TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Bizinensi ki enempa 2,000/- buli lunaku?

Bizinensi ki enempa 2,000/- buli lunaku?

By Musasi Wa

Added 14th November 2012

NNINA emitwalo 50,000/-, nnyinza kukolamu ki nga buli lunaku nfunayo 2,000/-.

2012 11largeimg214 nov 2012 130548580 703x422

NNINA emitwalo 50,000/-, nnyinza kukolamu ki nga buli lunaku nfunayo 2,000/-. Nsuubule mawulire, ntambuze bibala, nsuubule binyeebwa oba nsiike sumbuusa?

Ky’olina okumanya nti ekifo ky’olimu kikulu bw’oba otandika bizinensi. Sooka weekenneenye ekifo ky’olimu olabe abantu kika ki abakirimu, kiki kye batalina oba kye basinga okwetaaga.

Oyinza okulowooleza mu binyeebwa naye ng’abatuuze bettanira mberenge, oba kale nga balina ebbula ly’amazzi nga ky’ekizibu ekisinga okubabobbya omutwe. N’olwekyo kikulu okusooka okunoonyereza nga tonnabaako bizinensi yonna gy’ossaamu ssente.

Bwe kiba ng’ebibala bikufunira okusinziira ku kifo ky’olimu tandika n’ebyo nga bw’ofuba okugaziya bizinensi yo. Bw’oba weewaddeyo okukola kye mmanyi ne 2,000/- z’osuubira okukola buli lunaku osobola okuzisinzaawo.

Laba nga bakasitoma obawa ekyo kye baagala. Bw’oba osazeewo kutembeya binyeebwa, tosiba bya 300/- na 500/- byokka, tandikira ku bya 100/- kikuyambe okuweza amangu ssente.

Bizinensi yonna ebigikola si maanyi na bungi bwa ssente, wabula obuvumu, okwewaayo okukola n’okulemereko.

Bino bw’oba nabyo teweenyooma tandika ne ssente z’olina nga bw’okola okugaziya kapito n’okuyiiya.

Kirungi olina ebirowoozo bya bizinensi z’oyagala okwenyigiramu.
Biddiddwaamu Patrick Mugalu Ssebadduka omukugu wa Summits Consultancy Inc. mu Kampala ku 0752554102.

 

Bizinensi ki enempa 2,000/- buli lunaku?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.