TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Obukodyo 8 obunaakuyamba okubbulula bizinensi ekulemeredde

Obukodyo 8 obunaakuyamba okubbulula bizinensi ekulemeredde

By Musasi Wa

Added 21st March 2012

ABASUUBUZI bangi mu bizinensi ez’enjawulo balemererwa ne baggwaamu ng’obuzibu buva ku nsimbi ate abamu ne balemwa okuddamu okusituka.

2012 3largeimg221 mar 2012 094922157 703x422

Bya FRED KAYONGO

ABASUUBUZI bangi mu bizinensi ez’enjawulo balemererwa ne baggwaamu ng’obuzibu buva ku nsimbi ate abamu ne balemwa
okuddamu okusituka.

John Baptist Ssenfuma, omusuubuzi mu katale ka Park yard omu ku basuubuzi abafiiriziddwa enfunda eziwera mu muliro oguzze gwokya akatale ka Park Yard - Omuliro.

Agamba nti, yeeyambisizza obukodyo obw’enjawulo n’asobola okusigala mu bizinensi ate n’okusigaza bakasitoma nga bwanoonya n’abalala. Era alaga ebimu ku by’akola okusobola okuzzaawo bizinensi ye:

1. Okubeera n’amazima kikulu mu bizinensi kuba ne bwegwa ng’oyagala okugizzaawo bakasitoma bo be bamu ku bakuyamba
okuyimuka. Ekirala n’abakusuubuza ebyamaguzi olw’okukumanya ng’ow’amazima nabo basigala bakuwa emmaali n’osobola okutunda nga bw’obasasula mpolampola.

2. Kozesa amazima mu buli ky’okola naddala ku bakasitoma bo. Ekimu ku bisuula bizinensi kwe kulimbalimba abaguzi abandikufunidde abalala bwe bakimanya nti oli waamazima. Bw’oba otunda ngatto kirungi okumubuulira enjawulo ezirimu
n'ebbeeyi olwo lw’ajja okukwesiga akuleetere ne banne ekikuyamba okukukuumira ku bakasitoma. Ne bw’oba oli mu buzibu be
bakuwagira n’osobola okwennyulula.

3. Bw’olaba kasitoma ayagala okukugulako alamuza kino na kiri omanya nti ky’ayagala okugula takimanyi era kiba kirungi okumuyambako n'omanya ky’ayagala n’omuguza ekyo. Omuntu ow’engeri eno ne bw’adda nga toli mu mbeera nnungi era akugulako n’akuleetera n’abalala okukuwagira wadde oli wabi.

4. Okukuuma ebiwandiiko mu bizinensi kirungi naddala ng’ofunye obuzibu kuba bw’ogenda mu basobola okukuyamba by’olagayo ne basinziira okwo okukudduukirira.

5. Tosirikira kizibu, kuba mu b’obuulirako mwe muva akuwa amagezi agannyulula bizinensi yo ng’egudde oba ng’eyuuga.

6. Tokyusakyusa bizinensi kuba bwe weesiba ku eyo gy’obaddemu omanya eky’okwewala n’okukola kubaoba obiyiseemu.

7. Osobola okukyusa erinnya kuba oluusi ky’otuuma bizinensi kisobola okugisuula. Giwe erinnya eriraga nti oli muwanguzi.

8. Weewale okuddukira mu kwewola buli kiseera kuba ensimbi zino zibaako amagoba mangi ate bizinensi bw’eba egwa tosobola kugifunamu magoba gasasula ate n’osigaza ne kapito agiyamba okukula.

Obukodyo 8 obunaakuyamba okubbulula bizinensi ekulemeredde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600