TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Hajjati Munnakampala akuwa amagezi g'okuyingiza ssente

Hajjati Munnakampala akuwa amagezi g'okuyingiza ssente

By Musasi Wa

Added 28th October 2012

HAJJAT Nnaalongo Janat Ssempala owa 'Janat Ladies' Centre' y'omu ku bakyala abasuubuzi abamanyifu mu kibuga.

Bya HAFSWA NANKANJA

HAJJAT Nnaalongo Janat Ssempala owa 'Janat Ladies' Centre' y'omu ku bakyala abasuubuzi abamanyifu mu kibuga. Atunga engoye ez'abakyala n'abasajja, okusiba abagole n'engoye z'Ekisiraamu. Akuwa amagezi ku ngeri gy'oyinza okukola ssente mu biseera bino nga totandise na ssente nnyingi.

1 Ggwe atannafuna kapito, bw'ogenda okugula ekintu kyonna, noonya ekifo we bataseera osobole okufissa. Buli nfissi gy'otereka mu bbanga ttono ddala ojja kuba ne kapito oba ssente ezikumala okuyita mu bikujjuko nga naawe oli musanyufu.

2 Sizoni eno abaguzi beeyongera ky'ekiseera ekituufu eky'okutandikika omulimu gwonna. Ne bw'oba ne 20,000/-, zikozese tandika na kusuubula obugoye nga bubiri oba obukadde otembeeye amagoba g'ofunye gongere mu kapito.

4 Bw'oba ne ssente entono, topapira kusuubula bintu wala oba bweru wa ggwanga. Engeri gy'oba nti waakatandika, s
sente ze wandifunye ng'amagoba zikugendako nnyo ku bisale by'entambula

5 Olina okumanya nti, tewali muntu akeera ku nkya n'ategekawo abaguzi be. Olina okusooka okumanya abantu kye baagala era mu budde ki. Kikuyamba okuleeta ebintu ne biggwaawo mu budde.

6 Beera n'obugumiikiriza. Jjukira nti okufuna bakasitoma ab'enkalakkalira si kyangu. Abantu bwe muvuganya b'osanze mu mulimu bayinza okutunda emirundi egiwerako nga gwe tonnaba kutundako wadde omulundi ogumu. Lemerako naawe ojja kutunda.

7 Bw'opapira mu mulimu weekanga owabye. Kino kiri nnyo ku bakyala, bw'oba n'omulimu n'ogukolamu waasiwaasi oyinza okugwa ku gasajja ne gakubba.

8 Funa ettogero oba akadomola okasaleko akatuli otandike okukaterekamu ssente zo. Ku buli z'ofuna ggyako ky'otereka. okugeza, ku mutwalo terekako 2000 buli lunaku. mu myaka 3 ojja kuba mugagga era nga ne kapito wo awera.

9 Weewale wolokoso w'abantu. Abamu balimu omuze gw'okwagala okulemesa abalala. Bakutiisatiisa nti omulimu muzibu so nga ye aggyamu mudidi. Oluusi bw'aba ng'akuyambye akugamba bizinensi yeetaaga ssente nnyingi nga ye yatandisa mitwalo butwalo.

10 bw'oba olina obuzibu bwonna mu kusalawo ku kiki ky'oba oyingirira n'enzirukanya ya bizinensi tuukirira abantu be weesiga abakugu mu bizinensi.

11 Kasitoma mufuule mukwano gwo, osobola n'okumusitulirako okutuuka w'agenda okulinnyira. Bwe kiba kisobose, bw'akusaba okumusalirako musalireko.
 

Hajjati Munnakampala akuwa amagezi g''okuyingiza ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...