TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Atannatuukiriza biruubirirwa osobola okutandika kati omwaka

Atannatuukiriza biruubirirwa osobola okutandika kati omwaka

By Musasi Wa

Added 27th June 2012

Omwaka bwe guba gutandika gulabika ng’omuwanvu, era nga tewali atuwalirizza ne twetema okubaako bye tutuukiriza nga tegunnaggwaako, kyokka ne gutuddukako nga tulaba era okukkakkana nga bingi bitulemye.

2012 6largeimg227 jun 2012 103555157 703x422

Omwaka bwe guba gutandika gulabika ng’omuwanvu, era nga tewali atuwalirizza ne twetema okubaako bye tutuukiriza nga tegunnaggwaako, kyokka ne gutuddukako nga tulaba era okukkakkana nga bingi bitulemye.

Omwaka guno bwe gwali gutandika nnakugamba nti omuntu yenna ayagala okukulaakulana ateekwa okubaako n’ekiruubirirwa eky’oku ntikko nga kino ky’azimbirako ebintu byonna by’akola mu bulamu.

Bw’oba olina ekiruubirirwa kitegeeza nti buli ky’okola buli lunaku kirina okuba nga kikuyamba okutuukiriza ekiruubirirwa kyo eky’oku ntikko.

 Olw’okuba ekiruubirirwa eky’oku ntikko tetuyinza kukifuna mu lunaku, omwezi oba omwaka gumu, tussaawo ennyingo ez’enjawulo ezituyamba okusigala ku mulamwa n’oluvannyuma tulyoke tutuuke ku kiruubirirwa kiri.

Olw’okuba ekiseera mwe tusuubira okutuukira ku kiruubirirwa kino kiba kiwanvu ate nga mulimu ennyingo ez’enjawulo, kye tuva ebiseera bino tugenda nga tubikutulamu nga bwe tubiwa ekkatala.

Buli kitundu kye tusazeemu kwe tusimba akapande akanaatujjukiza obuwanguzi oba okuwangulwa kwe tutuseeko.

Okugeza bw’oba oyagala okulima emmwaanyi, omwaka bwe guba gutandika osalawo nti nteekwa okulima emmwaanyi. Ekimu ku by’olina okusooka okufuna ly’ettaka, kuno n’ozzaako ebikola ku ttaka, n’ozzaako endokwa, jjukira olina okufuna abakozi, n’ebirala ebiringa ebyo.

Bino oteekwa okubiwa ekiseera w’olina okubikolera. Okugeza oyinza okugamba nti February w’anaatuukira nteekwa okuba nga mmaze okugula ekibanja oba ettaka.

Oyinza okugamba nti April w’anaatuukira nteekwa okuba nga mmaze okusimba. Oyinza okugamba nti June w’anaatuukira nteekwa okuba nga mmaze okubikka oba okussaako ebijimusa era oyinza okugamba nti December w’anaatuukira nja kuba mpezezza yiika ttaano oba 10.

Nnakugamba nti emyezi gino bwe giba tegikwanguyira ebintu bisibe ku nnaku enkulu. Okugeza oyinza okugamba nti Paasika w’eneetuukira nja kuba nkoze kino, ate n’ogamba nti olw’Abajulizi we lunaatuukira nja kuba mmaze kino. Omulala ayinza okugamba nti Iddi esooka erina okunsanga nga ntuukirizza kino ate omulala n’agamba nti Ameefuga gajja kusanga nkoze kino.

Zino ennaku zikuyamba buli kiseera okutta akadde n’oddamu ne weekubamu tooki ozuule oba nga ddala okyali ku mulamwa. Bw’ozuula ng’okyali ku mulamwa kikuwa amaanyi okweyongerayo ate bw’okizuula nti olina by’ototuukirizza nakyo kikuyamba kuba olina okuzuula lwaki ebintu tebitambudde nga bw’obadde obyagala.

Bw’oba onoonya ekikugaanye okutuuka ku buwanguzi mu kiseera ekyo, kikugwanidde okutunula enkaliriza ate mu bwesimbu ozuulire ddala ekikugaana okugenda mu maaso. Nkwegayiridde weewale okunoonya ebyekwaso. Sooka weekubemu tooki ggwe kennyini kubanga ebintu ebisinga nnyini byo y’abyettira.

Bw’omala okwekubamu tooki tereeza mangu ebikyamu by’ozudde n’ebyo by’olowooza nti byakoleddwa bantu balala bitunuulire ng’obunafu bwo kuba singa wali ofuddeyo mu ngeri entuufu osanga tewandikolaganye na muntu mukyamu akulemesezza okutuukiriza ebiruubirirwa byo.

Weewale ebyekwaso. Jjukira nti nnakugamba nti omuntu bw’aba yasazeewo kufuna byekwaso tebiyinza kumubula. Naye kino okukiggyawo sooka weebuuze nti naye mu mbeera eno enzibu bweti, teriiyo muntu n’omu atuukirizza oba waakiri afunyeeyo ebitundu 60 ku 100 kw’ebyo bye yali aluubirira? 

Nnoonya bulungi ojja kubasangayo, ekitegeeza nti embeera ne bw’eba mbi etya olina akatono k’osobola okutuukako wadde nga sipiidi eyinza okubeera entono.

Tandika kati omwaka

Naye nno ne bw’oba tolina ky’otuuseeko mu kiseera kino leka kuggwaamu maanyi. Ggwe omwaka gwo gutandikire wano era ogambe nti guno we guggweerako nteekwa okuba nga bino mbikoze. 

Twagamba nti kikulu nnyo okufuna ekiruubirirwa ate n’okiwandiika wansi. Bwe kiba kisoboka n’okuba n’ekifaanyi ky’oyagala okutuukako n’okitimba awantu ate bw’oba oyagadde oyinza n’okukitegeezaako omuntu gwe weesiga ate akukwasa ensonyi, oluusi nno ayinza n’okubeera omwana wo, anaakuyamba okukujjukiza obweyamo bwe wakola.

Atannatuukiriza biruubirirwa osobola okutandika kati omwaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze