TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 0kugaggawala oteekwa okwenyigira mu by’okola

0kugaggawala oteekwa okwenyigira mu by’okola

By Musasi Wa

Added 12th December 2012

Ekisooka, nga bwe twagamba nti tulina kutandika na kitono tugende nga tugejja, nnannyini bizinensi bw’oba ggwe wennyini weenyigiddemu kitegeeza nti ebintu ebisinga gw’ogenda okubyekolera kino ne kikuwa okufuna obumanyirivu mu kubiddukanya, okusinga eyateekawo abakozi ne yeemalira mu birala.

2012 12largeimg212 dec 2012 121935250 703x422

WIIIKI ewedde nnakugambye nti teri agenda kukukolera ssente ogaggawale, ne nkuwa ezimu ku nsonga lwaki kiri bwe kityo ate ne nkuwa n’ebyokulabirako ebiwerako.Ku luno njagala nkutunuze mu ky’ofiirwa singa teweenyigira mu bizinensi butereevu.

Ekisooka, nga bwe twagamba nti tulina kutandika na kitono tugende nga tugejja, nnannyini bizinensi bw’oba ggwe wennyini weenyigiddemu kitegeeza nti ebintu ebisinga gw’ogenda okubyekolera kino ne kikuwa okufuna obumanyirivu mu kubiddukanya, okusinga eyateekawo abakozi ne yeemalira mu birala.
 
Bintu ki bye njogerako by’olina okumanya?
 Bw’obiwulira oyinza okubiyita ebyangu kyokka nga biyinza okugaanira ddala bizinensi okubaawo oba okukona n’egaanira ddala okukula. Mu bino mulimu:

1 Okumanya ebyetaagisa mu mulimu.
2 Okumanya enzirukanya ya biizinensi ku Gulaawundi (Ground).
3 Okumanya n’okuzuula omukozi omutuufu.
4 Okumanya bakasitoma.
5 Okumanya ebyetaago n’ebizibu bya bizinensi ebiva ku kitundu mw’eri.

Emirundi mingi bw’oba ogenda okutandika ofuna abantu b’oba olowooza nti bamanyi bizinensi era ne babaako ebintu bingi bye bakubuulira by’olina okutandikirako, ekyennaku tebayinza kubimalayo era bingi obizuula otandise okukola. Kyokka bw’oba ebintu wabirekera muntu mulala ne bw’abikugamba otandika okulowooza nti anoonya kulya ssente. Kino okukyewala sooka weekwatiremu omanye buli kye weetaaga.

Kino bw’okivaako ekirala ky’ofuna kwe kumanya enzirukanya ya bizinensi. Kikyamu nnyo okubeera n’omukozi nga ye yekka y’amanyi engeri bizinensi gy’ekwatibwamu, kitegeeza nti waatali tojja kusobola kwetengerera era aba ayolekedde okukubba oba okukunyigiriza nga kw’atadde n’okukutiisa nga bw’ajja okukuviira otobe n’ekintu kyo.

Omukozi bw’amanya nti mukama we amanyi eky’okukola akola na maanyi n’obwegendereza, kyokka bwe bamanya nti tolina ky’omanyi nga batandika okukuvuluga era kino kitegeeza nti bizinensi ejja kugwa.

Bwe weenyigira mu bizinensi okuviira ddala ku ntandikwa omanya omukozi gwe weetaaga ne gw’oteetaaga. Ate oyo gw’ofunye ofuna omukisa gw’okumukolamu omulimu akole ekyo kyennyini ggwe kye wandikoze.

Jjukira nnakugamba nti teri muntu agenda kutegeera wadde okwagala bizinensi okusinga ggwe nnannyini yo eyagitandika ne kitegeeza nti era ggwe kennyini gw’olina okugisomesa omukozi era ogimwagazise.

Olw’okuba ggwe weewandiikidde abakozi era n’okola nabo kigenda kukuyamba okussaawo enkola oba emisingi bizinensi kw’erina okutambulira ne kitegeeza nti ekiseera kijja kutuuka nga tekikyakwetaagisa kubaawo buli kiseera kuba buli muntu amanyi eky’okukola era buli lwe wabaawo avudde ku nkola kiba kyangu okukizuula mu bwangu ensobi n’egololwa.

Bw’onoogaana okwenyigira mu bizinensi yo obutereevu kijja kukubeerera kizibu okutegeera bakasitoma bo. Jjukira nti toyinza kukola bulungi singa oba tomanyi bakasitoma. Okubamanya kirimu ebintu bingi, omuli okumanya ebintu bye basinga okwettanira, enneeyisa yaabwe, essaawa ze basinga okujjirako ewuwo n’ensonga, bizibu ki ebisinga okubatawaanya.

Olumu kino okukifuna oteekwa okwogera nabo n’obabuuza ate olulala bo bennyini be bakubuuza bye beetaaga mu kiseera ekyo by’otolina n’olyoka obitegeera.

Jjukira nnakugamba nti kyandibadde kirungi buli kasitoma n’omuggyako essimu ye osobole okusigala ng’owuliziganya naye, ekintu omukozi ky’ayinza obutatwala ng’ensonga.

Eriyo n’ebintu ebirala bingi bye situuseeko olwaleero omuli okusalawo erinnya, ekifo w’ossa bizinensi, emisoso gya Gavumenti ez’ebitundu n’eya wakati omuli n’emisolo, ebintu by’olina okukuba obudinda nga nnannyini bizinensi era nga bw’oba teweenyigiddeemu butereevu tojja kubiyiga ate nga kiyinza okukulemesa okufuna mu ky’otandise.

JOMAYI essimu gy’assa mu mawulire etuukira ku ye. Ekimu ku by’asuula Kasulu kwali kwesiga muntu mulala.

 
ENGERO Z’ABAGAGGA: Omukulu bw’atakwata mu kisibo, zifa nnaganga.

 
Omuwandiisi ali ku email: mssebowa@newvision.co.ug
 

0kugaggawala oteekwa okwenyigira mu by’okola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga