TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Obukodyo 5 obukkakkanya kasitoma omukambwe

Obukodyo 5 obukkakkanya kasitoma omukambwe

By Musasi Wa

Added 5th December 2012

Kasitoma bw’ajja nga mukambwe, nkola ntya?

2012 12largeimg205 dec 2012 123816960 703x422

Kasitoma bw’ajja nga mukambwe, nkola ntya? 0774301272.


Wonna w’oli oba kyonna ky’okola ojja kusanga omuntu omukambwe. Omusomesa naye alina omuyizi omukambwe amuwa obuzibu, kyokka n’abayizi balina omusomesa omukambwe abawa obuzibu.

Waliyo n’abazadde abakambwe, abasawo abakambwe, abalwadde abakaayuukira abasawo. Mu ngeri y’emu ne bizinensi efuna bakasitoma abakambwe.

Mu mbeera efaananako bw’eti, ky’olina okusooka okumanya nti kasitoma ye kabaka wa bizinensi. Buli lw’okola bizinensi, ofuna bakasitoma ab’enjawulo.

Mu bano mulimu abeeyisa obulungi, mulimu abeetowaaze, mulimu abakambwe ng’ebintu abigula ayomba gattako okukuwereekereza ebigambo.


Mulimu abalimba, mulimu abakumpanya, sso nga mulimu n’abaagala ennyo okwewola. Bonna bakasitoma ba bizinensi yo.


Olina okumanya ekikula kya bakasitoma bo, kikuyambe okubaweereza obulungi. Abaddukanya bizinensi abamu batera okwegobako bakasitoma abakambwe, ate ennaku zino balina enjogera egamba nti, ”Abantu tuli bakoowu” naddala nga bafunye kasitoma omukambwe.


Jjukira omuliro tebaguzikiriza na muliro, kasitoma bw’akukambuwalira ate ggwe tomukambuwalira, osobola okumuzza ebbali n’omubuuza ekimukambuwaza n’okumunnyonnyola engeri ebintu gye bitambulamu, kuba ebiseera ebimu ekizibu kiba ku ggwe oba ebyamaguzi byo.


Ekituufu kiri nti buli lw’ogoba kasitoma omukambwe oba ogoba ssente mu bizinensi yo, kuba tomanyi muwendo gwa bintu by’agenda kugula.


N’olwekyo kikulu okubudaabuda kasitoma oyo, kuba omwagalako ssente, ne bwe yeekambuwaza, ggwe beera nwetowaaze gy’ali, omulage essanyu bw’anaalaba nga tofaayo, ajja kwekuba mu mutima akyuse.
Kimanye nti bizinensi eyimiriddewo ku lwa bakasitoma nga n’abakambwe mw’obatwalidde.

Olw’okuba nti tusemberedde ssekukkulu, weetaaga bakasitoma bangi omuli n’abakambwe osobole okumazaawo ebyamaguzi byo.

Obukodyo bw’oba weekwata


1) Zuula entabwe y’ekizibu ekiyombya kasitoma, bwe kiba kyetaagisa okwetonda, mwetondere n’ekizibu okinogere eddagala mu bwangu.


2) Buuza kasitoma kiki ky’oyinza okukola okumuweereza obulungi n’atatoma. Kino kikuyamba okukuuma erinnya lya kkampuni yo ne bizinensi yo.


3) Bwe kiba ng’ekizibu tekiri ku ggwe oba bizinensi yo, nnyonnyola kasitoma akitegeere. Kasitoma tomulekanga mu bbanga.


4) Bw’oba osobola okuwa kasitoma wo essimu ya bizinensi yo, kikole. Kino kimuyamba okukubira mu kiseera eky’omu maaso ng’afunye obuzibu.


5) Bwekiba ng’ekizibu kiri ku byamaguzi byo, leka kuweebuula linnya lya bizinensi yo oba eya mukama wo bw’oba mukozi.


Bw’oba mukozi leka kukissa ku nnannyini bizinensi, kasitoma mwetondere era weeyame okutereeza ekiba kisobye sso si kuvunza nnannyini bizinensi.


Biddiddwaamu Patrick Mugalu Ssebadduka, omukugu wa Summits Consultancy Inc. mu Kampala.



Obukodyo 5 obukkakkanya kasitoma omukambwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.