TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abafere bayingiridde abasuubuzi mu nnaku enkulu Beefuula bannannyini mmaali n’obasasula okumaliriza ng’oguze mpewo

Abafere bayingiridde abasuubuzi mu nnaku enkulu Beefuula bannannyini mmaali n’obasasula okumaliriza ng’oguze mpewo

By Musasi Wa

Added 12th December 2012

Obukodyo 5 abafere bwe baleese okubba abasuubuzi

2012 12largeimg212 dec 2012 121834613 703x422

Bya HERBERT MUSOKE


WAKATI mu kuyiiya buli omu engeri gy'anaayita mu nnaku enkulu, abafere nabo beesomye era nga ggwe omusuubuzi n'omuguzi olina okubeetegekera si kulwa ng’oviiramu awo!


Omuvubuka Joshua Atwiine ow'e Kinnawattaka, yakwatiddwa bwe yabadde afera omusuubuzi Sande Mutyaba ow'e Kireka ng'amugamba nga bw'akola mu kkampuni emu esogola omwenge era ng'ayagala amuwe 200,000/- amufunire ffiriigi.


Oluvannyuma yalabirizza Sande ng’agenze okusuubula n'agenda ku maduuka ge n’asaba abakozi ssente ze yategeeraganye ne Sande kyokka yabadde yaakaweebwako 100,000/- Sande we yamusangidde.

Obukodyo ababbi bwe bakozesa
1 Mu kiseera kino, kkampuni ezisinga zirina enteekateeka z'okuddiza bakasitoma baazo n'ebirabo era nga waliwo obuzannyo bwe bataddewo. Buno ababbi babukozesa okubba abantu ssente.

2 Abalala bakuba masimu nga bakutegeeza nga bw'owangudde ebirabo nga pikipiki, mmotoka n'ebirala kyokka ne bakusaba okusooka obaweereze ssente ku ssimu oba okugula ‘eyatayimu’ batereeze ebintu byonna.

3 Waliwo abeefuula abaguzi naddala ku maduuka agaliraanaganye. Bw'omala okumuguza nga yeefuula alina ebirala by'agula ku muliraanwa wo. Mu kukola bino asobola mwembi okubagamba nti oli y'alina ssente okumaliriza nga ku mwembi tewali gw'asasudde.

4 Ggwe omusuubuzi ayagala okusuubula emmaali y’ennaku enkulu, gamba enkoko, ennyaanya n’ebirala, kyandibadde kirungi ne weetuukira ku mulimi era n’okakasa nti ddala ye nnannyini byo kuba oyinza okukwata ssente n’oziwa omuntu atali nnannyini okugenda okukitegeera nga ssente zimaze okugenda.

Abaguzi n'abasuubuzi mu kibuga. Ebifaananyi byonna bya Herbert Musoke.

ABASUUBUZI NABO BAFERA ABAGUZI
Ssaalongo Abraham Ndinda, ow’e Nalukolongo agamba nti abasuubuzi abamu nabo bafere era balina obukodyo omuli:

1 Osobola okugula gamba essaati, empale oba amasuuka kyokka mu kusibako ne bakuwaamu biwero by’otosobola na kukozesa. Tokkiriza kukusibirako bintu kyekolerere.

2 Abalala babeera ku mudaala, bw’omala okutegeeragana n’omu n’osasula ng’omulala ajja agaana bbeeyi gye mukkiriziganyizzaako n’asoose era akulagira okusasula ssente endala z’ayagala oba okukuddiza ssente zo. Mu kavuvung’ano ako, basobola okukuwa ssente ezitawera oba ekicupuli.

3 Hamza Kalema ssentebe w’akatale ka Park Yard agamba nti mu kiseera kino n’abafera mu buzannyo bwa zzaala beeyongera naddala mu butale bw’omubuulo era ggwe agendayo olina okubyewala kuba ssente z’ogenze okugulamu ebintu wandizibalekera.

4 Entambula bwefuuse enzibu beera mwegendereza kubanga emigugu gyo omwetissi ayinza okugenda nagyo.

5 Aba mmotoka abasigala mu bidduka byabwe ne balamuza n’okulagira okubateera bye baguze mu bbuutu, wandituuka eka nga temuli anti omusuubuzi abissa wansi n’aggala bbuutu ggwe n’osimbula. N’olwekyo kyandibadde kirungi n’ofuluma by’oguze ne bissibwamu ng’olaba era ne weggalira bbuuto.

6 Mu kiseera kino era abatambuza ebicupuli bya ssente beeyongera era beera mwegendereza ku ssente ezikuddizibwa n’abakusaba okubaymba okubamenyeramu (ccengi), si kulwa ng’obawa ennamu ne bakuwaamu enfu.

7 Abasuubuzi abamu batunda ddole z’abaana. Okugeza ab’amasimu waliwo essimu z’abaana ezeefaananyiriza ssimu ez’abakulu ze bakusiba nga tomanyi. N’abatunda ebintu ebirala abamu nabo bwe bakola.


Abafere bayingiridde abasuubuzi mu nnaku enkulu Beefuula bannannyini mmaali n’obasasula okumaliriza ng’oguze mpewo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.