TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Manya ebiruubirirwa by’omukozi wo omulungi aleme okukuddukako

Manya ebiruubirirwa by’omukozi wo omulungi aleme okukuddukako

By Musasi Wa

Added 23rd May 2012

NNINA omukulu gwe nnasanze wiiki ewedde n’anneebaza olw’omuko guno kyokka n’agamba nti alina ekizibu ky’abakozi abalungi obutawangaala ku mulimu.

YIIYA SSENTE

NNINA omukulu gwe nnasanze wiiki ewedde n’anneebaza olw’omuko guno kyokka n’agamba nti alina ekizibu ky’abakozi abalungi obutawangaala ku mulimu.

Yagambye nti ekisinga okumwewuunyisa nti abakozi abasinga obujagujagu b’oba osuubira okukwasa obuvunaanyizibwa, be basinga ate okudduka sso ng’ate ababa basinga okukutawaanya ng’ebintu babiyiga kasoobo bo bawangaala. Kyokka era n’ayongerako nti n’abo abayiga akasoobo olumala okumuggyamu omuntu ow’omugaso nabo nga badduka.

Kino ekizibu kiri eri buli mukozesa okuviira ddala ku mukozi ow’awaka eyakazibwako erya ‘yaaya’, okutuukira ddala ku bakulira amakampuni amanene ng’eno eya Vision Group efulumya olupapula luno.

ENSI KUYIIYA   NE MICHAEL MUKASA SSEBBOWA Email: mssebowa@newvision.co.ug

Eziddusa abakozi abalungi

1. Ebiruubirirwa by’omukozi obutakwatagana na bya kkampuni oba omukozesa.

2. Kkampuni obutafaayo ku nkulaakulana y’omukozi.

3. Empisa z’omukozi ayogerwako.

4. Empuliziganya wakati wa kkampuni oba omukozesa n’omukozi.

Ebiruubirirwa by’omukozi
Ky’otoyinza kwerabira kiri nti buli muntu aba n’ebiruubirirwa mu bulamu bwe era naawe anoonya omukozi olina okukimanya nti omukozi omulungi gw’onoofuna ateekwa okuba ng’alina ky’agoba mu nsi, atakirina tayinza kukukolera bulungi, ky’ova olaba ng’oli agambye nti abakozi abalungi badduka mangu.

Kino kitegeeza nti emirundi mingi omukozi omulungi olw’okuba alina ebiruubirirwa by’ayagala okutuukiriza mu kiseera ekigere ayinza okwesanga nga kkampuni mw’ali temuganya kutuukiriza biruubirirwa ebyo oba eyinza okuba ng’emutambuza kasoobo era oyo tabandaalawo.

Empisa z’omukozi

Buli lw’oba onoonya omukozi anaakukolera, nkwegayiridde leka amaaso okugamalira ku bisaanyizo by’obuyigirize byokka, essira olina okulissa ku mpisa n’obuntubulamu. Lwaki?

Abakozi abalina obuntubulamu baba n’omutima ogwagala omulimu, baagala okuyiga, baagaliza bannaabwe, banyumisa omulimu era baba bangu okunnyonnyola ne bategeera embeera era kizibu okukwefuulira.

Kyokka nnannyini kkampuni asobola okuwadaawadako mu mbeera eno ng’agezaako okutegeera ebiruubirirwa by’omukozi era naye n’alaga engeri gy’ayagala okumuyambamu.

Omukozi ayinza okuba ng’ayagala okuddayo okusoma, ayinza okuba ng’ayagala kuweerera batoobe, ayinza okuba ng’ayagala kuzimbira nnyina kayumba oba ayinza okuba ng’ayagala olunaku lukye nga y’akulira kkampuni ennene.

 Mu kifaananyi, omukozi ng’akola ku kyuuma kya ssukaali.

Omukozesa okusobola okumanya ebiruubirirwa by’omukozi ow’ekika kino ateekwa okuba n’obusobozi obumwewa n’asobola okumweyabiza ate mu ngeri y’emu ateekwa okuba ng’azze amulaga nti amulumirirwa era amwagaliza okukulaakulana era nga kino okukituukako wateekwa okubaawo empuliziganya ennung’amu.

Ebirina okuba mu mpuliziganya

a. Omukozi okumanya ekyo kyennyini ky’asuubirwa okukola.

b. Bw’akola obulungi ateekwa okusiimibwa.

c. Musiime mu lujjudde.

d. Omukozi ono mulage ekifaananyi ky’omu maaso.

e. Mulage ekifo kye mu kukulaakulana kwa kkampuni.

f. Teekawo ekkubo eriyitibwamu okukutegeeza obuzibu.

Omukozi bw’anaakola nga teyeekakasa oba by’akola bye bituufu ajja kwetamwa mangu omulimu. Kyokka mu ngeri y’emu ateekwa okumanya ky’afuna singa aba ataddemu amaanyi ag’enjawulo.

Mu ngeri y’emu tolina kwerabira nti wadde akasiimo ka ssente kakulu nnyo, abakozi baagala nnyo okubalaga nti ba mugaso mu kkampuni era nga kino okituukako ng’obeebaza mu lujjudde.

Jjukira kye nnakugamba gye buvuddeko nti ‘nakuwalira wamu n’omukozi ate era osanyukire wamu naye’.

Enkulaakulana
Omukozi akulaakulana ayagala nnyo okumanya kkampuni gy’eraga, okumulaga ekifo kye mu kkampuni ate n’okumulaga ne ky’anaabera mu biseera ebijja.

Laga nti oyagala okumukulaakulanya, ate teekawo embeera emusobozesa okukutegeeza ebikyamu ebigenda mu maaso ate ebiba byetaaga okukolako obikoleko mu kiseera ekisaanidde.

E Bulaaya kkampuni ennaku zino zirina enkola y’okuwa emigabo omukozi agikulira asobole okukola ng’omutima gumuli wamu nti ekintu ky’akola kikye bwoya.

Ebyo bw’onoobikola kijja kukwanguyira okusigaza abakozi bo abalungi. Jjukira nti buli lw’ofiirwa omukozi gw’oludde naye kirina engeri gye kikuzza emabega kubanga oba omutaddemu kinene ate omupya gw’ofuna ayinza okutwala akaseera okutuuka ku mutindo gw’omwagalako ekintu ekiyinza okukosa ennyingizaayo.

Manya ebiruubirirwa by’omukozi wo omulungi aleme okukuddukako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa