TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Atandikira ku katono awoomerwa olugendo lw'okugaggawala

Atandikira ku katono awoomerwa olugendo lw'okugaggawala

By Musasi Wa

Added 14th November 2012

Buli muntu ayagala okugaggawala ateekwa okuba n’ekiruubirirwa ekinene.

Bya Micheal Mukasa Ssebbowa

WIIKI ewedde twagambye nti omuntu asobola okutandikira awatono n’afuuka binojjo singa aba atemye empenda entuufu. Ssaagala ontegeere bubi. Sikugaana kubeera na kiruubirirwa kinene.

Era buli muntu ayagala okugaggawala ateekwa okuba n’ekiruubirirwa ekinene, kyokka kye ng’amba kiri nti okutuuka ku kinene tekijja kutwala lunaku lumu oba mwezi gu mu oba mwaka gumu.

Olina okukkiriza nti okutuuka ku lyengedde kijja kukutwalira emyaka n’olwekyo olina kutandika mpola era buli lukya n’oba ng’oyongerako katono katono okutuuuka lw’oweza ennimiro ennene, era kye tuva tugamba nti, ‘Akabimbi akatono kakira ekyosi’.

Olwaleero njagala nnyongere okukunnyonnyola ebirungi ebiri mu kutandikira ku katono olyoke otuuke ku kinene:


1) Otandisa ssente ntono

2) Otandika n’abakozi batono.

3) Ofiirwa ssente ntono

4) Oba n’omukisa ogugezesa

5) Oba n’ekiseera eky’okuyiga

6) Kkampuni ogikuba budinda

Teri kintu kibobbya mutwe ng’okubeera ng’obusente bwonna bw’obadde olina mu bulamu obutadde mu bizinensi kyokka n’erabika ng’egaanyi okutambula oba okugaanira ddala okukola ssente.

Kino bangi kitutuuseeko era sandyagadde muntu mulala kimutuukeko kuba kiyinza n’okukusuula eddalu. Kye nva nkuwa amagezi nti sooka n’akatono, okasseemu ssente ntono ng’okimanyi nti ne bwe zifa nja kuba sikomye.

Olw’okuba otandise ne ssente ntono kikuwa ekyanya ky’okugezesa nga toliimu nsisi, kubanga okimanyi nti kino bwe kigaana nga ngezaako ekirala okutuuka lw’otuuka ku kikola ssente oba ekifuna ng’enjogera y’ennaku zino bweri.


Era nga bwe nkugambye waggulu, olw’okuba oba okozesezza ssente ntono ne bwe bigaana okutambula nga bw’obadde obisuubira ssente z’ogenda okufiirwa tezigenda kukulwaza kubanga zijja kuba ntono era tezijja kukusuula wazibu.

Naye kubamu akafaananyi nga ssente zolina ze weewoze okuva mu banka, oluusi ng’osinzeeyo n’ekyapa ky’ennyumba yo olumu oyinza n’okuba nga wataddeyo ttaka lya famire, zonna ne zifa.

B’owulira nti emmotoka yamukubye ng’asala ekkubo ne bamulabula, ne bakuba eng’ombe ne bakola buli kimu kyokka nga tamanyi kiri ku nsi atambula yeeyogeza yekka.

Nga bwe tugambye olw’okuba oba okozesezza ssente ntono oba n’omukisa ogw’okuyiga nga fiizi osasudde ntono. Kibi nnyo okugezaako okuyigira mu ssente ennyingi nga teweekakasa nti by’osoma binaavaamu ebirungi.

Ensonga eno ey’okuyiga nkulu nnyo era nnina okugissaako essira. Ekituufu kiri nti toyinza kugamba nti bizinensi gundi ogitegeera nga togikolangako.

Buli mulimu ogutegeera otandise okugukola era abantu baffe bangi bagudde mu bitimba kubanga olufuna ku ssente abagezigezi ne babatuukirira ne batandika okubabalira bizinensi eza buli kika okukkakkana nga baziyingidde gye biggweera nga bafiiriddwa olwo Bannakampala ne bagamba nti oyo aluguddemu.

Kyenva nkugamba nti tandika n’akatono kikuyambe okuyiga ekintu ky’oyingiddemu. Okuyiga bizinensi kitwalira ddala ebbanga, kubanga kirimu ebintu bingi. Okugeza weetaaga okutegeera n’okutendeka abakozi b’olina batuukane n’omutindo gwe weetaaga.

Weetaaga okuyiga bakasitoma b’olina ne b’olina okunoonya, weetaaga okukuguka mu ky’amaguzi ky’otunda. Weetaaga okumanya emiwendo egisaanidde n’engeri gye gikyukamu okusinziira ku ky’amaguzi ky’otunda.

Weetaaga okutegeera ensonga z’omusolo, embeera y’obudde engeri gy’ekosaamu omulimu gwo, n’ebintu ebirala bingi era nga birina okukutwalira ekiseera okubiyiga ate nga bw’otobiyiga toyinza kugaggawala.

N’olwekyo nkusaba mwannyinaze, nkusaba mugandawange, nkusaba mutabani, muwala nkwegayiridde togezaako kutandikira ku kinene. Tandikira ku katono, kyokka ng’ekiruubirirwa kinene.

ENGERO Z’ABAGAGGA: Roma teyazimbibwa mu lunaku lumu.

 

 

 

Atandikira ku katono awoomerwa olugendo lw''okugaggawala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...