TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ebibuuzo bya basuubuzi; Atereka ssente ennyingi mu bbanka afunira wa?

Ebibuuzo bya basuubuzi; Atereka ssente ennyingi mu bbanka afunira wa?

By Musasi Wa

Added 30th January 2013

ABAKUGU okuva mu bbanka ya Uganda enkulu n’abakulira ekibiina ekigatta banka zonna mu Uganda baasisinkanye abasuubuzi nga bakulembeddwaamu abakulira ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekya KACITA okwogera ku nkolagana yaabwe n’addala mu kwewola.

2013 1largeimg230 jan 2013 145816763 703x422

ABAKUGU okuva mu bbanka ya Uganda enkulu n’abakulira ekibiina ekigatta banka zonna mu Uganda  baasisinkanye abasuubuzi nga bakulembeddwaamu abakulira ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekya KACITA okwogera ku nkolagana yaabwe n’addala mu kwewola.

Abasuubuzi baliko ensonga nnyingi ezibanyiga ze baayogeddeko okusingira ddala engeri banka Zaabwe gye zibayisaamu nga bagamba nti babbibwa n’obutatwalibwa nga bamugaso nga banka zikola okusalawo naddala ku magoba n’emisoso egissibwa ku ssente ze beewoze.

Baabuuzizza ebibuuzo eby’enjawulo abakugu ne babiddamu.

Ba mmane lenda tebafugibwa mateeka? Olw’embeera ya banka obutabeera nneesimbu abasuubuzi bangi baddukira mu bawozi ba ssente. Naye abantu bano tebalina mateeka gabafuga naddala ku magoba ge basaba kubanga gabeera mayitirivu ne gatuuka n’abamu okubafiiriza ebyabwe?
Everest Kayondo.

Ebibiina bingi ebigguddwaamu kyokka nga tebimanyiddwa mu mateeka era nga bano be basing okukola emirimu gyabwe nga bwe baagala. Wabula nga tonnaba kuddukira mu bantu bano olina okubeera omwegendereza si kulwa ng’ofiirwa byonna.

Emirimu gyabwe giba mizibu okulondoolwa bbanka kuba bakolera mu kwekweka ngasi kyangu okubafuna.

Yinsuwa ku looni ekola ki? Bwe nneewola ssente mu banka ntegeezebwa nti zibaako omusingo gwa yinsuwa, naye ssente ze nsasula eza yinsuwa nzifuniramu wa, kubanga abantu bangi babatutteko ebyabwe olw’okulemererwa okusasula nga baafuna obuzibu gamba ng’abasuubuzi abafiirwa ebyabwe mu muliro?

Yinsuwa ekuyamba okusasula ekitundu ku ssente ze weewola singa obeera ofunye obuzibu wamu ng’okusasula ssente z’emisoso.

Lwaki bbanka etesaba magoba yalemesebwa? Banka z’ebyobusuubuzi nkozi za magoba, naye enkola ya banka y’Obusiraamu, etekkiriza kussa magoba ku ssente ezikuwoleddwa, lwaki mwagiremesa nga mwekwasa ensonga z’ekikugu? Jimmy Ssengendo.

Obuzibu obwali ku nkola eno bwali nti baali batwala ebintu by’oyo aba yeewoze gamba nga kaadi y’emmotoka, ekyapa oba ebyamaguzi by’ogenda okusuubula n’obizza mu mannya ga banka nga tonnaweebwa ssente ekitegeeza nti singa olemwa okusasula by’oba wasingayo bigenda bugenzi.

Lwaki temutuguza ssente z’e China? Ennaku zino abasuubuzi abasinga ebyamaguzi babisuubula China. Naye lwaki banka za wano tezitunda ssente za China ekituviirako okufiirwa ssente ennyingi nga tukyusa ssente okusooka mu ddoola ate omale ofune eza China?
Edward Kato.

Mu kusooka ssente zino zaali tezikozesebwa nnyo wabula oluvannyuma lw’abasuubuzi okutandika okusuubula e China kati banka za wano nga Centenary zitandise okuzitunda.

Atereka ssente ennyingi mu bbanka afuniramu wa?

Singa mbeera ntadde ssente mu banka yange tugambe obukadde 100, nze nga kasitoma nfuniramu wa, kubanga emirundi egisinga batusala busazi ng’ate ssente zino baziwola abazitutte ne bazizza n’amagoba? Joseph Kiganda.

Banka zirina enteekateeka y’okuteeseganya n’abantu abatereka ssente ennyingi okubawa amagoba n’okubasalira ku magoba ge basasula nga beewoze.


Biddiddwaamu, Ben Ssekabira akulira ekitongole ky’okulondoola emirimu mu Bbanka ya Uganda enkulu.

Ebibuuzo bya basuubuzi; Atereka ssente ennyingi mu bbanka afunira wa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.