TOP

Engeri gy’otangira abamala gayingira mu makaago

By Lawrence Kizito

Added 20th May 2019

BW’OMALIRIZA okuzimba ekikomera, olina okuteekako geeti omuyita abantu abafuluma oba abayingira awaka. Wabula olina okumanya ekika kya geeti ekituufu ky’olina okukozesa okusinziira mu kifo w’oli.

Pata 703x422

Ggeeti ennungi eyongera ku kitiibwa ky’amaka n’okutangira abamala gayingira.

Mike Kakande omukugu mu kukola geeti agamba nti, geeti nnungi ku nnyumba kubanga ekuyamba okuziyiza abantu okulaba by’obeera okola munda ate era n’okusalawo ayingira n’atalina kuyingira wuwo.

Ebika bya geeti

Sliding gate: Eno ye geeti gy’osindika obusindisi ne yeekululira ku bupiira ng’oggulawo. Bagyokyako obupiira wansi obugiyamba okuyiringita. Nga tennaba kuwangibwa wansi wasookawo olugogo nga kuno obupiira kwe butambulira.

Obupiira obuteekebwako bubeera bwa yinsi bbiri n’okusingawo okusinziira ku sayizi n’obuzito bwa geeti. Geeti eno eyamba nnyo abantu abali mu kifo ekifunda naddala abaliraanye ekkubo n’abo ng’ekikomera kyaliraana nnyo ennyumba.

Opening gate: Eno ye geeti eyeggula era ekozesebwa abantu abali mu bifo ebigazi. Zino zikozesa ppata ezookebwa ku geeti ne ku mpagi eziwanirira geeti eno. Sepulingi zino zibeera ngumu nnyo era zikolebwa mu sepulingi za mmotoka kubanga zisitula obuzito bwa maanyi.

Public gate: Eno ye geeti eteekebwa mu bifo eby’olukale omuli amasomero, amalwaliro, ebifo mwe basinziza n’ebirala. Zino zisobola okubeera eza ‘sliding’ oba ‘opening’ okusinziira ku kifo. Zino era ziteekebwamu emitayimbwa nga kisobozesa omuntu okulaba ebiba bigenda mu maaso munda.

Obuwanvu bwa geeti Kakande annyonyola nti; geeti erina okubeera n’obuwanvu bwa fuuti mwenda. Bw’eba egendako dizayini ne zifuuka mwenda n’ekitundu.

Wano terina kusukkawo. Buli kika kya geeti kisobola okugendako dizayini ez’enjawulo okusinziira ku kasitoma ky’aba ayagala. Ate ku nnyumba kwe nnyini nakwo kwetaagako enzigi ehhumu naddala ez’oku mulyango egiyingira mu nnyumba okutangira ababbi okubayingirira .

Mu kiseera kye kimu zirina okuba nga zirabika bulungi bw’oba oyagala okuggyayo ekitiibwa ky’ennyumba.

Enzigi ehhumu zirina kukolebwa mu mabaati n’ebyuma ebigumu obulungi. Abaagala okwongera ku bugumu bw’oluggi lw’omu ddiiro oluyingira munda bakoleramu ebyuma ebigumu ng’omubbi bw’aba ayasizza endabirwamu z’ekitundu eky’omu maaso ku luggi abeera asanga obuzibu okumenya awali ebyuma n’ayitamu.

CRANE roofings limited bakoze eby’omulermbe Bw’oba oyagala geeti n’enzigi eby’omulembe ate nga bigumu okutuukana n’embeera eyogeddwaako waggula osobola okuzifuna mu Crane Roofings Limited.

Bano bakola n’obuuma obuwunde obulungi obussibwa ku ‘balukoni’, ebisaanikira ebibikka ku binnya bya kazambi, empiira omuyita waya z’amasannyalaze, dizayini z’ebyuma ng’omuntu bw’aba abyagala n’ebirala ku miwendo emirungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jodan111 220x290

Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...