakwo ne neesiigako liipusitiki agenderako.

Nkozesa lipusitiiki ekika kya ono ntera kukozesa ekika kya Kylie

ENJALA

Enjala ezange nfuba okulaba nti nsiziigako cutekiso azirabisa obulungi. Ono mukyusa buli luvannyuma lwa wiiki ne nsiigako omulala.

Wano zimmalako 20,000/- buli lwe ηηenda okuzikolako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina