TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Akaseko ku maaso yandiba zaabu gw’okukulidde

Akaseko ku maaso yandiba zaabu gw’okukulidde

By Musasi Wa

Added 18th April 2012

WALIWO ekintu omuntu ky’ayinza okukugamba ne kiwulikika ng’eky’ekiralu, kyokka ng’ate bw’okissaako ebirowoozo n’okissa mu nkola kisobola okukufuula ow’enjawulo.

2012 4largeimg218 apr 2012 132355953 703x422

WALIWO ekintu omuntu ky’ayinza okukugamba ne kiwulikika ng’eky’ekiralu, kyokka ng’ate bw’okissaako ebirowoozo n’okissa mu nkola kisobola okukufuula ow’enjawulo.

Weebuuze singa obadde olina abantu babiri b’okwatidde mu nsobi, omu n’aseka amajeemulukufu omulala n’ateekako feesi eyeekangabiriza era eraga nti talina kikyamu ky’akoze ku babiri ani gw’osooka okusonyiwa bw’oba wa kusonyiwa?

Gye buvuddeko tubadde twogera ku ngeri y’okukwatamu kasitoma naddala mu mbeera eno buli omu gy’agamba nti esusse okubeera embi era wiiki ewedde twayogedde ku ngeri y’okukwatamu kasitoma ow’oku ssimu. Ku luno njagala twogere ku kasitoma gw’olabako.

Kasitoma gw’olabako ye yandibadde asinga obwangu singa oba omanyi engeri y’okumukwatamu era bw’oba tomanyi ayinza okuba omuzibu ennyo n’okusinga ow’oku ssimu.

Ensonga ze tulina okwogerako ku ngeri y’okukwatamu kasitoma nnyingi era nga ziyinza okusinziira ku bika bya bakasitoma ab’enjawulo ne bizinensi ez’enjawulo.

Naye waliwo ebintu bakasitoma bye bafaananya era ne kitegeeza nti waliwo ebintu ffenna bye tulina okuyiga okusobola okukolagana obulungi ne bakasitoma ab’engeri zonna.

Ky’otolina kwerabira mu nsi kiri nti ekyobugagga ekisinga obukulu mu nsi be bantu Katonda be yatonda era okubafunamu oteekwa okuyiga okukolagana nabo.

Akyawa abantu akyawa obugagga. Abantu bangi bw’oyogera ku kasitoma balowooza kw’oyo azze mu dduuka oba mu kifo kyonna gy’akolera ng’azze kumuwa ssente oba okumuweereza mu ngeri yonna, ekintu oluusi ekitugaana okuyiga okussa mu nkola bye tuba tuyize.

Ekituufu kiri nti buli muntu gw’okolagana naye aba kasitoma mu ngeri emu oba endala, era eno y’ensonga lwaki omuntu alabika nga muntumulamu alina omukisa munene nnyo ogw’okukola bizinensi kuba abantu tebalinda kumala kujja gy’okolera balyoke balabe oba oli muntu mulungi ate mu ngeri y’emu abakumanyi be bakutunda mu bantu abalala.

N’olwekyo ebintu ebitufuula abantu abalungi byebyo bye tukola buli lunaku wonna we tubeera. Mu takisi, ku luguudo, mu masinzizo ne mu nnyimbe, ekyo bwe kikulema era ojja kuba olemeddwa.

Bwe kiba nga bwekityo bwe kiri kiba kitegeeza nti ebyo bye tulowooza nti bye bijja okutuwa abantu abalabika okuba abalungi okukolagana nabo mu bizinensi tulina okubikola buli lunaku, tutuuke okubikola nga tetumaze kubirowoozaako wabula kifuuke ekikula kyaffe.

Akaseko ku maaso yandiba zaabu gw’okukulidde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bus1 220x290

Cranes egudde mu bintu

Cranes egudde mu bintu

Jip1 220x290

She Cranes etandise okutendekebwa...

She Cranes etandise okutendekebwa

Lib2 220x290

Omwana omulala afiiridde mu muliro...

Omwana omulala afiiridde mu muliro e Katwe

Kat2 220x290

Katikkiro Mayiga agumizza abantu...

Katikkiro Mayiga agumizza abantu ku nsonga y'Amasiro

Kabakamutebiii 220x290

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti...

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti y'e Mengo.