TOP
  • Home
  • Gallery
  • Owa P.7 alemeddwa okukola ebigezo: Bakira yeekola obusolosolo

Owa P.7 alemeddwa okukola ebigezo: Bakira yeekola obusolosolo

By John Bosco Mulyowa

Added 5th November 2019

Owa P.7 alemeddwa okukola ebigezo: Bakira yeekola obusolosolo n'agamba basooke bamugulire chipusi, soda n'omugaati omunene alyoke abituule.

Owa P.7 alemeddwa okukola ebigezo: Bakira yeekola obusolosolo n'agamba basooke bamugulire chipusi, soda n'omugaati omunene alyoke abituule.

Waabaddewo akasattiro ku ssomero lya St. Stephen’s Buyiisa Primary School mu ggombolola y’e Kirumba e Kyotera, omuyizi Maria Goreth Naggayi bwe yatabuse omutwe ng’atunudde ku kigezo ky’okubala.

Bakira aleekaanira waggulu nga bwakuba entebe ekyaleeseewo okutya mu bakuuma ebigezo.

Omuyizi ono abadde asomera ku ssomero lya Lutunga Primary School, ng’e Buyiisa baabadde bagenze kukolerayo bigezo.

Abadde mulamu bulungi ebbanga lyonna wabula nga yatandika okutabuka ku Lwokutaano nga bali mu ‘Briefi ng’.

Yeewuunyisizza abasomesa abaamubaddeko bwe yabasabye okumuwa cipusi, sooda n’omugaati omunene alyoke akakkane akole ebibuuzo.

Akulira ebyokulambula amassomero e Kyotera, Peter Ntalagi Sserunjogi yaategeezezza nti mu Kyotera baafunyeemu okusoomoozebwa naddala ku ntambuza y’ebibuuzo mu bifo ebyenjawulo kw’ossa obuzibu nga buno obwaabadde ku ssomero e Buyiisa ne gye byatuuse ng’obudde buyise!

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam