TOP

Buubuno obusawo bw’ekivubuka obutaboola muwala na mulenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2018

OBUSAWO bw’abavubuka bwe bambalira mu maaso bwe buliko ensangi zino. Bulina amannya agawerako wabula ng’abasinga babuyita ‘Bum bags.’

Kaka 703x422

Omuwala ng’ayambadde akasawo. Ku ddyo, Omuvubuka ng’ayambadde akasawo.

Bukolebwa badizayina ab’amannya okuli Gucci, Adidas, Swat, Supreme, East Pak n’abalala, wabula kigambibwa nti endala wabula kigambibwa nti erinnya lya ‘Bum Bags’ lyava ku ngeri gye bwayambalwangamu edda nga babusiba ku kabina.

Mousah Kaggwa atunda engoye z’abavubuka ku Nabugabo yagambye nti omusono guno gwaliwo mu 1990, wabula ennaku zino gukomyewo.

Yagambye nti obusawo buno osobola okubwambala mu ngeri nnyingi n’osigala ng’onyumye era abakulaba ne bakussa mu kiti ky’abo abamanyi ebiri ku mulembe.

Osobola okukambalira mu kifuba oba emabega ku mugongo, mu kiwato oba mu lidda lw’ekiwato.

Eky’enjawulo, olina okufuba okulaba nti langi yaazo ekwatagana ne langi y’ebyo by’oyambadde.

Omuwala osobola okugyambalira ku kiteeteeyi, leegingi, patra oba olugoye olulala nga lwa kisaazisaazi. Omuvubuka naawe osobola okwambala akasawo kano.

Okusinziira ku mukutu ogwa www.telegraph.co.uk okunoonyereza kulaga nti abasajja 50 ku 100 ennaku zino bakwata ensawo, era nga ku bano, 11 ku 100 bazikwata nga musono.

Bano bazikwata nga bagenda okulya obulamu naddala mu biduula, okutambulamu olweggulo mu kibuga oba nga bagendako ku kabaga.

Oli waddembe okwambala ensawo eno ku mpale ekika kya jjiini, sweat pants, ku mujoozi oba ng’oyambadde ekinu.

Abavubuka abasinze okwettanira ensawo zino eza leather’ nga ziriko ne zzipu. Bano baterekamu ebintu byabwe nga waleti, essimu n’ebirala.

Kaggwa yagambye nti obusawo buno bugula okuva ku 40,000/-. Ekirungi nti obusawo buno tebuboola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...

Kasangati 220x290

Bawambye omuwala omulala e Kasangati...

ABAWAMBA abantu beesomye luno, bawambye omukazi omulala e Kasangati ne basaba obukadde 10, kyokka olubaweerezzaako...