TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Lwaki okugaggawala oteekwa okugaba ku buyinza?

Lwaki okugaggawala oteekwa okugaba ku buyinza?

By Musasi Wa

Added 27th March 2013

GYE buvuddeko nnakikoonyeeko nti ayagala okugaggawala ofuuke ssebintu oteekwa buteekwa okweyigiriza okuwa abantu b’okola nabo oba abakozi bo obuyinza obukola nga toliiwo.

2013 3largeimg227 mar 2013 125105313 703x422

GYE buvuddeko nnakikoonyeeko nti ayagala okugaggawala ofuuke ssebintu oteekwa buteekwa okweyigiriza okuwa abantu b’okola nabo oba abakozi bo obuyinza obukola nga toliiwo.

Twagambye nti, omuntu yenna anaagaggawala kizibu okugaggawala n’ofuuka binnyonkondo ng’okola omulimu gumu kyokka ate okusobola okukola ebintu ebiwerako era n’osobola okubiggyamu ssente oteekwa okuba ng’olina abantu abakuyambako nga balina obusobozi obusobola okukola kyenkana ggwe kye wandikoze. 

Mu ngeri y’emu ne tugamba nti okutuuka okuba n’abantu abasobola okuddukanya bizinensi yo kyenkana nga ggwe bwe wandigiddukanyizza oteekwa okussaawo enkola esobozesa bizinensi okwetambuza ne bw’oba toliiwo. Kyokka ky’otolina kwerabira kiri nti enkola oba bizinensi etambulira ku bantu era awatali bantu tewali kiyinza kutambula.

Lwaki oteekwa okufuna abatambuza bizinensi

Olwaleero njagala tulabe lwaki oteekwa okufuna abantu abatambuza ebintu ku lulwo, n’ensonga lwaki weetaaga abantu ab’ekika kino, era tujja kutuuka ne ku bantu ba kika ki b’olina okweyambisa okutuuka ku kino, ddi lw’olina okubeeyambisa na buvuunanyizibwa oba buyinza ki bwe balina okufuna. 

Mu ngeri y’emu tujja kutuuka ku buvunaanyizibwa n’obuyinza bw’otoyinza kweggyako. Mu byonna ebikolebwa oteekwa okusigala nga ggwe nnannyini buyinza.

Ebimu ku bye tugenda okwogerako ku mulundi guno n’enfunda endala nnyingi biyinza okukuwulikikira nga bye twayogerako edda, kyokka nga bizze mu ngeri ya njawulo. 

Kino kituufu nnyo era ebimu mbiddamu okwongera okwejjukanya n’okukkaatiriza ensonga ezimu ze ndowooza nti nkulu ddala era zirina okussibwako essira.

Lwaki wandigabye obuyinza 
1 Weetaaga obudde obukola ebirala.
2 Kikuyamba okutondawo abakulembeze.
3 Kikuyamba okukola bizinensi endala.
4 Ofuna omukisa okutunuulira bizinensi yo ng’olinga ali ebbali waayo.

Ensonga esinga obukulu lwaki tukola eri nti, twagala obulamu obweyagaza, kyokka bw’oyitiriza okubeera ku mulimu n’obulwa n’obudde obuziikirako banno, abalala n’obulwala tebabulina, toyinza kugamba nti olina obulamu obweyagaza. Bw’ofuna akukwatirako naawe n’olya ku bulamu kiba kirungi.

Mu ngeri y’emu buli lw’ogaba ku buyinza eri abantu ab’enjawulo oba otandise okutondawo abakulembeze mu bizinensi abajja okukuyamba mu nsonga ez’enjawulo omuli n’obukulembeze bwennyini eri abakozi abalala. 

Kino bw’onookituukako kijja kuba kitegeeza nti osobola okutandikawo bizinensi endala nayo n’etambula bulungi kubanga eri eriyo abasobola okukola omulimu ate mu abo mwennyini mw’ogenda okujja ate abanaakuyamba okutandikawo endala kubanga enkola entuufu baba baagiyiga dda okuva ku ggwe.

N’ekisembayo kiri nti buli lw’obeera mu ffumbiro kiba kizibu okutegeera empooma y’emmere kubanga ggwe oba wagifumbye era oluusi ne bw’eba esiridde oyinza okwesanga ng’owolerezza. 

Sso singa osalawo okuva mu ffumbiro n’olinda emmeere eyidde kikuwa omukisa okusalawo oba emmere efumbiddwa bubi oba bulungi awatali kyekubiira yenna.

Lwaki okugaggawala oteekwa okugaba ku buyinza?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga