TOP

Eyettanira okwambala mmini, wekkaanye bino

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

ABAWALA bangi abatambula n’omulembe bambala engoye ennyimpi oba mmini. Wabula waliwo ebintu by'olina okussaako essira ng'oyambadde mmini.

Becky3a 703x422

Namuyanja ayambala mmini

Bya Patrick Kibirango


ABAWALA bangi abatambula n’omulembe bambala engoye ennyimpi oba mmini.
Solomone Kawuki omu ku bategeera eby’okwambala agamba nti buli muwala asobola okwambala engoye ennyimpi n’anyuma, ssinga afaayo okumanya byalina okuteekako omutima.

1Yambala engatto ezikutuuka. Kino kijja kukusobozesa okutambula obulungi era kijja kwongera okukulabisa ng’onyumye. Olugoye olumpi lunyumirako engatto y’akakondo akawanvu, naye bw’oba tosobola kukatambuza, tokeesibaako, oyinza okwambala ‘wedge’ oba pampu.

2 Bw’oba oyambadde mmini ng’ogenda mu kifo eky’obuvunaanyizibwa, yambaliramu sitookisi ezitangaala (body stockings). Kino kiyambako obuteesittaza abakulaba naddala abatayagala musono guno.
Ekirala, sitookisi zino era ziyamba ssinga obeera n’enkovu ku magulu ne zitalabika.

3 Teweerabira okwambaliramu ‘biker’. Eno erina okuba eya ppamba ng’ekukwata bulungi omubiri. Kino kijja kukuyamba obutakunama ssinga weesanga ng’olina okukutama, oba ng’otudde olugoye ne lwesika.

4 Kirungi otambuleko n’akakooti oba akasweta mu nsawo. Kano kajja kukutaasa bwe weesanga ng’oli mu kifo we bayinza obutakkiriza kwambalirayo bimpi. Akasweta kiba kirungi ne kaba kawanvu ko.

5 Bw’oyambala ebimpi, olususu lwo lusiige woyiro naddala amagulu, gabeere nga ganyirira. Kirabika bulala okwambala mmini kyokka ng’amagulu gasiiwuuse. Tambula n’akazigo mu nsawo, bw’olaba osiiwuuse nga wezzaako.

6 Weemanyiize okutambula n’essimbo. Bw’oyambala mmini ate n’otambula ng’osaatuuka, bajja kukuggya emize.

7 Beera mumativu n’omubiri  gwo. Bw’oba toli mumativu oba tewekkiririzaamu na kikula kya mubiri gwo tosobola kwambala bimpi n’onyuma kuba ojja kutambula nga teweekakasa.  Bw’oba oli munene osobola okwambala ggata n’olabika bulungi.

8 Teweetonaatona nnyo. Bw’oba oyambadde ebimpi fuba omubiri gwo oleme kugufuula ‘bbize’ nnyo.
Weewale okwewunda ennyo, teekako ebisaanidde nga  obw’oku matu obutonotono, n’omukuufu gw’omu bulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.