TOP

Balaze akabi akali mu njala enkolerere

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2019

Enjala enkolerere abawala bangi abazeenaanika babeera bagole, wabula zeetaaga okwegendereza kubanga zikulubula enkasi z'abasajja ne zibaleetera amabwa. Ate oluusi zikulubula ebbakuli z'abawala bennyini ababa bazeenaanise nga bali mu kunaaza ebbakuli zaabwe olwo kajjampunui n'abalagala mu bbwa.

Enjala1 703x422

Enjala enkolerere

Omusono gw’abawala okukuza enjala, oba okuzipangisa zibongere okwezigula abasawo bakikubyemu ebituli. Enjala zino, nga na bangi abazeenaanika babeera bagole, zeetaaga okwegendereza kubanga zikulubula enkasi z'abasajja ne zibaleetera amabwa. Ate oluusi zikulubula ebbakuli z'abawala bennyini ababa bazeenaanise nga bali mu kunaaza ebbakuli zaabwe olwo kajjampunui n'abalagala mu bbwa.

Emisale egyo giyinza okuyitwamu okusaasaanya obulwadde nga mukenenya bwo bwezira wali kasale nga bwesogga musaayi.

Emisale gino gijja ng’omukazi agezaako okwongera okukwata ku nkasi y'omusajja okwongera amaanyi mu busimu bw'omusajja obuleeta essanyu. Kati awo mu kutitibana oba okugujubana okubaawo, wayinza okutuusizza emisale ku musajja. Oluusi ku nkasi y'ennyini oba ku ntula z'omusajja. Awo akabi ne katandikira.

Ate ku ludda lw'omukazi, naye ayinza okufuna obulabe bwe bumu nga yeerongoosa oluvannyuma lw'okutuuka ku ntikko. Bw’aba yeesiimuula ssupu wa manzaali agaba gayiise oluvannyuma lw'okutuuka ku ntikko, enjala zino ziyinza okumuwabako ne zikulubula ebbakuli ye yennyini. Ayinza obutawulira bulumi kubanga yennyini y'aba yeekulubudde naye emisale gyo giba gizze. Era oluvannyuma bw’aba agenda okufuuyisa awulira ng’abalagalwa.

 Abasawo bagamba nti olw'okuba enjala zino abakazi ze bagula mu saluuni zibaako langi, ne langi eno teba nnungi nnyo ng’eyingidde mu bbakuli y'omukazi kubanga tomanya mwe baagikola ekiyinza okukuleetera okulwala kansa w'emmanga eyo ate obuzibu ne bujja.

Ekyo nno kitundu kimu. Naye ng’abakazi abeesibako enjala zino ku ngalo zaabwe, bangi balekera abasajja be bayingidde nabo ekisaawe enkwagulo mu mugongo oba mu bulago ne mu bitundu ebirala byonna mwe baba bakutte nga bali mu kaboozi. Jjukira nti akaboozi bwe kaba kaatabye, munno akunyweza ng’ayagala oba oluusi  okukuweeweeta. Kati mu ttuluba eryo enjala zino we ziyinza okuwabira ate ne zikwagula bukwaguzi omusajja wo!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...