TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Okwokya gonja nkuzimbyemu ennyumba’

‘Okwokya gonja nkuzimbyemu ennyumba’

By Musasi Wa

Added 15th June 2012

BULI alina ky’akola n’akifunamu bw’aba ayogera akubiriza nnyo abalala obutanyooma mirimu, era ne Muky. Rukia Nakitto ow’e Buwalula ku lw’e Mityana abasing gwe baakazaako erya ‘Ssibyangu’ tayawukana ku bano

2012 6largeimg214 jun 2012 212149887 703x422

Bya CATHERINE LUTWAMA

BULI alina ky’akola n’akifunamu bw’aba ayogera akubiriza nnyo abalala obutanyooma mirimu, era ne Muky. Rukia Nakitto ow’e Buwalula ku lw’e Mityana abasing gwe baakazaako erya ‘Ssibyangu’ tayawukana ku bano

Omukyala ono ayokya gonja ku luguudo wabula essanyu ly’alina ly’eryo lyennyinni lye bagamba abooki ba gonja lye baba nalyo.

Atuyisa mu lugendo gy’ayise okutuuka lw’afunye mu mulimu guno n’obuzibu bw’asanze kyokka ng’abuvvuunuse, era agamba nti:

Entandikwa

Nnatandika eyo mu myaka gye ‘80, era mu kiseera ekyo nnalina ssente 900/- kwe nnagula enkota za gonja omukaaga ze nnatandika nazo. Nnatandikira ku luguudo lw’e Mityana e Buwalula nga na kati wendi ekinnyambye ennyo okukuuma bakasitoma bange ebbanga eddene.

Bw’obalamu omulimu guno ngumazeemu emyaka egisoba mu 30 era nga ngulabiddemu ebizibu n’ebirungi bingi.

Engeri gye nkola emirimu

Olunaku olutambudde obulungi nsobola okwokya enkota ezisoba mu 10 nga zino nzifunako amagoba agali wakati wa 25,000/- ne 30,000/- buli emu okusinziira ku bunene.

Nakitto ng’alaga gonja atuuse okwokya.

Okwongereza ku nnyingiza yange kuno ntundirako ne kasooli awamu n’ebyokunywa naddala ku batambuze abagenda ku ng’endo ez’ewala nga Mityana, Mubende ne Fort Portal kuba babyettanira nnyo era kimpaniridde nnyo kuba nfunam u ekiwera. 

Ebintu bya buseere ensangi zino,enkota egula wakati wa 15,000/- ne 20,000/- wadde nga ngulira ddala ku mulimi. Ate gonja amanyi okubula naddala mu biseera by’omusana ne tumunoonya nga talabika.

Gonja musuubula mu byalo mu Mityana ku balimi ekinnyamba okumufuna ku bbeeyi eya wansi. Sifa ku kika kya gonja kubanga engeri gyali ow’ebbula oyinza obutamufuna bwe weeroboza.

Mu biseera by’ebbula sseesiba ku kintu  kimu, awo njokya ne ku kasooli ate naye ali ku katale. Gonja mwokya ku manda era nago gali ku buseere ng’ensawo eri wakati wa 60,000/- ne 120,000/- ennene obulungi nga n’amanda magumu.

Olw’ebbeeyi y’ebintu okwekanama nange gonja nneesanga ntunze eminwe ebiri ku 500/-, ndaba nti kinene naye sirina kyakukola.

Obubaka eri abatandika bizinensi

1. Obutanyooma mirimu, kuba buli mulimu gusobola okukugaggawaza

n’otuuka ku kirooto kyo.

2. Kapito yenna gw’olina asobola okutandika bizinensi.

3. Tereka ku buli kitono ky’ofuna, nga kino kiva mu kuyiga kwerumya osobole okutuuka ku kirooto kyo.

4. Beera n’amazima eri bakasitoma bo n’abo b’osuubulako ebintu kuba eno mpagi ya maanyi mu kukulaakulanya bizinensi yonna.

5. Kulembeza Mukama Katonda, kuba watali toyinza kutuuka wala.

Nakitto (mu gomesi) ng’li ku mudaala w’ayokera gonja okumpi n’ekizimbe kye. Ku ddyo ye muganda we bwe bakola.

Bye nsuubira

1. Nsuubira okugaziya omulimu guno, kubanga kati  ntandiseewo edduuka, njagala abangulako gonja mbagulizeeko n’ebyokunywa, nga sooda, omubisi n’amazzi.

2. Nange nnimye gonja kinnyambe okukekkereza ku ssente ze nkozesa mu kumusuubula.

NNINA BAKASITOMA AB’ENGERI ZONNA

Nsinga kuguza batambuze mu takisi ne bbaasi abava e Kampala, Mityana, Mubende, Fortportal n’okweyongerayo.

Abantu b’omu kitundu nabo bajja ne bangulako naye bo basing kumpita Ssibyangu kuba era gye nvudde tebibadde byangu.

Bye nfunyemu

1. Mpeereddemu abaana era bonna mbatuusizza ku yunivasite. Nnatandika mpangisa we nkolera, naye kati nzimbye amayumba g’abapangisa agasulwamu n’ekizimbe ky’amaduuka e Buwalula.

2. Amaka gange mwe nsula nago mwe ngaggye.

3. Nnatandika ntunda gonja yekka naye kati nnina n’edduuka omuli ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo era ligaziyizza nnyo enfuna yange.

4. Eyatandika n’ekota omukaaga kati ntunda n’ekkumi olunaku.

Omukyala ng'ayokya gonja

Obubaka eri abatandika bizinensi

1. Obutanyooma mirimu, kuba buli mulimu gusobola okukugaggawaza n’otuuka ku kirooto kyo.

2. Kapito yenna gw’olina asobola okutandika bizinensi.

3. Tereka ku buli kitono ky’ofuna, nga kino kiva mu kuyiga kwerumya osobole okutuuka ku kirooto kyo.

4. Beera n’amazima eri bakasitoma bo n’abo b’osuubulako ebintu kuba eno mpagi ya maanyi mu kukulaakulanya bizinensi yonna.

5. Kulembeza Mukama Katonda, kuba watali toyinza

fcb

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda