TOP

By'olina okumanya ku ssuuti ya mutema

By Ruth Nazziwa

Added 8th August 2019

Essuuti ya fiitingi, omuvubuka gy’asobola okwambala esobola okuba ng’emukutte bulungi n’ayambalirako empale eya kaccupa oba kapayipu ate nga mutema (cropped pants).

Bya  RUTH NAZZIWA

Essuuti eraga kiraasi. Era mu kiseera kino abavubuka n’abasajja bambala essuuti za fiitingi ate ng’empale za mutema. Bryan Ahumuza, omukugu mu by’emisono agamba nti abasajja tebatera kubeera na misono mipya okuggyako abavubuka be babeera n’ebintu ebipya ebiriko. Kyokka olina okutegeera ekiti ky’ogwamu n’omanya okumanya bw’osobola okuzambala.

Essuuti ya fiitingi, omuvubuka gy’asobola okwambala esobola okuba ng’emukutte bulungi n’ayambalirako empale eya kaccupa oba kapayipu ate nga mutema (cropped pants).

 

Amateeka agafuba essuuti ya mutema

1 Bw’oba otuula ng’oyambade essuuti ya mutema, sumulula eppeesa ly’ekkooti olyoke otuule kikusobozese okutoowolokokamu, owulire emirembe.

2 Bw’oyambala essuuti, sibako eppeesa limu lyokka erya waggulu.

3 Ate empale bw'eba ekukwata oba ng’ekutuuka bulungi teweetaaga kwambala musipi era okwambala omusipi ogufanagana n’engattokyadiba dda lwakuba abasinga bwe bakikwata.

4 Essaati gy’oyambalira mu ssuuti ekika kino oteekwa okusiba amapeesa gaayo gonna.

5 Kakasa ng’emikolo gy’essaati  tegirina kuyitamu mu kkooti kubanga omusono ogwo gwadiba dda, ekkooti w’ekoma n’essaati w’erina okukoma.

6 Essuuti gy’oyambade terina kukusinga bunene wabula erina okuba ng’ekutuuka bulungi kikusobozese okunyuma.

7 Olina okutegeera omukolo gw’ogendako kikusobozese okumanya langi y’essuuti gy’olina okwambalirako. Okugeza essuuti enjeru togyambala ku mbaga eteri yiyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte