TOP

‘Amasweta gandiisa ng’eyasoma’

By Musasi Wa

Added 22nd August 2012

“OBUTASOMA buluma okuze”, eng’ombo eno esinga kukozesebwa ku muntu ensi gw’ezibuwalidde nga talina gy’asobola kufuna mulimu gw’ayinza kuggyamu ssente.

2012 8largeimg222 aug 2012 184131990 703x422

Bya VIVIEN NAKITENDE
“OBUTASOMA buluma okuze”, eng’ombo eno esinga kukozesebwa ku muntu ensi gw’ezibuwalidde nga talina gy’asobola kufuna mulimu gw’ayinza kuggyamu ssente.
 
Wabula Muky. Aisha Muhammad, omutuuze mu zooni ya Kabaawo - Mutundwe eng’ombo eno  yagidibya, era agamba nti wadde teyasoma nnyo, okutunga ebitambaala n’engoye mu wuzi nnyina bye yamuyigiriza mu buto kumwerabizza ennaku y’obutasoma n’atuuka n’okutendeka abasomye ssaako okubawa emirimu.
 
Muky. Muhammad annyonnyola engeri gy’addukanyamu omulimu gwe n’asobola akufunamu by’ayagala. Nnazaalibwa Mw. Muhammad Kasuse ne Muky. Safi na Namaato ab’e Luyembe - Kyazanga mu 1974.
 
Maama yali atunga bitambaala bya ku ntebe n’anjigiriza kuba n’amubuuzanga nnyo engeri gye bitungibwamu. Mu buto nnalwala amaaso era gaagenda okuwona ng’ebiseera ebisoma bimpiseeko era sirinnyangako mu kibiina. Mu 1992 nnafumbirwa baze Mw. Twaha Ssegirinya ne mmusaba angulire
wuzi ntandike okutunga ebitambaala n’akkiriza ne ntandika okutungira awaka.
 
Bye nnatunganga nnabiguzanga baliraanwa n’okubitwalako mu butale ssaako mu bubuga obutuliraanye nga bwe nkung’aanya ssente. MU 2008 ng’enda okulaba nga tebikyafuna ne nteekawo bizinensi endala ey’okutunda amanda naye ng’omutima gwagala byakutunga.
 
Lumu nnali ntambula ne nsanga omwami eyali atunga amasweta e Kabowa, nnamusaba anjigirize omulimu guno n’akkiriza era nnamusasula 150,000/- ze nnatunda mu manda era mu wiiki bbiri nnali njize.
 
Ekyalaani nnakigula mu ssente za manda
Ssente ezaasigalawo ku z’amanda nnagulamu ekyalaani ekitunga amasweta mu Kiyembe ku 200,000/-
era okuva olwo ne ntandika okutunga amasweta.
 
Nnatandisa kapito wa 14,000/- gwe nnagulako ebidondi bya wuzi 20 kwe nnatandikira. Nnatungamu essweeta ez’abakulu mukaaga ne ndoka. We njogerera ndi mu kapito wa bukadde 10.
 
 Bye nkola mu wuzi
Nnakizuula ng’akatale k’amasweta ka sizoni kuba nnatungiranga masomero nga bagula ku ntandikwa ya
lusoma. Nnatandika okukola ebintu ebirala omuli enkoofi ira, sitokisi n’engoye eza buli musono. Nsomesezza abantu abasukka mu 80.
 
Akatale
Wuzi nzigula mu Kikuubo wakati wa 14,000/- ne 15,000/- pakiti ey’ebidondi 10, era nzikolamu essweta
 3, bwe buba busuuti buba 2 ate obukoofi ira oba sitokisi n’obusawo bw’amasimu buvaamu obusukka mu 30.
 
Olunaku nsobola okutunga wakati w’amasweta 8 ne 10. Amasweta ngatunda wakati wa 15,000/- ne 20,000/-. Obusawo bw’amasimu 1,000/-, sitokisi n’enkoofi ira okuva ku 1,000/-. Olunaku nsobola okutunda wakati wa 100,000/- ne 200,000/- nga ntundira ku mmotoka yange gye nnagula okunyambako ku mirimu nga ssente nnazifuna ku magoba ge nkola.
 
Nkozesa abantu mukaaga, ng’enda mu myoleso wonna we gibeera mu ggwanga. Nfuna kontulakiti okuva
mu masomero n’okutembeeya.
 
Bye nfunye
1) Nzimbyeko ennyumba z’abapangisa ezisoba mu 10 n’amaka gaffe e Mutundwe era nguzeeko ne poloti ze ntegeka okuzimbamu.
 
2) Nguze mmotoka kwe ntundira ebintu byange.
 
3) Abaana bange bonna basoma, nange sirina kye njulirira.
 
Obuzibu
1) Oluusi ba kasitoma batwala ebintu ne balwawo okusasula n’obutasasulira ddala.
 
2) Ebikozesebwa nabyo bya buseere, wuzi ezaali ku 7,000/- kati za 15,000/-.
 
Obubaka
Abantu tuleme okwekubagiza olw’obutasoma, nze ssaasoma naye ntendeka abasomye ate era be nkozesa.
Kyetaaga kuba muyiiya. Emirimu gy’omu mutwe gyanditeereddwa mu masomero buli mwana n’abaako ky’amanyi okusinga okunooya emirimu nga bamaze okusoma.
 

Aliko ky’obuuza wandiika ekigambo “YIIYA” ozzeeko ekibuuzo oweereze ku 8338. 

‘Amasweta gandiisa ng’eyasoma’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana