TOP

Obusawo bw'omu kifuba ne mu kiwato bukutte akati

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

Obusawo obwambalwa ababigize mu kisawo ne mu kifuba bwettaniddwa ensangi zino. Businga kwambalwa abagenda okulya obulamu ne mu biseera eby'eddemba.

Spicediananew 703x422

Spice Diana n'akasawo k'omu kiwato.

Bya MARY NAMBWAYO

ABANTU abamanyi eby’okwambala bettanidde obusawo obusibibwa mu kiwato wamu ne mu kifuba.
Bano babwambala nga bagenda naddala okulya obulamu. Obusawo buno waliwo obw’abakazi n’obw’abasajja.

OBUSAWO BW’OMU
KIFUBA (CHEST BAGS)

 muvubuka ayambadde akasawo komu kifuba Omuvubuka ayambadde akasawo k'omu kifuba.

 


Dustun Yuppys omukugu mu by’emisono gy’abakazi n’abasajja ng’abeera Namasuba yagambye nti obusawo obw’omu kifuba bwambalwa abakazi n’abasajja wabula kisinziira ku kika kubanga waliwo obumayiddwa nti ddala bwa basajja.
Ayongerako nti obusawo buno tebugenda mu ofiisi wabula kambalwa mu bifo ebisanyukirwamu, era kanyuma ng'oyambadde mu ngeri ya kisaazisaazi.


Obusawo bw’omu kifuba osobola okubufuna mu maduuka agatunda eby’emisono mu Kampala wabula omuwendogusinziira ku kifo. Bugula okuva ku 60,000/- n’okudda waggulu. Buggyibwa mu mawanga ga Bulaaya ne China era nga buli mu langi okusinga enzirugavu, bbulu, emmyuufu n’endala.

OBUSAWO OBW’OMU
KIWATO (WAIST BAGS)

Spice Diana n'akasawo k'omu kiwato.

 Benard Sseremba ow’emisono gy’abakyala n’abaami agamba nti obusawo bw’omu kiwatobwettaniddwa abamanyi ebiri ku mulembe era nga bwambalwa abasajja n’abakazi naddala abacakaze.
Nabwo bwambalwa abasajja n’abakazi wabula obw’abasajja bwa njawulo kubanga bubeera n’ekisipi kinene ate nga bulina ekigatta emabega we bagisibira wabula obw’abakyala bubeera n’akasipi katono nga kennyini k’okozesa okusiba.
Obusawo buno tebugenda mu ofiisi wabulabwambalwa ng’omuntu ayambadde engoye ez’ekisaazisaazi.


Obusawo buno nabwo buli mu langi ez’enjawulo nga enzirugavu, obubera obutobeke nga bwa bimuli, emmyuufu, enjeru n’endala.
Bwambalwa  ku mpale, ebiteeteeyi, wamu n’engoye endala.
Bugula okuva ku 40,000/- okudda waggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...