TOP

Bizinensi 8 ezinaakuyisa mu 2013

By Musasi Wa

Added 9th January 2013

ABAMANYI okuyiiya ssente, tebalinze 2013 kutuuka wabula baakuba dda tooci ne balaba bizinensi ezinaakola mu mwaka guno.

2013 1largeimg209 jan 2013 150615560 703x422

Bya DICKSON KULUMBA


ABAMANYI okuyiiya ssente, tebalinze 2013 kutuuka wabula baakuba dda tooci ne balaba bizinensi ezinaakola mu mwaka guno.

1 Issa Ssekitto, omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekya KACITA agamba nti amawanga gonna agali mu bugwanjuba bwa Afrika galimu ebbula ly’emmere.

N’olwekyo omuntu yenna ayiiya ssente asobola okussa ensimbi mu kusa kasooli n’otunda obuwunga.

Akatale k’emmere eno weekali wano n’ebweru, okugeza e Congo, Juba , Somalia.

2 Bizinensi endala kuliko ey’okutambuliza kkampuni ez’amaanyi ebyamaguzi yazo.

Kampuni okuli ez’amazzi, sooda, sseminti, bbiya n’ebirala osobola okukolagana nazo.

Ssekitto agamba nti, bw’okozesa amazima n’otambuza bulungi ebintu bye akuwa, osobola okukola bizinensi kuba bakuwa ebintu n’obasasula luvannyuma.

Ebya pulasitiika byettanirwa.

3.Ensi nga bw’egenda ekula mu byensimbi, bw’ofuna w’okolera bizinensi y’okuweereza ssente ojja kukola mu 2013.

Ekifo kyetaaga ne kibaamu abasobola okuggyayo n’okusindika ensimbi.

4 Ate, Patrick Mugalu omukugu mu by’enfuna mu Summits Consults mu Kampala agamba nti, emirimu gy’emikono okuli okubajja, okutunga, ebikozesebwa ku mikolo, n’endala byakukuwa ensimbi.

5 Abasomye kompyuta, basobola okutandika bizinensi ey’okukolagana n’amakampuni ag’amaanyi nga babakolera ku mirimu gyabwe.

6 Emigabo osobola okugiteekamu ensimbi, bwe girinnya n’ogitunda ate bwe gikka n’ogula.

7 Okuteeka ensimbi mu byokunywa, kisobola okukolera ensimbi.

8 Bino byonna obikola kyokka sooka oteeke ensimbi mu bulamu bwo. Laba ng’oli mu mbeera nnungi  ey’okuddukanya bizinensi gy’oyingirira.

WEEGENDEREZE
Mugalu agamba nti omuntu yenna ayagala okutandika bizinensi, alina okusooka okwekebera n’okumanya amaanyi ge we gali.

Obumanyirivu bw’olina ku mulimu gw’ogenda okukola, engeri y’okufuna n’okukuuma bakasitoma.

Olina okumanya amateeka agali mu kifo w’oyagala okutandika bizinensi. Ekifo bw’oba okifunye mu Kampala, manya KCCA by’eyagala obigoberere.

Totandika bizinensi n’okuwola kasitoma olwo oba ogiteeka mu buzibu.


Tegeera akatale mw’oyingidde. “Kirungi okubeera ng’olina enkola ennungamu ekuyambe okutunda ebintu byo, osobola n’okuleeta obukodyo obupya okugeza osobola okutuusa ebintu eri bakasitoma,” Mugalu bw’agamba.

Langa bizinensi ng’ogitandika,osobola okukozesa enkola ezitatwala ssente nnyingi okugeza obubaka bw’oku ssimu n’okukubisa obupapula n’ogaba obwo.

Funa okuwabulwa okuva mu bantu b’olaba nti balina obumanyirivumu
by’okola.

Bizinensi 8 ezinaakuyisa mu 2013

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga