TOP

Bizinensi okukula efugibwa amateeka 6

By Musasi Wa

Added 27th March 2013

Ekifo kyonna w’ogenda okuteeka bizinensi kikulu era kimu ku bintu by’olina okutunuulira nga tonnalowooza kugitandika.

2013 3largeimg227 mar 2013 122711950 703x422

Kifo ki ekituufu ekisaana okussaamu bizinensi?

Ekifo kyonna w’ogenda okuteeka bizinensi kikulu era kimu ku bintu by’olina okutunuulira nga tonnalowooza kugitandika. 

W’oteeka bizinensi wafugibwa amateeka agagisobozesa okukulaakulana nga kisinziira ku baguzi abaliwo.

By’oba weetegereza ku kifo

1 Olina okuba nga oyanguyirwa okufuna ebyamaguzi by’onooguza bakasitoma. 

2 Ekifo kirina okubeera okumpi n’akatale (bakasitoma b’oyagala okuguza).

3 Walina okubeera abayonjo kuba bakasitoma tebaagala bujama. 

4 Laba nti ennyingiza ya bizinensi yo esobola okusasulira ekifo w’ogikolera ate oleme kwewola okugibeezaawo.

5 Olina okutunuulira okuvuganya okuliwo mu bizinensi gy’ogenda okutandika. Laba bameka abakola bizinensi ng’eno n’engeri gy’eddukanyizibwamu okusobola okugifunamu nga bw’ovuganya.

6 Manya ebyetaagisa bizinensi yo obutataataaganyizibwa b’amateeka omuli aba layisinsi, n’ebirala. 

Ataasoma ayinza okutambuza bizinensi n’ekula n’okuwangaala, ye makubo ki ge nnyinza okuyitamu? OMUNTU yenna asobola okukola ensimbi era n’agaggawala wadde teyagenda ku ssomero.

By’oba okola okugaggawala

1 Okukola n’amaanyi.

2 Okumanya ebitone eby’enjawulo n’obusobozi bw’olina n’okuteeka essira ku ekyo ky’owulira nti ky’oyagala era okisobola. 

3 Okukola n’abantu abatuufu omuli b’okozesa ne b’okolagana nabo mu bizinensi.

4 Okuba n’obumalirivu okutambuza bizinensi ng’oginoonyeza akatale wano n’ebweru w’eggwanga. 

5 Okubeera omugumiikiriza ng’okola bizinensi.

6 Okukolagana obulungi n’abobuyinza mu kitundu wamu ne gavumenti ng’owa emisolo.

7 Okukolagana obulungi n’abo bwe muli mu bizinensi wadde za njawulo.

8 Enkwata ya bakasitoma bo erina okubeera ennungi.

9 Noonya okumanya era okkirize okuwabulwa okuva mu bantu.

10 Weewale amabanja agatazimba bizinensi yo kuba kino kizing’amya bizinensi. 

11 Bizinensi giteeke mu kifo ekituufu buli omu w’ayinza okwanguyirwa obuweereza bwo.

Biddiddwaamu omukugu mu byenfuna, Patrick Mugalu owa Summit Consults mu Kampala.


 

Bizinensi okukula efugibwa amateeka 6

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.