TOP

Nyambala ebigya mukolo gwe ηηendako

By Musasi wa Bukedde

Added 29th February 2020

DAPHINE Kateregga 25, ow’e Kitende akola gwa kuyooyoota nsusu kw’agatta n’okufumba emmere. Y’omu ku bawala b’omu Kampala abafaayo okwerabirira mu mbeera zonna. Agamba nti okwekuumira ku mulembe bye bimu ku bintu by’atasobola kwerabira era ng’omuwala yenna alabika obulungi. Agattako nti bw’aba agenda ku mukolo kiyitirira kubanga afuba okulaba ng’ayambala ekiteeteeyi ekigya mu mukolo gw’agendako, kuno kw’agatta engatto n’ensawo byonna nga bya mukolo.

Ime 703x422

Meekaapu gwe yeekuba ng’agenda ku mukolo naye amufaako nnyo okukakasa nti ddala yeekubye asaanidde era agendera ku mukolo ogwo gwe baba bamuyiseeko.

Agamba nti woduloopu ye agizza buggya buli kiseera okukakasa nti ddala buli w’afulumira ennyumba ng’aliko omukolo gw’agendako ddala abeera ayambadde mu ngeri entuufu egendera ku mukolo ogwo.

Yayogedde ne LAWRENCE MUKASA n’amulaga engeri gye yeekuumira ku mulembe mwaka ku mwaka.

OLUSUSU

Nnasalawo okwesiiga ebizigo bya Nevia ow’abasajja ku lususu. Kuno ngattako kawoyiro ka 55+.

Omuwala yenna ayagala okubeera n’olususu olunyirira si kirungi kumala geesiiga buli kizigo ky’osanze. Kirungi ne weesiiga ebizigo ebikuleka mu langiyo obutabuzaabuza ndabika yo.

Ekirala abawala abamu bafaayo okunyiriza ffeesi zokka olwo ebitundu by’omubiri ebirala okuli emikono n’amagulu ne batafaayo kubikolako. Kino kikyamu, kyandibadde kirungi bw’ofuna ebizigo ebinyiriza ffeesi, ofune ne by’okozesa ku mubiri gwonna.

Nze ebizigo bye nneesiiga binkolako omubiri gwonna ne gubeera nga gufaanagana.

FFIGA

Katonda bw’abeera yakugonnomolako ffi ga ng’eyange olina okugikozesa n’okuba abalabi kuba ffi ga etegeeza ekintu kyonna ky’olina ku mubiri gwo.

Bwe kaba kabina fuba okulaba nti engoye z’oyambala zikaggyayo bulungi kuba akabina kyekimu ku ky’obugagga abawala kye basinga okulwanyisa era ng’omuwala alina ffiga ng’eriko n’akabina akalabika kyandibadde kirungi n’oyambala engoye eziwumba omubiri gwo nga gulabika nti guli wamu olwo abalabi ne banuuka ensingo.

ENGOYE

Omuntu ng’alina kaffi ga n’ekitumbwe kati nga nze buli lugoye lw’oyambala lukunyumira. Lwakuba waliwo engoye eziboola endabika y’omuntu.

Okugeza bw’oba muddugavu nnyo tekyandibade kirungi n’oyambala ngoye nga zikuzikiza ne bw’oba ne kaffi ga akalungi era obula. Nze ndi muwala mweru ky’ova olaba buli langi ennyumira lwakuba nsinga kwagala ezo ezaaka nga emmyuufu, enjeru, bbulu ne kyenvu.

Zino bw’ozambala naddala ng’olinayo omukolo ate oyitirira kubanga toyinza kuzikira mu ngeri yonna. Wabula oteekwa okwambalirako ebinaayongera okuluggyayo obulungi, omuli; ensawo, engatto ne kalonda omulala.

Mpozzi n’ekirala, nfaayo okwambala olugoye olutuukana n’ekifo oba omukolo gwe ηηendako. Nsinga kwambala ngoye empya era ezisinga nzigula mu bantu abamanyi okwambala mu Kampala.

Omuwala yenna atambula n’omulembe ateekeddwa okukulembeza okwambala, ne bw’abeera mubi mu ndabika n’ayambala olugoye oluli ku mulembe obubi tebulabika.

Ekisinga okutwala ssente zange kwambala era engoye ezisinga nzigula wakati wa 100,000/- ne 200,000/- okusinziira ku lugoye n’ekifo we nguze era nga nfuba okulaba nga ngula olugoye nga luli ku mutindo gwa nsi yonna.

ENGATTO

Buli lw’oyambala abantu ne batuuka okukwogerako nti obanyumidde engatto zirina kya maanyi kye zongera ku muntu ayambadde n’anyuma.

Nnyambala engatto nga nsinziira ku mikolo gye ηηendako ng’embaga, okwanjula oba nga ηηendako awutu. Ntera okwambala engatto z’akakondo akawanvu kubanga zimpa entambula n’okuggyayo ffi ga yange olwo abalabi ne banuuka ensingo.

Nettanira nnyo n’engatto ekika kya ‘sneakers kuba zinnyanguyira naddala nga ndi ku bwangu, oba nga ηηendako ku bbiici kuba bumpa emirembe nga ne bwensalawo okutambulamuko sikaluubirirwa.

Engatto nzigula okuva ku 60,000/- okudda waggulu.

ENVIIRI

Sitayiro z’enviiri ezisinga zinyumira kuba omutwe gwange gwakula bulungi naye nga nsinga kwettanira nnyo wiivu za ‘human’ empanvu nga zigwa ku mugongo. Zino bwe nzisiba zindabisa nga ndi wanjawulo naddala nga za mayengo nga ziri mu langi ng’eya zzaabu, maluuni n’endala.

Oluusi nsiba n’omusono gwa ‘braids’ kubanga nazo zinnyumira. Bwemba nsiba enviiri nfaayo nnyo ku bye nnyambala era nfuba okusiba ezitaboola misono gya ngoye.

Ntera okusibira ku Mali Beauty World e Salaama era nga zimmalako 250,000/-.

ENSAWO

Siri mukwasi a nsawo nnene okuggyako obutono obuyitibwa ‘Clutches’ mpozzi ne ‘Cross bags’. Mbugula 100,000/- n’okwambuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo