TOP

‘Okwerumya kwe kuntuusizza wendi’

By Musasi Wa

Added 30th January 2013

“ABAGAGGA abasinga obungi balwadde ba alusa. Weebuuze lwaki? Kiva ku kwerumya enjala nga basonda ssente”, ebyo bye bimu ku bigambo omugagga Paul Lubega bye yayogedde ng’abuuziddwa ku ngeri omuntu gy’alina okukolamu ssente n’azikuuma.

2013 1largeimg230 jan 2013 150454747 703x422

Bya FAHAMI WASSWA


“ABAGAGGA abasinga obungi balwadde ba alusa. Weebuuze lwaki? Kiva ku kwerumya enjala nga basonda ssente”, ebyo bye bimu ku bigambo omugagga Paul Lubega bye yayogedde ng’abuuziddwa ku ngeri omuntu gy’alina okukolamu ssente n’azikuuma.

Ayongerako nti, “Abagamba nti obugagga si kusonda balimba, omuntu okufuna ssente ateekedwa okukekkereza waakiri ng’afissa ebitundu 50 ku 100”. Lubega ye nnanyini bizimbe bya Star Shoppers Arcade mu Kikuubo, Ravens Plaza ewa Kiseka ne Ravens Hotel.

Lubega agamba nti, ssente si nzibu okukola era buli muntu ava ewuwe ng’agenze kukola, abamu basoma basobole okufuna ssente wabula obuzibu buli mu kuzikuuma.

Engeri gy’asobodde okuzikuuma
Nnatandika okukola nga ndi wa myaka 16 nga mpeereza taata mu galagi. Kitange yali makanika wa bugaali era nange gwe mulimu gwe nnasooka okukola.

Yang’ambanga nti, kirungi okutereka ebitundu 60 ku 100 ku ssente omuntu z’afuna bw’aba wa kugaggawala era bwentyo bwe nzize nkola.

Ssente ze nnafunanga mu bwamakanika nnali nsobola okuzirya ne ziggwaawo, naye olw’okuba nnali mmanyi nti nnina okutereka nnafubanga ne nfissa.

Mu 1985, nnali mpezezzaawo ku ssente era nnasalawo okutandika okusuubula. Nnagendanga ne nsuubula ejjoola e Masaka ne nzitunda mu butale bw’omubuulo e Bukomansimbi.

Ku myaka 22 nnali nguze emmotoka yange eyasooka nga nzimbye n’amaka.

Otandika ddi bizinensi
1 Tandika n’akatono naye nga kako, kino kikola bulungi ku bantu abakyali abato.

2 Tobuusa bataasoma maaso, buli muntu lowooza nti alina ky’asobola okukuyamba.

3 Koppa ku nkola z’abantu abalala.

Nneewole ddi?
Omuntu yeewole ng’amaze kunyweza mulimu gwe. Bw’oba oyagala kwewola 100,000/-, kirungi obeere n’ezizo 200,000/-.

Ensobi abantu ze bakola kwe kwewola ssente nga zokka z’alina bw’aba ayagala kuzimba kizimbe nga zimala kuzimba sso nga ssente enneewole zirina kuddayo mu bbanka nga kuliko n’amagoba Teweewola ssente kutandika bizinensi, naye weewole kwongera mu bizinensi.

Omwana ayingizibwa ddi mu bizinensi?
Ebintu bye tukoze bisobola okuvaamu ssente ne zeeyongerako era kati tutandise okutendeka abaana baffe engeri gye tukolamu emirimu.

Era muwala waffe, Stella Nalubega eyaakamaliriza okusoma e Makerere twamuwadde obwamaneja, ate omulenzi omukulu Frank Sseguya kati nkola naye wadde alina ebibye naye ajja n’annyambako.

Kino kitegeeza nti, omwana bw’aba mu bibiina ebisooka okuva mu pulayimale okutuuka ku S.4 aba akyali muto, bw’atuuka mu S.5 okutuuka mu S.6 aba asoma nnyo taba na budde.

Naye oluwummula lwa S.6 bwe lutandika aba akuze, mmuwa ssente atandike okukola, era ku yunivasite agenda nga bw’akola, kimuyamba okumala okusoma ng’alina omulimu.

Abaana tetubawa ssente za kyeyonoonero tubawa ezo zokka ze tulaba nti zisaanidde kuba tebayinza kukuwa ssente n’owangaala nazo.

Omusolo ogukola otya?
Emisolo ky’ekintu ekisanyusa, tewali ayagala kugusasula kyokka nga gukakata ku buli muntu ali mu bizinensi n’atali.

Okugusobola, buli lwe nfuna ssente nkimanyi nti nnina okuggyako omusolo ezisigalawo ze zange. Bw’oba oyagala emirembe olina okukkiriza nti omusolo gyeguli.

‘Okwerumya kwe kuntuusizza wendi’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga