TOP

Kola bino okutangira ebiwoggana awaka ne bikubuza emirembe

By Musasi wa Bukedde

Added 6th May 2019

OMUNTU bw’annyuka emirimu gy’olunaku yandyagadde okuwummulira mu kifo ekisirifu obulungi asobole okuwummuza obwongo. Ekyennaku kino si bwe kiri mu bitundu bya Kampala n’emiriraano olw’ea ttabulu w’ebireekaana ebyefuze buli kitundu.

Gives 703x422

Ekikomera naddala ng’ennyumba eri ku kkubo kiyamba mu kutangira amaloboozi agava ku kkubo.

Ebirala biviira ddala mu nnyumba mwennyini era ttivvi bw’ebeera mu ddiiro ogiwulira kye kimu n’ali mu kisenge. Embeera eno yawalirizza poliisi okuggala ebifo ebimu ebisanyukirwamu e Kololo okusobozesa abasulawo okwebaka ku tulo.

Muhamad Nsereko, omukubi wa pulaani owa 3M Design and Construction Company agamba nti eddoboozi litambula ng’amayengo. Ekitundu kyonna ekivaamu eddoboozi litambula mu nsonda zonna.

EBIREETERA AMALOBOOZI OKUTAMBULA ENNYO MU NNYUMBA

Okuzimba ekisenge eky’omubiri omutono ennyo, era bwe kutabeerako pulasita kisukka. Enzigi n’amadirisa bwe bibeera nga biggulwa nnyo.

Ennyumba omutali bintu ng’entebe zibeera zitambuliramu nnyo amaloboozi, kuba tewali kigatangira. Okuzimbisa endabirwamu ez’oluwewere eza milimiita essatu oba ennya.

Amaloboozi gano gatambula nga tegasibyemu okutuusa lwe gasanga ekintu ekigatangira okweyongerayo.

Obumooli obugazi ennyo kyangu okuyingiza amaloboozi okuva ebweru. Okuzimba okumpi n’oluguudo. Siiringi empeweevu ennyo ng’eza pulaayi wuudu.

ENGERI Y’OKWEWALAMU AMALOBOOZI AGAVA EBWERU

Amaloboozi agava ebweru ge gasinga okuba ag’obulabe kuba togalinaako buyinza. Gezaako okuziba ebituli byonna ebiri ku nnyumba, awamu n’emiwaatwa gyonna okuliraana enzigi n’amadirisa.

Bwobeera tonnazimba kakasa nti ebisenge ebyetaaga akasirise biriraanigana. Okugeza ekisenge ky’abakulu kyandiriraanye ekisenge omusomerwa ebitabo.

Ssinga obeera waliraana oluguudo oluyisa emmotoka, osobola okusimba emiti okumpi n’awaka ne gisobola okutangira ku maloboozi agamu.

Okuzimba ekikomera nakyo kikendeeza ku maloboozi g’ebiyita mu luguudo.

Yinginiya Vincent Xavier Katende agamba nti abantu abazimba amasinzizo ng’emikikiti n’amakanisa, balina okuddayo ku nnono y’okuzimba ebisenge nga biwanvu ddala era bwe kiba kisobose bagateeke ku busozi.

Kino kitangira amaloboozi obutagenda mu bantu. Ennyumba erimu siiringi ey’engalama, ekola kinene okutangira amaloboozi okutambula mu nnyumba.

Ennyumba yonna gyekoma okubeera empanvu n’obutayingiza maloboozi mu nnyumba. Bwe kituuka ku kisenge ky’abakulu kyandibadde kizimbibwa ne kituukira ddala ku mabaati wadde mulimu siiringi.

ENGERI Y’OKUTANGIRA AMALOBOOZI AGAVA MUNDA MU NNYUMBA

Enzigi n’amadirisa byandibadde bibikka bulungi omuwaatwa we biggala.

Kirungi wansi okukolebwa ne waggwa bulungi nga tebannaba kuteekamu luggi.

Oluggi lw’ennyumba olina okulutunulamu n’okakasa nti tekuli katuli kayingiza kitangaala mu nda.

Bw’obeera munda n’olaba awayita ekitangaala kyonna, manya nti guno omuwaatwa era wasobola bulungi okuyitawo amaloboozi.

Endabirwamu gy’oteeka mu luggi oba mu ddirisa gye zikomya okuba ez’omubiri omunene n’okubeera nga tegayingiza bulungi maloboozi.

Waliwo n’amadirisa ge bakola nga gagendamu endabirwamu bbiri okuli ey’omu maaso n’emabega.

Gano gatangira nnyo amaloboozi, kyokka gano gatera nnyo okuteekebwa ku bizimbe bya ofi isi.

Bw’obeera osementinga ennyumba wansi, kakasa nti okozesa ebintu ebitasitula maloboozi.

Ssinga weesanga ng’amaloboozi gasituka nnyo ng’omuntu atambula mu nnyumba, osobola okussaamu kapeti kuba tezisitula maloboozi. Ennyumba gisseemu ebintu ebikozesebwa okugeza ng’entebe ennene.

Zino ziyambako okukwata amaloboozi ne gabeera nga tegatambula nnyo. Ebintu ebirala nga kateni nabyo biyambako mu kukendeeza amaloboozi okutambula.

Ebyuma nga fi riigi oba ebyoza engoye kakasa nti tobiteeredde ddala ku kisenge. Amaloboozi gaabyo bwe gagenda ku kisenge, gazimbulukuka ne gongera okusaasaana mu nnyumba.

Ebintu bye bimu weewale okubiteeka wansi ku ttaka. Funayo akantu kw’obituuza, kuba omusinde ogubivaamu bwe gugenda ku seminti wansi obutereevu gweyongeramu.

Ate okubeera n’ekintu kw’obituuza kibiyamba obutayonooneka mangu n’obutayonoona we bitudde olw’okutuuyana n’amazzi okukulukutirayo.

Ying. Katende yalabudde nti abantu abamu batera nnyo okukuuma enzigi n’amadirisa nga biggule okumala ekiseera ekiwanvu.

N’olwekyo ne bw’okola ebirala nga toggala mikutu giyingiza maloboozi ojja kuba tolina ky’okoze.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nyiga1 220x290

Ensi egudde eddalu: Abeebyokwerinda...

TWABADDE tukyewuunya abakulira ekitongole kya ISO okulemesa ababaka ba Palamenti okulambula amakomera ag’ekimpatiira,...

Kiwa 220x290

‘Omwana ayagala okutwala ebyange...

JORDAN Ssebuliba Kiwanuka 40, atabuse lwa byabugagga bya kitaawe Mohan Kiwanuka Musisi 69, n’atuuka n’okukimuteekako...

Kolayo1 220x290

Supreme Mufti avumiridde 'safe...

SUPREME Mufti, Sheikh Kasule Ndirangwa avumiridde ebifo ebitali mu mateeka omusibirwa abantu by’ayogeddeko ng’ebiwa...

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...