TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Obwa kanaabe; eyeekanasa tasobola kubufunamu

Obwa kanaabe; eyeekanasa tasobola kubufunamu

By Musasi Wa

Added 12th November 2012

Obwakanaabe bumpisa ‘ffala’ naye mbufunyeemu

2012 11largeimg212 nov 2012 185112730 703x422

Bya BBOSA GONZAGA

“OBUTASOMA buluma bukulu nga teweeyambisa magezi go amazaaale”, eno y’enjogera ya Steven Byaruhanga, 32 akola ogwa kanaabe mu Kisenyi e Kamwokya.

Agamba nti bangi bamuyisaamu amaaso olw’obutasoma n’okuba nti ayoza mmotoka naye tabafaako kuba omulimu gwe agulinamu ekyama.

Anyumya bw’azibikidde ekituli ky’obutasoma olw’abazadde be okubulwa ensimbi n’obukodyo bw’akozesezza okuyiiya ssente ezimuyambye okwezimba nga talina gw’abbye.

Byaruhanga ngali ku mulimu.

“Okusoma kwange tekwagenda wala kuba nnakoma mu P.3 ensimbi taata ne zimuggwaako olwo ne nsigala okulima nakyo ekyannemerera olw’obutaba na nsimbi zimala okulimira ku mutindo ogwa waggulu.

Nzaalibwa Ntungamo era okusoma n’okulima nga bigaanye nnawakanya ekya taata okung’aana okujja e Kampala ne nva mu kyalo ng’obwavu bunzita.
Nnasooka kubeera wa mukwano gwange e Kamwokya mu 2001 wabula kati nafuuka mutuuze w’e Kampala.

Nfuna omulimu
Bwe natuuka ewa mukwano gwange yambuuza kye njagala okukola ne muddamu nti omulimu gwonna kasita guba nga guyingiza ssente ez’okulyako n’okwebeezaawo.

Mukwano gwange yali ayoza mmotoka era yanzikiriza okukola naye kyokka nga bwe njoza ssente gwe nzikwasa ye n’anjawulirako. Guno omulimu gwali tegwetaaga kapito okutandika okuggyako amaanyi n’obumalirivu.

Nnakola butaweera okumala emyaka ebiri era buli kimu ne nkiyiga olwo ne nsalawo okwetongola nga nzikiriziganyizza ne mukwano gwange.

Mu 2003 natandika okwekozesa era kati mmotoka njooleza ssente eziri wakati wa 5,000/- ne 30,000/- okusinziira ku bunene.

Olunaku nsobola okwoza emmotoka kkumi mukama bw’aba yabukeesezza bulungi olwo ne nfuna 150,000/-.

Bwe nzigyako ez’amazzi, sabbuuni ow’omuti n’obuwunga, ssaako omukozi gwe nkola naye gwe nsasula 20,000/- olunaku oluusi n’okusingawo okusinziira ku ze tuba tukoze, olunaku lwe nkoze obulungi nfissa 100,000/- olwo omwezi ne nfissa wakati wa 300,000/- ne 350,000/-.

Ebinkuumidde mu bizinensi
1) Nkozesa nnyo amazima, omuntu ne bw’aba alese ekintu kye mu mmotoka nfuba okulaba nti nkimutuusaako.

2) Buli mulimu gwe mbeera nfunye nguwa obudde obumala ne ngukola ne gunyirira olwo kasitoma n’asobola okudda omulundi omulala.

3) Nfuba okulaba nti sikozesa lulimi luvuma kuba nkolera abantu ab’enjawulo. Kale bwe weekambuwaza bakasitoma obeera obagobye ne bw’oba mu nsobi olina okugonda kuba kasitoma y’aba mukama wo.

4) Nkeera nnyo ku mulimu, zigenda okuwera ssaawa 12 ez’oku makya nga nnatuuse dda, zigenda okuwera ssatu ez’oku makya ng’omutwalo gundi mu nsawo.


Byaruhanga ngali ku nju gyeyagula mu bwa kanaabe. ebifaananyi byonna bya Bbosa Gonzaga

5) Nkolagana bulungi ne bakozi bannange bonna era ng’ekyo kikuyamba okufuna kasitoma okuva ewa munno singa aba amusanze alina omulimu.

Bye nfunyeemu
1) Nsobodde okugula amaka agawedde era nnawona okupangisa. Nnasonda mpola okumala emyaka esatu nga ze nfissa ze ntereka era bwe nnaweza 3,000,000/- mu 2009 ne ndaba omuntu eyanfunira enju ey’okugula mu Kisenyi e Kamwokya, Old Kira Rd nga mwe mbeera ne famire yange.

2) Mpeerera abaana bange abasatu n’okulabirira amaka gange.

Okusoomozebwa
-Amazzi gano si malungi kubeeramu nnyo kuba galina ebizibu byago bingi.
-Sabbuuni gwe tukozesa ssaako omo byonoona engalo n’ebigere.

-Abatya okuvugannya batwogerera amafuukuule.
-Abantu batuyisaamu nnyo amaaso, oli bw’akusanga oyoza mmotoka abeera takulabawo ne bw’aba mukazi. Naye ebyo sibiwuliriza bwe mba nfuna ssente.

 


Obwa kanaabe; eyeekanasa tasobola kubufunamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...