TOP

Enviiri ennungi bw’ozisiba buli kiseera kizoonoona

By Musasi wa Bukedde

Added 28th July 2018

DAPHINE Vivian Namayanja Ngoma ow’e Bulenga mwolesi wa misono kw’agatta okukola meekaapu. Muwala mulungi era afaayo ku ndabika y’olususu lwe, enviiri, by’ayambala ne ffi ga ye. Yayogedde ne JOANITA NANGONZI n’amutegeeza engeri gye yeekuumira ku mulembe.

Wano 703x422

ENVIIRI zange ez’obutonde kye kimu ku bindabisa obulungi. Eno y’ensonga lwaki sitera kuzisiba nga bwe kiri ku bawala abasinga.

Ebiseera ebisinga enviiri nzikuuma nga si nsibe wabula nziteekamu sitayiro ezizirabisa obulungi buli kiseera.

Nazuula nga bw’oba n’enviiri ennungi ng’ezange ate n’ozisiba buli kiseera, ekivaamu nga zitandika okukutuka, olwo ezaali zifaanana obulungi ne zitandika okukyuka okukkakkana nga zoonoonese.

Nze nviiri ndwawo okuzisiba ate bwemba nsibye neewala emisono egikoona ku lususu lwange kuba kimmalako emirembe.

OLUSUSU

Neebaza Katonda eyampa langi eyakatakketakke era ngyenyumirizaamu era njaagala nnyo. Y’ensonga lwaki neewala ebizigo enyerusa. Olususu ndanaaza ‘musawo soap’ olwo ne neesiiga ebizigo bya ‘musawo cream’, ne ‘musawo jelly’ era binkolako bulungi.

EBYOKWEWUNDA

Omuwala yenna atambula n’omulembe yeewunda. Njagala nnyo okwekuba meekaapu andabisa obulungi era guno gwe gumu ku mirimu gye nakugukamu.

Olw’okwekuba meekaapu ne nnyuma, abawala bangi abampa emirimu gy’okubayooyoota ne bansasula ensimbi.

Neesiiga meekaapu okusinziira ku ngoye ze mba nnyambadde, n’ekifo gyendaga. Waliwo engoye nga tezeetaaga muntu kwewunda nnyo era bwemba nzambadde nteekako lipusitiiki mutono ne neesiiga n’ekkalaamu ku bisige.

Eby’oku matu nabyo oluusi mbyambala okusinziira ku ngoye zemba nnyambadde. Kuno ngattako essaawa ne gaalubindi z’omusana sitera kuzigwa.

ENGATTO

Nnyambala ebika by’engatto byonna ate era zinnyumira. Nnina emigogo gy’engatto egiwera era zino nzambala okusinziira ku lugoye lwemba nnyambadde n’ekifo gyendaga. Okugeza bwemba ηηenda kwolesa misono, ntera kwambala engatto empanvu.

ENSAWO

Ntera okukwata obusawo obutonotono era nga buno mbugula okuva ku 25,000/- okudda waggulu.

ENJALA

Sitera kusiiga njala zange cutekisi kuba azigubya. Ntera okuzisala ne nzireka nga si nsiige wabula nzikuuma nga teziriimu kko.

FFIGA

Okwewala okugejja, neesonyiwa emmere erimu butto n’amasavu. Ndya ebibala n’enva endiirwa. Kuno ngattako okubuuka omuguwa emirundi ebiri mu wiiki.

ENGOYE

Nnyambala emisono gy’abawala egiriko wabula nnyambala egyo eginnyumira. Nnyambala ebiteeteeyi, sikaati, empale, ‘jump suit’ n’emisono emirala. Engoye nzigula buli we nsanze, kasita luba nga lulungi ate nga lunnyumira.

Ekimu ku bimpa amaanyi mu byenkola kwe kuba nti nfuba okutuuka ku buwanguzi. Era nkubiriza bawala bannange beewale ebintu ebyerusa kubanga birimu endwadde ze bajja okufuna nga bakuze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina