TOP

Ali ku kyeyo kola bino obutabbibwa ng’ozimba

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2018

EMBEERA gyekomye okukaluba ne Bannayuganda okwettanira okugenda okukuba ekyeyo.

Pala 703x422

Okuzimba amaka nga gano oteekwa okuba nga wooli oba ng’olina yinginiya omwesigwa.

Abavubuka be basinze okwettanira okugendayo era abamu beesanga balina kusooka kwetundako ebimu ku bintu byabwe okufuna ssente ezibatwala nga balina essuubi okukola babizzeewo.

Bangi bakola ne beerumya basobole okufissa ssente ze baweereza okuzimba ennyumba ku butaka bagende okudda nga balina we basula.

Bangi bafundikira tebatuukirizza kirooto kyabwe olw’obutali bwesigwa obuli mu bantu be baweereza ssente zaabwe.

Abakugu bakuwadde amagezi g’olina okwekwata okusobola okuzimba ng’oli bunaayira oba ku kyeyo ogende okudda ng’olina entandikwa era obutabeerawo terina kubeera nsonga ekugaana kwekulaakulanya.

  • Omulimu bwe guba munene kibeera kirungi okufuna omukugu n’akuyambako okulabirira bye bazimba. Asobola okubeera eyakuba pulaani y’ennyumba ng’ayitirawo okukakasa nti bakyali ku mulamwa oba yinginiya. Abazimba abamu bakola ensobi. Bafuna omubalirizi amanyiddwa nga ‘‘Quantitative surveyor’’ n’ababuulira ebyetaago byonna. Kyokka ate bayisaawo ekiseera kiwanvu nnyo ne balowooza nti bye baabalirira bye bikyakola.
  • Kibeera kirungi okukola endagaano wakati w’omuzimbi naawe kyongere obuvunaanyizibwa ku bazimba kuba bamanya nti basobola okuvunaanibwa mu kkooti bwe basobya.
  • Yinginiya Vincent Katende owa Treasure Consultants agamba nti kirungi okufuna omuntu wa famire gwe weesiga era ng’ategeera eby’okuzimba. Kyokka olina okuba ng’omusasula omusaala kuba alekawo emirimu gye n’akubeererawo n’okumuzzaamu amaanyi.
  • Kontulakita azimba ennyumba alina okuba ng’ayogeranya butereevu naawe ateekamu ssente, olwo gwe wateekawo asigalire kulabirira bye bazimba. Kino kikuyamba omuzimbi okukufunamu obwesige era olina okuteekawo embeera mwasobola okukufunira ng’abadde akwagadde.
  • Ennyumba kirungi okugiyisa mu mitendera gyonna egy’okuzimba ng’okusooka okufuna pulaani y’ennyumba n’okufuna omukugu n’abalirira ebyetaago byonna. Kino kikuyamba n’okumanya emitendera gy’okuzimbamu ennyumba.
  • Wadde oli bunaayira walina okubeerawo enkola ekumanyisa omulimu gwe bakoze buli lunaku. Bayinza okukukubira ebifaananyi ne babikuweereza ku ssimu n’osobola okutambulira awamu nabo naddala nga bakozesa enkola ya WhatsApp.

KOZESA KKAMPUNI

Joan Nakiboneka ow’e Magere - Gayaza eyazimba ng’akyali ku kyeyo yagambye nti mu kiseera kino waliwo kkampuni ezimanyiddwa mu mateeka z’osobola okusindikira ssente ne bakuzimbira ennyumba nga bw’osasula ku kibanjampola.

  • Ekirungi kya kkampuni ezizimba nnyingi zirina enkola y’okukwasa abantu ennyumba nga ziwedde. Kino kikuyamba okukuzimbira ennyumba ng’eteredde bulungi nga bwe wayagala. Basobola n’okufuna poloti mu kifo ky’oyagala olw’ensonga nti balina okukuuma erinnya.
  • Agamba nti ennyumba z’abapangisa ze nnungi okuzimba nga toliiwo kuba zikola ssente ate ng’abazirabirira ne bwe batakusasula bulungi era ozisangawo.
  • Ekirungi bakuwa ekiseera ky’osasuliramu era mu myaka ebiri w’okomerawo babeera bakukwasa bisumuluzo bya nnyumba yo.
  • Ku wooluganda n’emikwano, Nakiboneka agamba nti ekisinga obukulu kwe kufuna omuntu omwesigwa era ategeera bye bakola. Kyokka ab’emikwano okulumirirwa kutera kuba kutono, wadde nga n’owooluganda bw’asalawo okukubba takulekerawo. Oluusi owooluganda ayinza n’obutakubba, kyokka olw’okuba talina bukugu ne bamala gazimba ne kibaleetera okutabuka.
  • Moses Kamoga agamba nti tasemba muntu yenna kugula poloti nga taliiwo kuba tasuubira nti waliwo asobola okumusiimira okusinga ye. “Kizibu okumanya oba nga ddala ettaka lye bakugulidde lya Kabaka oba lya kyapa.

Bw’obeerawo kikuyamba n’okutunula ku biwandiiko. Ebiddirira ne bw’otabeerawo ekikulu kasita ettaka liba liryo,” Kamoga bwe yagambye.

Dennis Obbo, omwogezi wa minisitule y’ebyettaka yalabudde abali ku kyeyo okwewala okukozesa obwangu obuyitiridde kuba kisobola okubasuula mu buzibu. Yawadde eky’okulabirako ky’abantu abajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kani4 220x290

Kanye West ne Kim Kardashian baawaanye...

Omumerika Kanye West ne mukyala we Kim Kardashian bacamudde pulezident Museveni.baawaanyi Uganda baagiyise ggulu...

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde