TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Amayirungi gasikidde ensuku n’emmwaanyi e Nsangi

Amayirungi gasikidde ensuku n’emmwaanyi e Nsangi

By Musasi Wa

Added 7th November 2013

OBADDE okimanyi nti amayirungi kirime ekifuna ekiralu? Ekirimu ssente empya n’enkadde sso nga okugalima tekimenya mateeka?

2013 11largeimg207 nov 2013 114209657 703x422



Bya HERBERT MUSOKE

OBADDE okimanyi nti amayirungi kirime ekifuna ekiralu? Ekirimu ssente empya n’enkadde sso nga okugalima tekimenya mateeka?

Ggwe atakimanyi nkwanirizza  mu ggombolola y’e Ssisa n’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso, abatuuze gye bavudde ku kulima ekintu ekirala kyonna ne badda ku mayirungi!

Kumpi buli maka bwe mutabaamu musiri gwa mayirungi waakiri babeera n’ekikolo ku luggya! Bwe nnakyaddeeko mu byalo nga Kasenge, Kikajjo, Munkabira, Nakawuka, Buddo, Buloba n'ebirala ebisangibwa mu magombolola gano, okakasa omukwano abatuuze gwe balina eri amayirungi.

Ezaali ensuku ebitooke baabisaawa ne basimba amayirungi, n’abalina ensuku era bagasimbamu. Ate balabirira ennimiro zaago n'okugawa obudde basobole okufunamu.

Amaka ga Muky. Nabukalu agali e Kasenge mu Central zooni. Yagazimba mu mayirungi.

Abaganoga bakeera mu bunyonyi ne batambulira mu bbaasi okugenda mu misiri okukola. Singa okeera ku ssaawa 12:00 ez'oku makya weewuunya abantu ababuukira loole ezibatwala mu misiri okukola ate okutandika ku ssaawa 4:00 ez'oku makya ng'abakozi batandika okunnyuka olwo ku 5:00 pikipiki ne zitandika okwetawula nga zigasomba okugatwala ku takisi ne bbaasi kwe gassibwa okugaweereza bakasitoma baawe.

Amayirungi bagatunda mu bitundu by'ewala nga Busia, Arua, Masindi, Mbarara, Juba n'awalala.

Abatuuze bagamba nti okuva lwe baafuna amayirungi ng'ebirime ebirala ng'emmwaanyi, ensuku n'ebirla bifudde, ate tebejjusa kuba buli muntu mu bitundu bino alina engeri gy'afuna mu mayirungi.

Mw. Abdul  Kayongo atwala abalimi b'amayirungi mu ggombolola y’e Nsangi abeegattira mu kibiina kya Wakiso Miraa Growers and Dealers' Association, ekigatta abalimi n'abasuubuzi  b'amayirungi mu ggwanga agamba nti omulimu guno guliisa abantu abasoba mu 100,000 mu ggombolola ye yokka.

“Amayirungi galiisa abantu bangi abakola emirimu egy'enjawulo okuli bannannyini misiri, abasuubuzi, abanoga, abalima, abafukirira, abatema ebisubi by'okubikka, abasala endagala, aba bodaboda n'abalala era ogenda okumaliriza ng'abantu abali mu bukadde be bagulyako”, Mw. Kayongo bw'agamba.

Abakyala nga banoga amayirungi.

OKULIMA AMAYIRUNGI

Mw. Kayongo agamba nti nga bw’olima ebirime ebirala byonna, bw’omala okuteekateeka ettaka kw’ogenda okulimira, osima ekinnya mu mabanga ga ffuuti 8 ku 8, kuba amayirungi gayagaagala kyokka abasinga bagafuutiika olw’amaddu n’obutaba na ttaka limala.

Endokwa zikula ku bikolo ebikuze era zino kw’ogenda ozikuula. Wabula okusimba akasimbe obutereevu mu nnimiro kikooya kuba obeera olina okukalabirira ennyo gamba ng’okufukirira. Mw. Kayongo agamba nti baakyusizzaamu, kati basooka kukola beedi endokwa n’ekwata  bulungi n’olyoka osimba. Endokwa egula wakati 5,000/- ne 10,000/-.

Wakati w’omwaka gumu n’ekitundu n’ebiri n’ekitundu obeera otandise okukungula okusinziira ku bugimu bw’ettaka n’endabirira gy’ogulabiriddemu. Omuti gw’amayirungi guwanvuyira ddala n’okugejja n’otuuka n’okugunogerako ku ddaala.

Omuti gw’Amayirungi guwangaala okusoba emyaka 50, osobola okugutema ne gusibukira buto era osobola okugusimbuliza n’ogusimba awalala wadde mukulu.

Olwo gutwala omwaka gumu okuddama okunogebwako kyokka gino gitawaanyizibwa nnyo akasana olw’okuba nti amayirungi tegalina mirandira gya maanyi.

Essomero lya T$T Nursery and Day care Kasenge Central, Kiwalabye lye yazimba. mu mayirungi.

Amayirungi gakola bulungi ddala mu bifo omuli ebitooke kuba biyamba okukuuma amazzi mu ttaka era abalimi bangi balina ebitooke ebirabika obulungi mu misiri gyabwe.

“Okusobola okutaasa omusiri mu kyeya, olina okubikka ebikolo era tusaasaanya ssente nnyingi mu kufukirira emisiri gyaffe nga mmotoka tuzipangisa wakati wa 800,000/- ne 1,000,000/-. Ssente zino zigabanibwa nannyini musiri n’eyagupangisa ate waliwo abamu abatagabana abo  bakafiiramu,” Kayongo bw’agamba.

‘Buli mwezi nkola 1,000,000/- mu mayirungi’

Mw. Paul Kasongovu ow’e Maggwa-Buddo, agamba nti ekimu ku bisinga okusoomooza abalimi gwe musana. Olw'okuba nti amayirungi ganogebwako bukoola buto, mu kiseera ky'akasana ng'ebirime ebirala byonna amayirungi gano tegassaako bikoola n'olwekyo amakungula gaba matono.

Emiti kirina akawuka akagikaza ng'emmwaanyi ekifiizia abalimi kuba tebumaba kufuna ddagala wabula okukuulayo ekikolo kyonna.

Amayirungi era galumbibwa obulwadde obukwata ennyaanya obusinga era eddagala erifuuyirwa ku nnyaanya nago lye ligafuuyirwako.

Agattako nti ate n'enkuba ennyingi egababula ng'olina kugafuuyira ddagala lya nnyaanya eriziyamba obutababuka kyokka olw'okuba enkuba ebeera nnyingi oyinza okuba nga waakamala okufuuyita ate n'etonnya eddagala lyonna n'eryozaako.



OKUKUNGULA N'AKATALE

Muky. Edith Nabukalu ow'e Kasenge Central zooni, agamba nti wakati w'omwaka gumu n'ekitundu n'ebiri n'ekitundu obeera otandise okukungula. Amayirungi ganogebwako bukoola buto, ekikolo kinogebwako buli luvannyuma lwa nnaku 15 gy'emirundi ebiri omwezi.

Ekikolo ekissizzaako obulungi osobola okukinogako obutu 5 obugula 1,000/- buli kamu, ekitegeeza nti omwezi osobola okufunako 10,000/- nga bw'oba n'ebikolo 100 ofuna 1,000,000/-.

Abantu abalima emisiri gy'amayiringi abatali basuubuzi kugatwala mu katale, bapangisa emisiri gino eri abasuubuzi be bategeeragana nabo bbeeyi.

Okugeza omusuubuzi ayinza okukuwaamu 1,000,000/- buli lw'anoga. Abanoga basasulwa wakati wa 5,000/- ne 10,000/- okusinziira ku bungi bw'amayirungi aganogeddwa olunaku.

“Nze ndi mulimi ate nga ngasuubula. Amayirungi gano tugasuubuza 1,000/- akatu mu kiseera nga weegali wabula singa gabula mu kasana akatu katuuka ne 3,000/- era nga tulina abaguzi okwetoloola eggwanga gamba nga e Mbale, Kasese, Lira, Southern Sudan, Mbarara, Gulu n'ebitundu ebirala ate mu Kampala tusinga kugatunda mu Kisenyi era nga bakasitoma baffe abasinga Basomaali.

Bano bubaweereza emmaali ku mmotoka nabo ne baweereza ssente okuyita ku ssimu era mu kiseera ky'akasana gabeera gaakwekwata.

‘Essomero ndizimbye mu mayirungi’

ABBAS KIWALABYE  E KASENGE-BUDDO

Natandika okulima amayirungi gano emyaka nga ena egiyise oluvannyuma lw'okukola emirimu emirala ne bigaana. Nasooka kutema nnyama kyokka nga tebitambula ne nnyingirako mu bya takisi nga nabyo bizibu kwe kuyingira okukanika naye ng'emirimu tegirabika ne nvaamu.

Olw'okuba nti nakula bazadde bange balimi ba mayirungi era nga kwe nasomera okutuuka mu S6, nasalawo okwegatta ku mulimu gwa bakadde bange ne ntandika okusuubula amayirungi era mu kiseera kino nnina yiika z'amayirungi ezisoba mu ssatu. Nnina n'endala ze ntandise okusimba e Masaka.

Mu mayirungi nsobodde okuzimbamu amaka n'okutandikawo essomero mu Kasenge n'okugula ettaka mu bifo eby'enjawulo nga e Katende gye nnina yiika 15 n'ebintu ebirala. Nnina abakozi abasoba mu 50, omuli abanoga, ababikka, okukima amazzi, abalima n'emirimu emirala.



EDITH NABUKALU,  KASENGE CENTRAL ZOONI

Ebyamagero bye nfunye mu mayirungi sibirojja ne mbimalayo kuba nze nsobodde okuzimba ennyumba eyomulembe ddala n’okusomesa abaana bange ne batuuka ku yunivasite.

Ndi mulimi ate nga ngasuubula era nkozesa abakozi abasoba mu 30. Bano bakola ku kunoga ate emirimu emirala omuli okufukirira, okulima n’ebirala bawerera ddala era nga nkakasa amayirungi galiisa abantu bangi.

Nazimbamu ebiyumba by’enkoko era nga nazo nzirunda naye nga ssente ezisinga nziggya mu mayirungi. Amayirungi kirime ekiyimirizaawo buli maka mu ggombolola zino era tewali maka g’ogendamu nga tebagalima  mayirungi olw’ebiringi bye tugafunyeemu.

 

Amayirungi gasikidde ensuku n’emmwaanyi e Nsangi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa