TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ayagala okukola bizinensi sooka weegezeemu

Ayagala okukola bizinensi sooka weegezeemu

By Musasi Wa

Added 21st November 2012

FENNA twagala okutandika n’amaanyi era buli muntu kye yandyagadde,naye nga bwe nzize nkubuulira, kya bulabe naddala ng’oyingira mu bizinensi gy’otolinaamu bumanyirivu.

2012 11largeimg221 nov 2012 130639010 703x422

Bya Micheal Mukasa Ssebbowa

FENNA twagala okutandika n’amaanyi era buli muntu kye yandyagadde,naye nga bwe nzize nkubuulira, kya bulabe naddala ng’oyingira mu bizinensi gy’otolinaamu bumanyirivu.

Ate mu ngeri y’emu wiiki ewedde nakugambye nti kyangu nnyo okulowooza nti olina obumanyirivu kubanga obadde okola mu kkampuni ennene ebadde ekola ebintu bye bimu, ekintu ekiyinza okukusuula mu ntata kubanga mu butuufu emirundi mingi oba olina ebintu bingi by’otomanyi.

Olw’ensonga y’obutaba na bumanyirivu kyenva nkugamba nti tandika n’akatono, oyongere okutegeera bizinensi gy’ogiyingiddemu nga weeyambisa ssente ntono ezitajja kukuluma nnyo singa biba tebitambudde bulungi, era tekijja kukukaluubirira kugenda kugezaako kirala kubanga ensimbi okozesa ntono.

Naye mu byonna, ky’olina okusinziirako okugamba nti ntadise na kitono kisinziira ku nfunayo. Anti ekiyinula ennyana kiba mu kibeere.

Olwaleero njagala okukugamba nti nga tonnatandika kyandibadde kirungi okusooka okugezesa nga tonnaba kugendera ddala mu bizinensi kugiggweeramu.

Gezesa bizinensi nga tonnatandika
Waliwo nnaggagga wa Bungereza ayitibwa Richard Branson, bwe yali atandika kkampuni y’ennyonyi wadde yali mugagga nnyo yatya okugiyingiramu obutereevu, kye yakola kwe kupangisa ennyonnyi n’ategeka olugendo n’akola ebirango ebiyita abaagala okulinnya ennyonnyi egenda obutereevu era abantu n’abafuna, okuva olwo n’assaawo kkampuni y’ennyonyi.

Agamba nti singa yanoonya abasaabaze omulundi ogwasooka ne bagaana okuwera bizinensi yali agikomya awo.

Naawe kino okisobola. Okugeza bw’oba oyagala kukola kirabo ky’emmere eky’omulembe, sooka weegezeemu ng’osaba okufumbira abantu bo abalina omukolo omutonotono, bwe basiima by’okoze ate be bajja okukuzigirira abalala abalina emikolo era wano w’ojja okuva okukola ekirabo eky’omulembe.

Jjukira nti kino mu kusooka ogenda kukikolera waka awatali kusasula za bupangisa ate ne by’okozesa ku mikolo ebisinga osobola okubisaba abategesi ggwe n’oleeta bibugumya na ssowaani.

Ekirala enkola eno ejja kukusobozesa okugira ng’osigala ku mulimu gw’obadde okola bw’oba ng’obadde ogulina. Kyabulabe nnyo okumala gava ku mulimu kubanga oyagala okutandika ogugwo, sooka ogezese olabe ebintu nga bwe bitambula olyoke osalewo okugenda nga by’ogendamu obitegeera, leka kutwala kasunguyira kubanga baakunyiizizza ku mulimu enkeera n’okwata obusente bwonna bw’olina mu bulamu n’otandika bizinensi. Ojja kwejjusa.

Bw’oba oli musomesa ng’oyagala kutandika ssomero, teweetaaga kutandika na ssomero. Tandika na kusomesaayo abaana nga baabo ku wiikendi ne mu luwummula.

Kino oyinza okukitandikira awaka, oba okufuna ekifo ekitonotono ekikuli okumpi. Mu bitundu ebimu wakyaliyo ‘Community centre’ oba ebitawuluzi, kyeyambise.

Bw’okizuula nti abazadde bakwagadde nga n’abayizi b’osomesa babikwata era nga bajjumbira mu bungi, genda mu maaso n’ekirowoozo ky’okutandika essomero.

Ggwe Yinginiya akolera mu kkampuni ennene, si kyangu okutandikawo kkampuni eyiyo okuggyako ng’oli musajja mukujjukujju, kubanga weetaaga ssente nnyingi, anti ebyuma babiseera.

Kyokka omukujjukujju asobola okutandika kkampuni nga talina byuma, era nga bw’afuna omulimu ng’atandika okubikung’aanya ng’abijja mu babirina.

Kyokka ggwe bw’oba ng’ekyo tokisobola, sooka oguleyo ekimu ku byuma by’omanyi ebyetaagibwa ennyo mu mulimu ogwo kyokka ng’olina obusobozi obukigula.

Tandika okukipangisa bw’ofuna ssente endala ogule ekirala okutuusa lwe weesanga ng’owezezza ebyuma ebikusobozesa okwetengerera olyoke osiibule.

Tobaamu kutya mu ky’okola kubanga otandise na kitono era bwe bigaana ogenda kufiirwa kitono. Kyokka era njagala okukusaba obeere musanyufu kubanga ky’okola kiremye bangi sso ng’ate ekkubo ly’okutte ly’ery’abawanguzi.

Tokkiriza kuwuliriza bakulengezza, kwata mpola ojja kutuuka ku buwanguzi.

ENGERO Z’ABAGAGGA:
Ezinaabala teziranda ggobe.

 

Ayagala okukola bizinensi sooka weegezeemu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.