TOP

Engeri ennyangu ey’okwegobako mugaba ku mubiri

By Musasi wa Bukedde

Added 28th July 2018

MUGABA abasinga abalabikira bubi. Era abamu abalemesa n’okwambala emisono egimu gye bandyagadde.

Pala 703x422

Omukyala ng’alaga mugaba mu kiwato.

Asinga kubeera ku mikono, amabeere, akabina, olubuto, entumbwe, mu kiwato ne mu bifo ebirala.

Abakyala abalina mugaba ku mikono oluusi batya okwambala omusono gwa ‘musalankwawa’ kuba gulaga emikono gyonna.

Abamulina ku magulu beesanga beewaze engoye ennyimpi, oluusi ne bwe ziba zibanyumira nga bazambadde. Mugaba aleetebwa ebintu bingi, omuli okugejja ennyo, okukogga embagirawo ate olumu atambulira mu famire.

Omubiri bwe gwereega olususu lunafuwa ne luleeta enkuubo. Mu kusooka enkuubo ziba mmyuukirivu, oluvannyuma ne zikyuka ne ziddugala.

Joyce Mukisa owa Joy Beauty Palour mu Kampala yagambye nti tekyetaagisa kweraliikirira nnyo, ng’ofunye mugaba, kuba waliwo ebintu ebyobutonde omuntu alina mugaba by’asobola okukozesa n’amwegobako.

1 Ekigaji. Funa amazzi g’ekigaji ogasiige awali mugaba ogalekewo okumala eddakiika 15, oluvannyuma naabawo n’amazzi agabuguma. Kikole emirundi ebiri buli lunaku ojja kulaba nga mugaba atandise okukuggwaako.

2 Oyinza n’okukozesa ebikuta by’emmwaanyi. Biteeke mu mazzi binnyikire bulungi, oluvannyuma obiyise mpolampola awali mugaba. Kikole ng’okiddiηηana ojja kulabawo enjawulo. Bw’omala okuyisaawo ebikuta bino oyinza okunaabawo n’amazzi agabuguma olwo n’oyisaawo ‘olive oil’.

3 Sukaali naye bw’oba omukozesezza bulungi ayinza okukuyamba ku kizibu kino. Funa ekijiiko kya sukaali ogattemu butto omutonotono n’amazzi g’enniimu osiige awali mugaba. Bimazeewo eddakiika 10 onaabewo n’amazzi agabuguma. Kiddiηηane ojja kulabawo enjawulo.

4 Ekinzaali ekiganda nakyo kikola ku mugaba. Funa ekijiiko ky’ekinzaali ogattemu omuzigo oba ‘yogurt’ obitabule wamu, bisiige ku mugaba bikale okumala eddakiika 10 oba 15 oluvannyuma onaabewo n’amazzi agabuguma osiigewo ku bizigo.

5 Osobola n’okusiigawo amazzi g’eggi. Gano galimu ekiriisa ekizimba omubiri. Amazzi gano gasiige mu mugaba ogaleke gakalireko. Bw’omala naabawo n’amazzi agannyogoga, osiigewo ‘olive oil’. Ono ajja kuyamba okugonza olususu. Kikole buli lunaku ojja kulabawo enjawulo.

6 Amazzi ga lumonde. Gano galimu Vitamin n’eminnyo egyenjawulo egiyamba okukuza n’okuzzaawo olususu n’obutoffaali obukaddiye. Musalemu, oddire ekitundu oyise awali mugaba.

Kakasa nti amazzi ago gakalirawo oluvannyuma onabeewo n’amazzi agabuguma. Bw’onyiikira ojja kulaba nga mugaba aggwaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...