TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Atamanyi kukangavvula tayinza kugaggawala

Atamanyi kukangavvula tayinza kugaggawala

By Musasi Wa

Added 6th June 2012

MPAAYO ensi ekulaakulanye nga tegaba bibonerezo bikakali nkuwe akakadde ka ssente. Waliwo gwe nnakibuuza n’ampa Vaticano ekulemberwa Paapa.

MPAAYO ensi ekulaakulanye nga tegaba bibonerezo bikakali nkuwe akakadde ka ssente. Waliwo gwe nnakibuuza n’ampa Vaticano ekulemberwa Paapa. 

Namujjukiza nti ng’oggyeko ebibonerezo Klezia by’egabira ku nsi okukangavvula ab’ekyejo ate yo eyongerako n’ebyomu ggulu era singa tebyaliwo singa abantu beeyisa nga bwe balaba. 

Kale mpaayo omugagga ku kyalo ky’ewammwe atali mukambwe. Okuggyako nga tomusangangako nga waliwo ensobi ekoleddwa, naye tewali ngeri gy’oyinza kukozesa bantu mirimu ne bagituukiriza nga tebeeraliikirira kiyinza kubatuukako singa baba babisobezza. 

Kino kiri bwekityo kuba omuntu tayagala kukola, emirimu agikola lwa butaagaane. Buli kiseera anoonya ekkubo eryangu ery’okwewala emirimu era singa tabaako amulondoola tayinza kukola. 

Abo abatono b’olaba nga bakola awatali kutya tteeka oba okulondoolwa ate nabo balina ebibatiisa mu bulamu, omuli obwavu, okujoogebwa, okuyisibwamu amaaso, okulengezzebwa, okufa enjala, okulemwa okuweerera abaana. 

Kyokka bw’osanga atya bino naye ng’asobola okufuna ekkubo ly’abbiramu, ajja kulyeyambisa asobole okutuukiriza ebiruubirirwa bye.

 

Kyokka abatono ennyo abayingirwamu eddiini n’ennyikira. Njagala weetegereze ebigambo byange. Ntegeeza omuntu eyasoma eddiini n’agitegeera n’emuyingira mu mutima n’akola ng’aluubirira okwesanyusa, okusanyusa mukamaawe n’okusanyusa Katonda we. 

Naye olw’okuba abantu abafaanana batyo batono nnyo, ng’abasinga muffe tukola bye tukola olw’okutya ebibonerezo n’ebizibu ebiyinza okuvaamu kisaanidde buli akozesa omuntu okussaawo ebibonerezo eri abo ab’ekyejo kuba kino bw’otokikola kkampuni oba bizinensi eteekwa okukulema. 

Ebibonerezo bino birina okugoberera ebintu bino wammanga:

1. Biteekwa okulambikibwa obulungi buli mukozi n’abitegeera.

2. Biteekwa okuba nga tebiriimu kusosola.

3. Biteekwa okusinziira ku misango egiba gizziddwa.

4. Omuntu alina okubonerezebwa oluvannyuma lw’okubuulirirwa.

5. Bwe biba biweereddwa abakozi abalala balina okutegeezebwa Okulambikibwa Ebibonerezo bino birina okulambikibwa buli mukozi n’abitegeera ku lunaku lwennyini lw’atuuka ku mulimu. 

Kino kiyamba omukozi okutegeera nti omulimu gw’azzeeko si gwa kuzannyirako n’atandikirawo okukola ng’amanyi ekimusuubirwamu. 

Terisosola Etteeka okukola obulungi teririna kusosola. Era nnannyini kkampuni bw’aba amanyi ky’akola naye yennyini lirina okumukwata. 

Okugeza bw’ogamba nti buli mukozi alina okutuuka ku okutuuka mu budde osobole okuwa eky’okulabirako. Obwenkanya Amateeka galina okubaamu obwenkanya. 

Okugeza ekibonerezo mu misango egisinga si kye kirina okukulembera. Omukozesa omulungi ayita mu mitendera egiwerako nga tannaleeta kibonerezo. 

Mu gino mulimu okusooka okusomesa, okubuulirira, okulabula n’oluvannyuma n’olyoka oleeta ekibonerezo. Era mu bwenkanya buno, etteeka lirina okwawula ebibonerezo okusinziira ku misango egiba gizziddwa. Okugeza abbye ssente, atuuse ekikeerezi n’abula ku mulimu nga tayogedde, bonna tebasobola kufuna bibonerezo bye bimu. 

Wano mu kkampuni ya Vision Group, abbye ssente agoberwawo, abuze ku mulimu okumala ennaku nga tayogedde naye agobwa sso ng’ate ku misango emirala ebibonerezo bisaamusaamu. 

Ekigendererwa Tolina kwerabira kigendererwa kya kibonerezo. Ekikulu kwe kukuumira abakozi ku mulamwa baleme kuzannyira ku mulimu era ng’okutuukiriza kino ekibonerezo ekiba kiweereddwa omu ku bakozi kirina okutegeezebwa abakozi abalala bakitwale ng’ekyokulabirako. 

Abakozesa bangi bakola ensobi eno. Omuntu n’azza omusango era n’abonerezebwa kyokka ekibonerezo ne kiba kya nkukutu. Wano oba tofunyeemu era ekiseera kiyinza n’okutuuka abakozi ne batandika okulowooza nti ebibonerezo ebyassibwaawo bya kiguumaaza era teri ajja kubonerezebwa olwo ne batandika okweyisa nga bwe balaba. 

N’olwekyo bw’oba oyagala abakozi bakole ekyo kyennyini ekyabawandiisa oteekwa buteekwa okussaawo ebibonerezo ebikakali ate n’obissa mu nkola mu lwatu kubanga omuntu ye yatondebwa nga wa mputtu bw’akizuula nti tolina kaggo tayinza kukola.

 

Atamanyi kukangavvula tayinza kugaggawala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta