TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Obutalima teking’aana kwongera mutindo ku birime mwe nfuna ssente

‘Obutalima teking’aana kwongera mutindo ku birime mwe nfuna ssente

By Musasi Wa

Added 6th June 2012

BW’OBA tosobola kulima tekitegeeza nti toyinza kukola ssente mu birime. Ebinyeebwa kimu ku birime ebiri ku ttunzi mu kiseera kino nga kkiro ey’ebiramba etundibwa wakati wa 4,000/- ne 4,500/-.

2012 6largeimg206 jun 2012 100530150 703x422

Bya MADINAH SEBYALA

BW’OBA tosobola kulima tekitegeeza nti toyinza kukola ssente mu birime. Ebinyeebwa kimu ku birime ebiri ku ttunzi mu kiseera kino nga kkiro ey’ebiramba etundibwa wakati wa 4,000/- ne 4,500/-.

Wano ggwe ayiiya w’olowooleza ku ngeri gy’obikolamu ssente nga tobirimye. Muky. Hajara Ssentamu omu ku abo batono abongedde omutindo ku binyeebwa n’afunamu era akulaga engeri gy’osobola okukikola n’osinga n’omulimi.

“Guweze omwaka mulamba bukya ntandika bizinensi yange eya Mayangayanga Super Gnuts. Nsangibwa mu Ggombolola y’e Kimenyedde mu disitulikiti y’e Mukono.

Entandikwa Omwaka oguwedde natuula ne baze ne tuzuula ng’okulima kwokka tekujja kutuyimirizaawo ne tukkaanya ku bizinensi y’okwongera omutindo ku binyweebwa.

Entandikwa yali nzibu kuba tetwalina ssente wabula ne tutunda ku mmere gye twalinawo ne tugula akuuma akasa ebinyeebwa wabula aw’okubigula n’efuuka ensonga. Twasalawo okubirima era bwe twakungulayo kkiro 150 ze twatandika nazo.

Okusooka tebyagenda bulungi kuba ebinyeebwa byaggwangawo kyokka nga tetulaba ssente. Twewola 200,000/- mu bibiina ne twongera ku kapito era ze tuzze tukozesa nga kati tutuuse mu bukadde obusukka mu bubiri kuba kati tusa kkiro ezisoba mu kkiro 900.

Ebyetaagisa mulimu guno Akuuma akasa (bw’oba tokalina osobola okubisekula mu kinu), ebinyeebwa, akatimba akasengejja obucaafu, akalobo akayonjo mw’oteeka by’omaze okusa, amasannyalaze bw’obaokozesa kuuma akageetaaga, wadde waliwo n’obukozesa emikono.

Engeri gy’okolamu Ebinyeebwa nga bimaze okutuuka, nsooka ne mbirondamu obucaafu nga nkozesa akatimba n’engalo zange okumalamu obukuta kuba buno bwe busigala mu binyeebwa birumira. Kino ky’ekisinga okukuuma omutindo bakasitoma ne basobola okubiyaayaanira. Bw’omaliriza okubironda mbisengeka mu mitendera

Bye nfunyeemu

1. Tuweereddemu abaana.

2. Biyimirizzaawo amaka.

3. Tuguzeeyo ebibanja kwe tulimira emmere kuba bw’otoba na mmere kapito yenna ayinza okuggwaawo ng’ogula mmere. Obuzibu

Bbeeyi y’ebinyeebwa ekyukakyuka, mu biseera bino kkiro ya 4,500/- nga yava ku 3,800/- bakasitoma ze babadde bamanyidde.

Ekirala akuuma keetaaga amasannyalaze mangi ate gavaavaako ekitaataaganya bakasitoma. Be tubisuubulako batupimira kkiro ezitawera ate nga zibaamu obucaafu bungi ekitufi iriza.

omuli ogwa supa nga bino osobola okubitunda mu mpeke, ne njawulamu ne kakyere nga bino mbigattamu ne supa. Ekyo nga kiwedde mbissa mu kuuma ne mbisa ng’akuuma kange kkuba kkiro 10 era nsa

kkiro ezisukka mu 100 okusinziira ku bwetaavu kuba ntunda lejjalejja n’okusuubuza ab’amaduuka. Bw’oba osa saanikirako kuba

ebinyeebwa bifuumuuka ekikendeeza ku kkiro z’ofuna ekikufi iriza. Nga biwedde okusa, mbiteeka mu kalobo oluvannyuma ne ntandika okupima okutandikira kugulaamu 200 ze ntunda 500/-. Nkuba ebinyeebwa bya mirundi ebiri omuli ebisekule n’ebinyige.

Ebinyige osobola okubiriira ku migaati oba okubikolamu enva. Ebimu osobola okubisiika n’osiba mu buveera n’otunda okuva ku 100/- okutuuka ku 5,000/-.

Ky’olina okukola kwe kulaba nga bakasitoma bo osobola okubatuusa ebinyeebwa mu ngeri yonna gye babyetaagamu n’osobola okukung’aanya buli ssente ze bakuleetera.

 

 

 

 

‘Obutalima teking’aana kwongera mutindo ku birime mwe nfuna ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abtexbajjohoima 220x290

Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose...

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango...

Joycenakiryannamwanduwakasoziabaanabeyazaalagwebagobawebuse 220x290

Abaana bagobye nnyaabwe mu maka...

Abaana bafuuyidde ebirime bya nnyaabwe n'okumugoba awaka okutuusa ng'abawadde ekyapa kya kitaabwe

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...