TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Ebintu by’olina bijjudde zaabu’: ‘Wirubaalo’ Nkata gye yafuula edduuka

‘Ebintu by’olina bijjudde zaabu’: ‘Wirubaalo’ Nkata gye yafuula edduuka

By Musasi Wa

Added 27th March 2013

Bagamba nti, enswa bw'ekyusa amaaso nga naawe envubo. Embeera y'ebyenfuna eyongedde okukaluba era omuntu anaasobola okukyuka nayo y'agenda okumalako. Kino tekijja kubaawo nga toyiiyizza kulaba ng’ogaziya amakubo mw’oyita okuyingiza ssente.

2013 3largeimg227 mar 2013 124335583 703x422

Bya HERBERT MUSOKE

Bagamba nti, enswa bw'ekyusa amaaso nga naawe envubo. Embeera y'ebyenfuna eyongedde okukaluba era omuntu anaasobola okukyuka nayo y'agenda okumalako. Kino tekijja kubaawo nga toyiiyizza kulaba ng’ogaziya amakubo mw’oyita okuyingiza ssente. 

Abasuubuzi bangi batuula ne balinda abaguzi okujja okubasanga kyokka nga bangi abakola omulimu gwe gumu ssente baziteega mu kkubo kuba baasoma embeera. Abalala bakozesa ebintu bye balinawo okulaba nga banoonya ensimbi. Ssente ezipangisa ebifo ebikolerwamu bwe zaalinnya abandi ne basalawo okukozesa ebitono bye balina okutunda ebyabwe. 

Luggya atundira ku mmotoka

Mw. Alex Luggya, atunda nsawo z'abakyala z’atambuza ku mmotoka e Kawempe agamba nti ekikulu mu mbeera eno kwe kumanya ky'oyagala era ekyo ky'oba okola ng'okozesa ekyo ky'olina.

Annyonnyola nti, ebintu ebimu bimanyiddwa mu kukola mirimu gimu okugeza mmotoka za kabangali zimanyiddwa kutikka byamaguzi n'okusomba eby'omu nnimiro, kyokka kati osanga omuntu ng'agitundirako byamaguzi nga: engoye, engatto, ensawo n'ebirala. 

Mmotoka endala nga kamunye ezikola takisi, eza buyonyo entono ezaalinga ez'okutambuliramu okugenda mu ofiisi kati bazitambulizaamu ddagala lya kinnansi, butambi bwa nnyimba ne ffirimu.

Okukozesa ekintu mu ngeri endala kikuyamba okufuna, mu kifo ky'okukituuza.

“Nze mmotoka yange yali esinga kukozesebwa mu kusomba bibajje ku mabaggiro, kusengula bantu n'ebirala kyokka kati ngikozesa kutundirako nsawo naye ngifunamu nnyo okusinga bwe gwali”.

Eyafunanga 20,000/- ng’amagoba, kati nfissa 50,000/- olunaku ate nga n’emmotoka ngisasula 100,000/- buli wiiki kuba nnina okugikuuma nga nnamu kuba kati ye ofiisi yange.

Ebirala by’oyinza okukozesa mulimu: Kawuuba (wirubaalo) ezaali zimanyiddwa mu kusomba obusa, kasasiro, omusenyu mu kuzimba n'ebirala, abasuubuzi abagezigezi bagikozesa okutundirako engoye.

Wirubaalo ly’edduuka lyange’ 

James Nkata, atunda ngoye e Kireka agamba nti akozesa wirubaalo era teyejjusa kuba kimuyambye okunoga ssente. 

“Entuumu y’obusa gy’ofunamu 20,000/- ogisombera ozikolera ennaku bbiri ate ng'okozesa amaanyi mangi, naye okutunda engoye osobola okukola amagoba ge gamu olunaku ate nga tokooye nnyo.

Bodaboda gy’osimba ku kkubo ne weebaka n’okwayuuya ng’abasaabaze babuzegiyiiyizeogyeyambise okulima oba okukola emirimu emirala ofune ssente.

‘Ebintu by’olina bijjudde zaabu’: ‘Wirubaalo’ Nkata gye yafuula edduuka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga