TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Okwekozesa kunnyambye okufuna obudde obusoma’

‘Okwekozesa kunnyambye okufuna obudde obusoma’

By Musasi Wa

Added 21st November 2012

“OKUKOLA ayisi abaana gwe basinga okwettanira muyite ‘cool cool bar’ kituyambye okweyimirizaawo,


Bya LAWRENCE KITATTA

“OKUKOLA ayisi abaana gwe basinga okwettanira muyite ‘cool cool bar’ kituyambye okweyimirizaawo, mwannyinaze Constance Nalubega mw’afuna ssente ezirabirira abaana be ate nange nfunamu ezimbeezaawo ku yunivasite”, bwatyo

Kelvin Bukenya ow’e Bweyogerere bw’annyonnyola ku by’afunye mu kukola ayisi era ayongera okunnyonnyola bw’amukolamu.

Amagezi nagafuna ku mupangisa eyasulanga ku nnyumba za taata eyamukolanga n’aguza abaana n’okumutwala ku masomero.

Bwe yasenguka mu 2008 abaguzi baasigala bamunoonya kye nnava nsalawo okutandika okumukola.

Tugaziya akatale
Twasooka kutundira waka wabula olw’okwagala okugaziya akatale ne tutandika okumutwala ku masomero.

Mwannyina Nalubega  ng’atabula ayisi.

Enkola ya ayisi ono
1) Fumba amazzi gaggye bulungi oluvannyuma ogawoze.
2) Mu liita z’amazzi 20 oteekamu kkiro za ssukaali ssatu n’ekitundu.
3) Teekamu eggiiko emu n’ekitundu eya ‘food colour’ ekyusa langi y’amazzi.
4) Gattamu gulaamu za ssukaali ow’enjawulo nnya nga ono y’aleeta okuwoomerera.
5) Linda biteeke olwo opakire mu buveera. Akaveera akanene aka sentimiita 15 kagula 5000/-.

Ensibambi edibya mutere
Buli kaveera ka 100/- era mbutunda mu masomero ag’enjawulo e Bweyogerere ne Luzira.
Nkung’aanya ssente eziri wakati wa 500,000/- ne 600,000/- nga nzigyeko sente ze nkozesezza mu kutambuza n’ebyokukozesa ebirala buli mwezi.

Bye tufunye
1) Twatandika ne firiigi entono emu wabula kati tulina ‘deep freezer’ bbiri ze twagula 1400,000/- buli emu.
2) Ebyetaago bya yunivasite ne fiizi z’abaana ba Nabukenya tubifuna mu ayisi.
3) Ssukaali twamugulanga mu kkiro wabula kati tugula kasawo aka kkiro 50.

Okusomoozebwa
Bbeeyi y’ebikozesebwa erinnye nnyo ate n’entambula si nnyangu.
Mu biseera byenkuba bizinensi etambula kitono olw’obunnyogovu.

Ebitukuumidde mu mulimu
Obumalirivu n’okukola nga twagala.
Okumanya abantu kye baagala n’okubakolera ebintu ebiri ku mutindo.
Obuyonjo lye ddagala lye tusoosa ku mwanjo.


 Ayisi awedde okusibwa.

‘Okwekozesa kunnyambye okufuna obudde obusoma’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako