TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Bw’oyiga okugereka omwaka ng’otuuse ku bugagga bw’onoonya

Bw’oyiga okugereka omwaka ng’otuuse ku bugagga bw’onoonya

By Musasi Wa

Added 24th October 2012

ENSI eno nnyangu nnyo singa oba okkiriza okukozesa ebiriwo, kyokka ate nzibu nnyo bw’osalawo okugunjawo ebibyo. Katonda yatonda ensi etambula nga yeevulungula buli luvannyuma lw’essaawa 24 ate ne yeetooloola enjuba okumala ennaku 365 ate olumu ne ziba 366.

ENSI eno nnyangu nnyo singa oba okkiriza okukozesa ebiriwo, kyokka ate nzibu nnyo bw’osalawo okugunjawo ebibyo. Katonda yatonda ensi etambula nga yeevulungula buli luvannyuma lw’essaawa 24 ate ne yeetooloola enjuba okumala ennaku 365 ate olumu ne ziba 366. 
 
Ekiseera ky’emala nga yeevulungula oluuyi olumu luba lutunudde mu njuba era ekyo kye tuyita emisana, ate bwe lwevulungula ne lutunula oluuyi olulala awatali njuba ekyo kye tuyita ekiro.
 
Ffe wano mu Uganda tulina omukisa nti kyenkana ekiro n’emisana byenkana omwaka gwonna sso ng’e Bulaaya ebiro mu biseera omusana we gwakira ennyo (Summer) biba bimpi nnyo kuba olumu enjuba egwa ssaawa 4.00 ez’ekiro ate n’ekomawo ku 10.00 nga bukya, ne kitegeeza nti ekiro kyonna kimaze essaawa mukaaga. Ate mu biseera eby’obutiti (Winter) ebiro bye biba ebiwanvu ate ekiseera eky’emisana ne kiba kimpi.
 
Ennaku 365 oba 366 ensi z’emala nga yeetooloola enjuba gwe tuyita omwaka. Omuntu mu magezi Katonda ge yamuwa yasobola okutema ebitundu mu mwaka guno ng’atandikira ku lunaku Katonda lwe yamuyambako ng’aluwa emisana n’ekiro n’agamba nti essaawa 24 bwe ziyita olwo luba lunaku. 
 
Mu ngeri y’emu omuntu yassaawo oba bw’oba mukkiriza gamba nti Katonda yassaawo wiiki bwe yatonda byonna ebiri ku nsi n’amaliriza n’omuntu era n’awummula ku lunaku olw’omusanvu.
 
Wano era omuntu yasukkawo n’agamba nti naye wiiki emu teyeemala n’agamba nti katukoleyo ekigatta wiiki ennya era n’akituuma omwezi. Omwezi guno nno era bw’ogwetegereza gw’agala okukwatagana n’omwezi ogwaka ekiro ogumala ennaku 28 era kigambibwa nti abaakitandika gwe baakoppa.
 
EBISEERA EBIYAMBA OMUNTU OKUKOLA
 
Waliwo ebiseera ebyenjawulo mu mwaka ebiyamba omuntu okukola, nga mu bino mulimu ebiseera by’enkuba. Okugeza
wano mu Buganda tumanyi nti tulina emyaka gy’enkuba ebiri; toggo ne ddumbi era nga gino gye tugoberera nga tulima.
 
Ab’ebyenjigiriza bassaawo ttaamu okusobola okuyamba omuntu okumanya oba agenda mu maaso. Mu makampuni ag’omulembe, omwaka gutemwamu ebitundu bina era buli kitundu ne kiweebwa ebintu ebirina okutuukirizibwa mu kiseera ekyo.
 
Gavumenti erina omwaka ogwayo era nga wano mu Uganda ogwaffe gutandika mu July oluvannyuma lw’okusoma Bajeti
era ne kkampuni nnyingi we zitandikira ogwazo, sso ng’ate ebitongole ebimu omwaka gwabyo gutandika n’omwaka ogwa bulijjo okuva mu January okutuuka mu December.
 
Abantu bangi tuzze tusomesebwa emyezi gino okuva mu kibiina ekisooka kyokka tetwafuna mukisa kunnyonnyolwa lwaki kikulu nnyo okugyeyambisa mu kukulaakulana.
 
Ekisooka omuntu amanyi omwaka mu ngeri gye tuzze twogeramu waggulu amanya nti alina ekiseera ekigere mw’alina okukolera ebintu bye era asobola okweyambisa okugereka kuno okumanya oba asenvulira ku misinde gye yali ayagala oba talina lugendo.
 
Omuntu anaakulaakulana alina okutandika okukola ng’asalawo by’anaakola mu lunaku, wiiki, omwezi, emyezi n’omwaka oba emyaka. Ng’oggyeeko emyezi oyinza okusalwo ebiseera byo okubibalira ku nnaku enkulu omuli ez’eddiini n’ez’ensi.
 
Okugeza oyinza okugamba nti Paasika, Olw’abajulizi, Ameefuga, Ssekukkulu oba Olusooka omwaka we lunaatuukira nteekwa okuba nga kino nkimaze.
 
Buli luvannyuma lw’ekiseera kino ky’otaddewo olina okutuula ne weekubamu ttooki okuzuula oba olina w’otuuse bwe kiba kigaanyi n’ozuula lwaki kigaanyi ate n’oyongeramu amaanyi amaggya. 
 
OMWAKA GUTANDIKE KATI
 
Bwe biba bigaanyi okutambula nga bwe wali osuubira leka kuggwaamu maanyi, tandikira wano mu ngeri y’emu nga bwe nnakugambye nti kkampuni ezimu ne Gavumenti omwaka gwazo gutandika mu July, naawe ogugwo guyinza okutandikira wano ate ku luno leka kulinda mbeera emale kutereera kubanga eno eyinza okuba nga y’ensonga ekulemesezza okutandika.
 
Tandika n’akatono akanaakuyamba okutuuka ku kinene kye wettanira. ENGERO Z’ABAGAGGA: Ebirwa bikyuka, amalusu

Bw’oyiga okugereka omwaka ng’otuuse ku bugagga bw’onoonya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo

India1 220x290

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi...

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi...

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa