TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Okuggalawo bizinensi kiyinza okukuyamba okugaggawala

Okuggalawo bizinensi kiyinza okukuyamba okugaggawala

By Musasi Wa

Added 26th September 2012

EMIRUNDI mingi bakugambye nti bw’oba oyagala okugaggawala oba okuyitimuka, funayo ekintu kimu okiremereko

2012 9largeimg226 sep 2012 113733510 703x422

Bya MICHAEL MUKASA SSEBBOWA

EMIRUNDI mingi bakugambye nti bw’oba oyagala okugaggawala oba okuyitimuka, funayo ekintu kimu okiremereko ojja kukifunamu.

Kino kyakkaatirizibwa nnyo Polof. James Williams ow’omu Yunivasite y’e Harvard esinga okuba ey’ettutumu esangibwa mu Amerika.

Abantu bangi abagoberera endowooza ye bafunyeemu kyokka kino ate kiyinza okuba nga kye kikyakuumidde abantu baffe mu bwavu!

Okutandikawo bizinensi oba ekintu kyonna tekiba kyangu era kizibu nnyo okumatiza omuntu eyakikola okukkiriza okukivaako ne bwe kiba kimuzinya engera.

Eno olumu y’ensonga lwaki buli lukya owulira abantu nga bagamba nti tukola nnyo kyokka tetufuna era kirabika tetulina mukisa gwa kugaggawala.

Wano bangi we batandikira okulowooza nti eriyo abantu Katonda be yawa omukisa gw’okugaggawala ate abalala n’abatondera kubeera baavu.

Endowooza eno ya bulabe era eyinza okuba nga y’ekuumidde eggwanga lino mu bwavu.

Waliwo ensonga eziwerako eziwaliriza abantu okusigala mu biizinensi ezitafuna, singa osobola okuzirwanako ojja kuwona ekkoligo lya biizinensi etakola ssente.

Ze zino:
a. Okulemwa okutegeera bizinensi gy’oyingiddemu.
b. Okulemwa okuwa bizinensi ekiseera ekigere
c. Okulemwa okulaba obubonero obulaga bizinensi etalina lugendo
d. Okutya okufi irwa ssente z’otaddemu
e. Okulemwa okubala bizinensi
f. Okutya okuswala


Bizinensi yonna gy’oyingiramu nga togitegedde bulungi ejja kukuwa essuubi eritali ttuufu.

Buli lukya ekulowoozesa nti eneetera okuleeta ssente era kiba kizibu okufuna ekirowoozo ekigivaamu kubanga oluusi oba olabayo abagikola ng’ebafunira, okutuusa lw’ekwavuwaliza ddala.

Bizinensi yandibadde n’ekiseera ekigere mw’erina okukolera ssente, bwe kigiyitako kimanye nti ekonye.

Okugeza bw’okola edduuka okumala omwaka nga teryongera ku bakasitoma olina okumanya nti eryo ligaanye, sala malala.

Oluusi tuba n’obunafu okulaba obubonero obulaga nti ekintu kye tukola mu kifo ky’okugenda mu maaso kidda mabega.

Okugeza oyinza okwesanganti wadde ossizza ssente nnyingi mu kulanga, bakasitoma abajja beeyongera kukendeera.

Oluusi tutya okufi irwa ssente ze tuba tutaddemu. Bangi ku ffe tutuula ne tutunuulira ebintu bye tussizza mu bizinensi n’amaanyi ge tukozesezza ne twebuuza nti ddala bino byonna bife ttogge!

Ekivaamu ne tusigala nga twewaliriza olwo n’obusente bwe twandyeyambisizza okukola ebirala oba oli awo ebyandituggye mu bwavu nabwo ne tubuyiwa mw’eyo okukkakkana nga tulemedde mu mbeera embi.

Ate abantu bangi balemwa okumanya ssente ze batadde mu kintu ne balowooza nti bizinensi ekola sso nga mu butuufu tesobola kweyimirizaawo.

Kino okusinga kibaawo naddala ng’olina awantu awalala w’ojja ssente nga bw’oyiwa mu bizinensi eno.

Kino kituuse nnyo ku bannabyabufuzi abatandika ffaamu nga beeyambisa ebintu bya

Gavumenti era oluva mu bifo nga ne ffaamu zigwa.

Olumu tutya okuswala eri mikwano gyaffe, abantu be tuzze tuvuganya nabo, abantu b’oku kyalo, bw’aba mukazi ayinza okutya okusekererwa baggya be, okukkakkana ng’alemedde mu bizinensi emussa obwavu.

Abalala tuba ne bakasitooma ab’olulango be tutya okuyiwa, ne tusigala nga tuweereza abo kyokka nga ffe tetulina kye tufunamu n’oluvannyuma ne kikosa ennyingiza yaffe yonna.

Naye okuggalawo bizinensi kye kimu ku bintu ebiyinza okukubbula n’owona ennaku gye weesibyemu ate n’ofuna omukisa ogutandika ekirala ekiyinza okukufunira n’ofuuka omugagga ffugge.

Kyokka okutuuka okusalawo okuggalawo bizinensi olina ebintu ebikulu by’olina okukola era bye tujja okutunuulira wiiki ejja.

ENGERO Z’ABAGAGGA: Atava ku mulungi afa abika.

 

Okuggalawo bizinensi kiyinza okukuyamba okugaggawala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza