TOP

Saluuni nnagitandika na 40,000/-

By Musasi Wa

Added 14th November 2012

‘Okutambulira mu kagaali teking’aana kunoonya ssente’

2012 11largeimg214 nov 2012 130414503 703x422

Bya LAWRENCE KITATTA


ABANTU bangi abalina obulemu ku mibiri gyabwe balowooleza mu kusabiriza na kuweebwa nga bagamba nti tebasobola kukola mirimu givaamu ssente.

Margret Naluyima omutuuze w’e Bweyogerere mukyala mulema era atambulira mukagaali akasindikibwa wabula yeegulidde erinnya mu kuyooyoota enviiri z’abakyala.

Anyumya bw’asobodde okwebeezaawo wadde mulema n’abamu nga bamuyisaamu emimwa.

“Nneegombanga nnyo abakola omulimu gw’okusiba enviiri, wabula nga simanyi ayinza kunnyamba kunsomesa kuba bangi abalaba abalema batugaya n’obutayagala kutuyamba.


Wabula lumu nnatuukirira Muky. Florence Namiyingo ne musaba okunjigiriza era n’akkiriza.

Mu 2005 nnatandika okuyiga okusiba enviiri eky’obugagga kwe ntambuliza obulamu bwange. Kyantwalira emyezi mukaaga gyokka okukuguka.

Mu kiseera ekyo nnabeeranga wa mukulu wange ku Katuba e Bweyogerere mu maaso ga Mamerito.
Nnalwawo okutandika okwekozesa olw’obutaba na ssente zisasulira kifo we nsobola okukolera.

Mu 2008, oluvannyuma ly’emyaka ebiri n’ekitundu nga sikola, mulamu wange yampa 40,000/- ze nnatandisa saluuni.

Nnapangisa ekifo we nkolera ne nkisasula emyezi ebiri, nnapangisaako n’akayumba era emyezi ebiri nga buli mwezi nagusasulira 10,000/-. Ekisanirizo nakirina era bwentyo ne ntandika okukola.

NTANDIKA OKUSIBA ENVIIRI
Mu 2008 nnatandikira ddala okusiba enviiri, naye nga kasitoma gwe nnasibanga ye yaleetanga ekiviiri kye ne musiba n’ansasula ez’obusibi.

Nnali nsiba buli musono gwa nviiri ekyannyamba okufuna bakasitoma.

Ebiseeera ebyo nnasibanga enviiri eziri wakati wa 10,000/- ne 15,000/-.

Bakasitoma beeyogera era kino nange ne kinnyongera amaanyi mu mulimu gwange.

Mu 2010 nnayongeza ku ssente ze nsibira era nga kati ntandikira ku 20,000/- okudda waggulu okusinziira ku musono kasitoma gw’aba ayagala.

Obuteekekkeza kye kinkuumidde mu mulimu
Ebimu ku binnyambye okubaawo era nga nkola bulungi omulimi gwange bingi era kuliko:
1) Obuteekekkeza wadde ndi mulema. Bangi baba baagala kubasaasira olw’embeera yaabwe naye nze si bye ndiko.

2) Okwogera n’okukwata obulungi bakasitoma n’okwagala omulimu gwange.

3) Bakasitoma okubakolera ekisinga kimpadde amaanyi era kikoze kinene nnyo okunfuula omukugu mu bye nkola.

4) Okwewa ekitiibwa n’okukiwa abalala nakyo kinnyambye newankubadde ndi mulema abantu be nkolera tebampisaamu maaso.

5) Okwagala omulimu gwange n’obuteenyooma nabyo binnyambye okuba ow’amaanyi.

EBIRUNGI
Nfunyemu ssente ezaagula akayumba mwe nkolera era si kyapangisa.

Nsobola okufunamu ssente ezisasula enju gye mpangisa, okuweerera abamu ku bato bange mpozzi n’okwerabirira.

Nfunyeemu emikwano mingi kuba abamanyi enkola yange ne bw’aba ali wala akomawo ne musiba olw’okuba mbafuula bamukwano ate ne mbasiba bulungi.

EBIZIBU
Ebiseera ebisinga okulinnya kw’ebintu kutukosa ekituleetera okuseera bakasitoma.
Ebiseera ebimu bakasitoma bakendeera ekitukosa naffe mu nnyingiza.

 

 

Saluuni nnagitandika na 40,000/-

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.