TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Nnatandika okutunda enku n’obukadde 3 kati ndi landiroodi

Nnatandika okutunda enku n’obukadde 3 kati ndi landiroodi

By Musasi Wa

Added 28th March 2012

BULIJJO omukisa gujjira mu buzibu bw’abantu abalala abakwetoolodde, olwo bw’oba mukozi n’onoga ssente n’okwekulaakulanya.

2012 3largeimg228 mar 2012 104016003 703x422

Bya DICKSON KULUMBA

BULIJJO omukisa gujjira mu buzibu bw’abantu abalala abakwetoolodde, olwo bw’oba mukozi n’onoga ssente n’okwekulaakulanya.

Embeera eno Ssaalongo John Kasozi ow’e Naguru - Kasenke, gye yeyambisa okutandika bizinensi y’enku mu kitundu ky’e Nakawa. Alaga engeri gye yatandika n’okuyimirizaawo bizinensi ye: Kyantwalira emyaka ena nga nneetegereza abantu abalala abaddukanya bizinensi eno.

Waliwo omwami eyali azitunda ku luuyi lw’akatale k’e Nakawa nga yalina omukozi kyokka n’amugoba nga tafaayo ku mulimu guno n’ekyavaamu bizinensi kugwa. Wano we nnakozeseza omukisa guno ne ntandika bizinensi y’enku ey’obuwangaazi. Nasaba ekifo KCC ne kimpa mu katale e Nakawa ne ntandika mu 2007.

Nneekwata ku muvubuka gwe baagoba n’antuusa ku musajja eyabaleeteranga enku ng’ambuulira n’emisoso egizirimu gyonna omuli: emiwendo gyazo, entambuza, n’ebintu ebirala bingi. Nnatandika okusuubula enku n’obukadde busatu nga nsaba kimu nfisse amagoba ga 10,000/- buli lunaku kye natuukiriza.

Kyantwalira ebbanga lya myezi etaano okumanyika ennyo eri abantu abatema enku. Nnafuna ne bulooka asolooza enku mu bantu, ng’olwo nze nzija kutikka mu btundu eby’enjawulo omuli Nkokonjeru, Bukunja n’awalala. Ebitundu ebirala kuliko Mityana, Mubende n’e Kyegeggwa.

Bakasitoma nfuna bangi era kizibu okuggwawo kuba buli akola omukolo gwe, nange ku bajeti mbeerako: Nzitunda mu balakisi y’abaserikale e Kibuli, mu mawooteeri, amasomero ne mu bantu ssekinoomu. Ebiti by’enku Waliwo enjase nga zino ziseerebwa nnyo n’ennene ez’okuteesa omuwendo.

Bye njize mu mulimu guno
1. Bizinensi yeetaaga okubala okusobola okumanya ebbeeyi gy’otunda ofuneko amagoba.

2. Obugumiikiriza obwa waggulu n’okwekkakkanya kuba mubaamu n’ebyokusamba ensiko ng’ogenze okuzigula mu byalo.

3. Guno mulimu ogusobola okukolebwa omwavu kuba tezivunda.

Bye nfunyemu

Nzimbyemu emizigo gy’amaduuka munaana, enju mwe nsula era nagulayo n’emmotoka ekola sipensulo eyingiza ensimbi buli lunaku.

Nnatandika okutunda enku n’obukadde 3 kati ndi landiroodi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa