TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Manya ebiruubirirwa by’omukozi wo omulungi aleme okukuddukako

Manya ebiruubirirwa by’omukozi wo omulungi aleme okukuddukako

By Musasi Wa

Added 23rd May 2012

NNINA omukulu gwe nnasanze wiiki ewedde n’anneebaza olw’omuko guno kyokka n’agamba nti alina ekizibu ky’abakozi abalungi obutawangaala ku mulimu.

2012 5largeimg223 may 2012 100520350 703x422

NNINA omukulu gwe nnasanze wiiki ewedde n’anneebaza olw’omuko guno kyokka n’agamba nti alina ekizibu ky’abakozi abalungi obutawangaala ku mulimu.

Yagambye nti ekisinga okumwewuunyisa nti abakozi abasinga obujagujagu b’oba osuubira okukwasa obuvunaanyizibwa, be basinga ate okudduka sso ng’ate ababa basinga okukutawaanya ng’ebintu babiyiga kasoobo bo bawangaala.

Kyokka era n’ayongerako nti n’abo abayiga akasoobo olumala okumuggyamu omuntu ow’omugaso nabo nga badduka. Kino ekizibu kiri eri buli mukozesa okuviira ddala ku mukozi ow’awaka eyakazibwako erya ‘yaaya’, okutuukira ddala ku bakulira amakampuni amanene ng’eno eya Vision Group efulumya olupapula luno.

Eziddusa abakozi abalungi

1. Ebiruubirirwa by’omukozi obutakwatagana na bya kkampuni oba omukozesa.

2. Kkampuni obutafaayo ku nkulaakulana y’omukozi.

3. Empisa z’omukozi ayogerwako.

4. Empuliziganya wakati wa kkampuni oba omukozesa n’omukozi.

Ebiruubirirwa by’omukozi Ky’otoyinza kwerabira kiri nti buli muntu aba n’ebiruubirirwa mu bulamu bwe era naawe anoonya omukozi olina okukimanya nti omukozi omulungi gw’onoofuna ateekwa okuba ng’alina ky’agoba mu nsi, atakirina tayinza kukukolera bulungi, ky’ova olaba ng’oli agambye nti abakozi abalungi badduka mangu.

Kino kitegeeza nti emirundi mingi omukozi omulungi olw’okuba alina ebiruubirirwa by’ayagala okutuukiriza mu kiseera ekigere ayinza okwesanga nga kkampuni mw’ali temuganya kutuukiriza biruubirirwa ebyo oba eyinza okuba ng’emutambuza kasoobo era oyo tabandaalawo.

Kyokka nnannyini kkampuni asobola okuwadaawadako mu mbeera eno ng’agezaako okutegeera ebiruubirirwa by’omukozi era naye n’alaga engeri gy’ayagala okumuyambamu.

Omukozi ayinza okuba ng’ayagala okuddayo okusoma, ayinza okuba ng’ayagala kuweerera batoobe, ayinza okuba ng’ayagala kuzimbira nnyina kayumba oba ayinza okuba ng’ayagala olunaku lukye nga y’akulira kkampuni ennene.

Omukozesa okusobola okumanya ebiruubirirwa by’omukozi ow’ekika kino ateekwa okuba n’obusobozi obumwewa n’asobola okumweyabiza ate mu ngeri y’emu ateekwa okuba ng’azze amulaga nti amulumirirwa era amwagaliza okukulaakulana era nga kino okukituukako wateekwa okubaawo empuliziganya ennung’amu.

Ebirina okuba mu mpuliziganya

a. Omukozi okumanya ekyo kyennyini ky’asuubirwa okukola.

b. Bw’akola obulungi ateekwa okusiimibwa.

c. Musiime mu lujjudde.d. Omukozi ono mulage ekifaananyi ky’omu maaso.

e. Mulage ekifo kye mu kukulaakulana kwa kkampuni.

f. Teekawo ekkubo eriyitibwamu okukutegeeza obuzibu.

Omukozi bw’anaakola nga teyeekakasa oba by’akola bye bituufu ajja kwetamwa mangu omulimu. Kyokka mu ngeri y’emu ateekwa okumanya ky’afuna singa aba ataddemu amaanyi ag’enjawulo. Mu ngeri y’emu tolina kwerabira nti wadde akasiimo ka ssente kakulu nnyo, abakozi baagala nnyo okubalaga nti ba mugaso mu kkampuni era nga kino okituukako ng’obeebaza mu lujjudde. Jjukira kye nnakugamba gye buvuddeko nti ‘nakuwalira wamu n’omukozi ate era osanyukire wamu naye’.

Manya ebiruubirirwa by’omukozi wo omulungi aleme okukuddukako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nant 220x290

Oluyimba ‘Tukigale’ lutabudde Carol...

Omuyimbi Carol Nantongo atabukidde Rachael Namiiro okuyimba oluyimba lwe olwa 'Tukigale' nga tamuwadde lukusa....

Dha 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...